Miriam Mukhaye Munnabyabufuzi, Munnayuganda nga ye mubaka ataliina kibiina eyalondebwa okuba Memba mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Mbale okuva mu 2021 okutuusa 2026.[1][2] Ye CEO w'ekitongole kya Miriam Mukhaye Foundation, ekikwasaganya "okukunga abantu n'okuyamba ku balimi aba wansi ng'akozesa ssente ze".[3] Era aweereza mu busobozi n'obukiiko obw'enjawulo, omuli akakiiko ka Paalamenti ak'obwenkanya, Minisitule y'ekikula ky'abantu mu Paalamenti ya Uganda.[2]

Mukhaye yasomera ku Bubulo Girls High School ne Mbale Secondary School.[4]Oluvanyuma yafuna Diguli mu buweereza bwa Gavumenti eya public administration okuva ku Islamic University in Uganda, nga yagobererwa Dipuloma ey'enyongereza mu ssomo eddala ery'okukwasaganya abakozi (human resource management) okuva ku Uganda Management Institute mu Kampala. 

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwamu kyusa