Wikipedia gwe mukutu ogukwataganya ennimi ez’enjawulo ezekenneenyezeddwa nga guwandiikibwako abantu ab’enjawulo mu nkola ey’obwannakyewa. Wikipedia mutimbagano okuweerwa amagezi ku bintu ebitali bimu mu nsi. Amagezi gano gaweebwayo ku bwereere okuva mu bantu abokozesa ennimi 287 ez’enjawulo. Bannakyewa okwetooloola ensi eno baakawandiika ku mitwe egy’enjawulo egiwerera ddala obukadde makumi asatu mu nnimi ez’enjawulo 287 be ddu, nga mw'otwalidde n’ebiwandiiko ebiwera obukadde buna n’emitwalo ana nga bya lulimi Olungereza. Omuntu yenna asobola okweyunga ku mutimbagano guno, ne yekenneenya ebiwandiiko ebiriko, era asobola okukola enkyukakyuka okusinzira ku bukugu bwe ku kiwandiiko ekyo. Wikipedia gwe mukutu ogusinga okweyunirwa mu kunoonyereza ku magezi ag’enjawulo. Mu Mukutulansanja, 2014, olupapula “New Times” mu Bungereza lwakakasa nti Wikipedia ekwata kifo kya kutaano mu nsi yonna mu mitimbagano gya yintaneeti egikozesebwa. Kino kyesigamizibwa mu miko gy’ebiwandiiko obuwumbi kkumi na munaana (18) egisomebwa abantu abasukka mu bukadde ebikumi bitaano (500) buli mwezi, okusinzira ku mukutu ogwa comScore. Mu mikutu egikulembedde Wikipedia, mulimu ogwa Yahoo, ogwa Facebook, Microsoft n’ogwa Google, era ng’ogusinga mu mikutu egyo gukyalirwa abantu akawumbi kamu n’obukadde bibiri buli mwezi. Jimmy Wales ne Larry Sanger be baatandika Wikipedia nga 18 Gatonnya 2001. Ye Larry Sanger ye yayiya erinnya Wikipedia ng’alijja mu” kagambo “Wiki” akategeza “ekyangu” mu lulimi lw’e Hawaii n’ekigambo “pedia” ekitegeza “obugunjufu mu lulimi Oluyonaani. Enkola ya Wikipedia eyawunkana ku mpandiika y’ebitabo omuweerewa amagezi ebimanyiddwa ennyo ate n’olw’okuba nti bingi ebiwandiikibwamu tebikwatagana na bya njigiriza mu matendekero, kigireetedde okuganja ennyo mu by’amawulire. Mu mwaka 2006, akatabo Time Magazine ak’e Bungereza kaalonda Wikipedia ng’omukutu oguleese enkulaakulana ey’omujjirano ku mitimbagano gya yintaneeti nga gukozesebwa obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi eno, nga kwegattidwako n’emikutu emirala emiganzi ennyo nga Youtube, Reddit, Myspace, ne Facebook. Wikipedia gufuuse omukutu oguyaayaanirwa ennyo mu by’amawulire naddala ago agaakagwawo.

Wadde ng’enkola ya Wikipedia ewa omukisa buli muntu okuwandiika eby’amagezi era n’abiteeka ku mukutu guno, oluusi mubaamu ebiwandiikiddwa nga mulimu ebibulamu, nga tebituukiridde ate olusi abantu bagweyambisa okwonoona ebiwandiiko eby’amagezi.

Mu 2005, mu kunoonyereza kw’abakugu b’ekitongole ekya “Nature”, kyazuulibwa nti ebiwandiiko bya Sayansi 42 ku mukutu gwa Wikipedia byageraageranyizibwa nga bituukana bulungi n’ebyo ebiwandiikiddwa ba kagezimunyu mu kitabo ekiganzi ennyo ekya Encyclopedia Britannica.