1962 Empaka z'omupiira ez'ameefuga ga Uganda.
Omupiira gwa Uganda Independence Tournament gwali mupiira gwa mukolo gwa kumanyagana ogwaliwo mu lukumi mu lwenda nkaaga mu ebiri (1962) okujaguza obwetwaze bwa Uganda ogwali mu kisaawe kya Nakivubo mu Kampala. Ttiimu ssatu ezaali zikyalidde Uganda zeesamba okusobola okufunako en'akwatagana n'eya Uganda mu mpaka ez'akamalirizo. Kenya yayitibwa okudda mu kifo kya Misiri eyali tesobola kwetaba olw'enteekateeka yaayo ey'omunda; n'olw'ensonga eyo, ebibinja ebyazannya byali Ghana, Kenya n'ekibinja eky'akiikirira 'all-star' okuva mu English Isthmian League.[1] Empaka zaatwalibwa mu ngeri y'omutendera gw'ebibinja n'omulundi ogw'akamalirizo era zaalimu n'omuzannyo gw'okwolesa wakati w'ebibinja byombi mu mpaka ennyanjulukufu n'ebibinja ebirala eby'ensi yonna, nga zaaliwo okuva nga abiri mu mwenda Ogw'omwenda okutuuka nga kkumi na munaana Ogw'ekkumi, Lukumi mu lwenda nkaaga mu ebiri (1962).
Empaka(Ttonamenti)
kyusaTtiimu essatu ezaali zibbinkana zaazannya omupiira gw'ebibinja okuva nga abiri mu mwenda Ogw'omwenda okutuusa nga musanvu Ogw'ekkumi mu nkola ya round-robin, nga buli tiimu yazannya emipiira ebiri ebiri. Omuwanguzi w’empaka zino olwo ne yeeyongerayo ku mutendera ogw'akamalirizo ng'ebiisana ne Uganda nga ennaku z'omwezi kkumi omwezi Ogw'ekkumi.
Omutendera ogw'ebibinja
kyusaMu bibinja, obubonero bubiri bwe bwaweereddwa ku buwanguzi, akabonero kamu ne kaweebwa amaliri. Ghana yawangula omupiira gw'ayo ogwasooka ng'esamba Kenya ku ggoolo mukaaga ku ssatu (6-3), nga tennagwa maliri ne Isthmian League okufuna ekifo ekisooka n’egenda ku mutendera ogw'akamalirizo mu empaka zino [2].
Ekibinja | Obubonero | Egizannyiddwa | Egiwanguddwa | Amaliri | Gy'ekubiddwa | Ggoolo z'eteebye | Ggoolo ezigiteebeddwa | Enjawulo mu ggoolo |
---|---|---|---|---|---|---|---|---|
Ghana | 3. 3. | 2. 2. | 1. 1. | 1. 1. | 0. | 8. | 5. 5. | +3 |
Liigi ya Isthmian | 2. 2. | 2. 2. | 0. | 2. 2. | 0. | 5. 5. | 5. 5. | 0. |
Kenya | 1. 1. | 2. 2. | 0. | 1. 1. | 1. 1. | 6. 6. | 9. 9. | -3 |
Empaka ez'akamalirizo.
kyusaGhana yawangula egy'ebibinja n’egenda ku fayinolo nga ennaku z'omwezi kkumi, Ogw'ekkumi, omwaka lukumi mu lwenda nkaaga mu ebiri, oluvannyuma gye yawangulira Uganda, ne ggoolo nnya ku emu (4-1) mu kisaawe e Nakivubo [3]
Okulambula kw'abo abaawangula.
kyusaGhana abawanguzi b’empaka, baali bagenda kulambula mu kaseera katono oluvannyuma lw’empaka ezaalimu n'emipiira gy’omukwano mu mipiira egy’oku bugenyi ne Kenya, ne ttiimu z’omupiira ez’eggwanga mu kiseera ekyo ez’amasaza agaali gasooka okuli erya Tanganyika ne Nyasaland . Emipiira gyonna esatu bagiwangula, nga buli emu ezannyira mu bisaawe by’eggwanga eby'ezo ttiimu.
Emipiira gy'omukwano
kyusaOmupiira gw’omukwano gwazannyirwa wakati wa Uganda ne Isthmian League nga 8 Ogw'ekkumi, ogwaggweera mu maliri ga ggoolo 1-1. Guno gwali mupiira gwa Isthmian ogwokusatu mu nnaku 4 era abazannyi baabwe babiri bakyusiddwa bammemba ba ttiimu ya Kenya olw’obuvune.[4]
Abaasinga okuteeba ggoolo.
kyusaEkifo | Omuteebi | Goolo |
---|---|---|
1. 1. | Edward Acquah | 4. 4. |
2= | Wilberforce Mfum | 3. 3. |
2= | Norman Curtis | 3. 3. |
Ebijuliziddwa
kyusa- [5]"Uganda Independence Tournament 1962". RSSSF. Retrieved 2019-06-19.
- [6]"Uganda Independence Tournament 1962". RSSSF. Retrieved 2019-06-19.