Aamito Lagum
Obulamu bwe obwasooka
kyusaLagum yakuzibwa omukyala nakyeyombekedde, Sidonia Ayaa, mu Kibuga Kampala. Oluvanyuma lw'okufiirwa omulimu gwe, maamawe yasalawo okusengukira e Kitgum okubeera ne bajjajjabe. Oluvanyuma Lagum yakomawo e Kampala okweyongerayo n'emisomo gye ku St. Jude Primary School, Katikamu Seventh Day Adventist Senior Secondary School ne St. Lawrence High School.[1][2]
Ku myaka kuminamukaaga, Lagum yatandiika okugoba ku by'okumodolinga ng'omulimu gwe. omulimu gwe agwasooka gw'ali mu Ugandan Fashion Week, nga atambulira Gloria Wavamunno’s GW Collection. Mu 2012, Lagum yasisinkana omuyooyosi Adele Dejak, eyamutwala e Kenya okukubwa ebifaananyi.[3]
Mu 2013, Lagum yeetaba mu kyamanyikibwa nga Africa's Next Top Model nga yakozesa Baasi eyamala esaawa 16 okuva mu Kampala pakka mu Nairobi. Oluvanyuma yalangirirwa omuteesiteesi Oluchi Onweagba era yalondebwa okugenda mu Cape Town ng'omu kubawanguzi ekkuminababiri.[4][5]
Lagum mu bwangu yasunsulwa abalamuzi n'abagenyi , n'awangula ebifaananyi eby'enjawulo era n'omukisa okulabikirako mu katabo k'e South African Elle olw'okufuna ebifaananyi ebyasinga mu sabiiti ey'omwenda.[6] Lagum yayitamu outuuka ku mpaka eza kamalirizo mu sabiiti ey'kkumi mu lukontana, nga talabikiddeko mu bakwebedde ababiri. Lagum yalangirirwa ng'omuwanguzi.
Nga ekimu ku birabo, Lagum yafuna Kontulakiti y'amwaka gumu n'ekibiina kya DNA Model Management, product endorsement deals wamu ne P&G, Etisalat, Snapp and Verve International, Kontulakiti eyali ey'omwaka ogumu nga y'emummuli gw'ebyobulambuzi mu South Africa era nga aweebwa omutemwa gwa doola z'Amerika emitwalo etaano ($50,000 USD.)
Emirimu oluvanyuma
kyusaOluvanyuma lw'okuwangula Africa's Next Top Model, Lagum era yasayininga n'ekibiina kya Boss Model Management mu South Africa era yeyali omutwe omukulu ku katabo ka Marie Claire South Africa mu mwezi gwa Muwakanya 2014. Era oluvanyuma yasayininga n'aba DNA Model Management era nagenda mu Kibuga kya New York City.[7] Lagum era yeetaba mu mpaka eza F/W mu 2015, nga amodolingira aba Lacoste, Marc owa Marc Jacobs, J. Mendel, Rag & Bone, Giles, Jonathan Saunders, Paul Smith, ne Bottega Veneta. Era yeetaba mu kuggulawo Balenciaga mu Kibuga Paris, nekimufuula Modo eyasooka ow'alangi ey'enjawulo okuggulawo omwoleso wansi wa Alexander Wang. Mu kaseera keekamu, yayoleseza oba Lanvin, Dries van Noten, H&M, Giambattista Valli and Hermès.[8][9]
Ku nkomekerero ya sizoni eyo, Lagum yateekebwa ku lukalala lw'abamoddo abapya aba models.com ne style.com.[10][11] Okuva kw'olwo, yalabikira mu butabo obw'enjawulo omuli, i-D, Interview, Love, W, V, American Harper's Bazaar, Italian n'omu South African Elle, L'Officiel, Italian, Ukrainian, British, German, Mexican, ne Spanish Vogue, Teen Vogue, ne Italian Vanity Fair. Mu mwezi gwa Kafuumulampawu 2017, era yakola ng'ekifananyi ku katabo k'Abamerka aka American Allure magazine. Era yateekebwa ku katabo ka British Elle mu mwezi gwa Muwakanya, era mu mwaka gwe gumu. Lagum era yalabika mu katabo ka Lookbooks aka Hugo Boss, Area, Narciso Rodriguez, Kenzo, Acne Studios, Guerlain, Nordstrom, Barneys New York, Sonia Rykiel, Saks Fifth Avenue, wamu n'obulango bwa Kenzo era ne Kampuni z'obulango eza Marc Jacobs, obw'akolebwaDavid Sims.[12][13][14]
Mu mwezi gwa Mukulukusabitungotungo 2015, Lagum waweebwa ekitiibwa kya Cosmopolitan ng'omu kubakontanyi eyasinga mu lukontana lwaTop Model franchise.[15]
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/651684-stacy-aamito-from-bushes-to-riches.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-08-23. Retrieved 2022-05-18.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://allafrica.com/stories/201406230131.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20131124124226/http://twmagazine.net/2013/11/africas-next-top-model-with-oluchi-debuts-meet-the-finalists/
- ↑ http://www.bellanaija.com/2015/03/05/i-felt-like-a-black-swan-aamito-stacie-lagum-talks-beauty-stereotypes-in-uganda-her-mums-disapproval-more/
- ↑ http://superselected.com/editorials-aamito-stacie-lagum-elle-south-africa-by-lee-moami/
- ↑ http://www.fashionmodeldirectory.com/models/Aamito+Stacie_Lagum/
- ↑ http://models.com/models/Aamito-Lagum/year/shows
- ↑ http://www.fashionmodeldirectory.com/models/aamito+stacie_lagum/shows/
- ↑ http://models.com/mdx/top-newcomers-fw-2015/
- ↑ http://www.style.com/slideshows/slideshows/trends/industry/2015/03-march/top-10-models-fall-2015/slides/7
- ↑ http://pulse.ng/fashion/marc-jacobs-f-w-2015-campaign-aamito-stacie-lagum-5-more-models-join-the-raved-campaign-id3868568.html
- ↑ http://www.elle.fr/Mode/Les-news-mode/Autres-news/Marc-Jacobs-7-nouveaux-mannequins-pour-sa-campagne-automne-hiver-2015-2959170
- ↑ http://models.com/work/marc-jacobs-marc-jacobs-fw-15/395589
- ↑ http://www.cosmopolitan.com/entertainment/tv/news/a47929/top-model-tyra-banks-successful-models/
Ebijuliziddwamu eby'ebweru
kyusa- On Fashion Model Directory
- On models.com
- Aamito Stacie Lagum on Instagram