Abayimbiramu kibiina kye bayita 'Goodlyfe'

 

Radio & Weasel bayimbi babiri abanayuganda abayimbira mu kibiina kyebayita Goodlyfe Crew ng'akulembera ekibiina kino mukuyimba ye Moses Radio ng'amannya gge amatuufu ye Moses Nakintije Ssekibogo ne mune eyeeyita Weasel Manizo ng'amannya ge ye Douglas Mayanja. Moses Radio atabulamu amaloboozi agagenda empola nga gagwa mutuluba lya RnB ng'ate Weasel agatamu edoboozi edene ery'etuluba lya reggae, ragga ne dancehall. Olw'obuganzi bwabwe, Moses Radio ne Weasel baatandikawo ekibiina ekyabwe ekyababiri kyebayita Radio ne Weasel. Ng'akulembera yeyali Moses ate nga y'ow'amaloboozi nga yeeyita Radio wabula nga yafa enaku z'omwezi nga 1 mu mwezi ogw'okubiri mu mwaka gwa 2018 oluvannyuma lw'okufuna obuvune ku bwongo oluvannyuma lw'okukuba kanyama eyali akuuma ekifo ekimu ekidigidirirwamu nga kisingaanibwa Entebbe. Eyalumba Radio yamusuula wansi mita 3 nga ze fuuti 9 n'obutundu tundu 8 ku kagulumu k'enkokoto ekyamuviiramu akwanga okufuna obuzibu era okukakana ng'omusaayi gumugenze mu bwongo. Radio ne Weasel baatondawo ekibiina kyabwe kyebayita 'The Goodlyfe Crew'. Ekibiina kino kyalaba enkyuka kyuka nnyingi mungeri gyekyali kyakolebwamu, naye ng'ebiseera ebisinga kyali ngamu Chagga, Lenin Briton, ne Lawrence (Goodlyfe Crew). Abasinga kubaali bakirimu baalina pulojekiti ezaabwe kubwaabwe ssaako n'abaanaabwe beebali bakola ennyimba z'ababiri.

Radio ne Weasel

kyusa

Moses Radio ng'amannya gge ag'obuzaale ye Moses Nakintije Ssekibogo yali muyimbi eyalina ebiseera by'omumaaso mu mulimu guno ebyali ebitangaavu. Yasoma siniya ye okuva mu mwaka gwa 1998 okutuuka mu mwaka gwa 2001 kusomero lya at Holy Cross Lake View Secondary School mu disitulikiti y'e Jinja, ng'eno yakolako ng'omukulembezze w'esomero ow'ekibiina ekyali kyegatibwamu abayizi ekya okwolesa ebitone byabwe nadala mu kuyimba ekya 'Youth Alive Club'. Yakola nga pulojekiti za muziki kusomero mu kibiina kino kusomero ezayamba ng'ekibiina kino okuvuganya n'okuwangula empaka z'amasomero mwebeetaba nga eza 'inter-school Youth Alive Club competitions'. Mu mwaka gwa 2002, Radio yasomera ku Kiira College Butiki mu disitulikiti y'e Jinja ng'eno yasalwo awumulemu ku by'okuyimba okumala emyaka ebiri ng'esira alitadde ku by'okusoma. Oluvannyuma yeegata ku kibiina kya Jose Chameleone ekimannyikiddwa nga Leone Island Crew mu mwaka gwa 2004.[1] Ng'ayambako Jose Chameleone mu nyimba zze, kuba yamwongerera ngamu amaloboozi, Radio yafulumya ennyimba ezizze ng'ayimba yekka mu kampuni ya Leone Island Records. Kuno kwaliko "Jennifer", "Dagala", "Wololo" ne "Sweet Lady".[1] Sweet Lady baalufuna bulungi wadde ng'okumannyikwa kwa Radio mu bantu kwasigala wansi.

Weasel ng'amnnya ge ag'obuzaale ye Douglas Mayanja yatandika okuyimba ng'omuyimbi eyali yetongodde n'afulumya pulojekiti ye ng'ali yekka ng'ali wansi wa kampuni ya mukulu we,wabula nga lwali luyimba lweyakola ne Jose Chameleone lwebaali bayita "Bomboclat" olwakwata abantu omubabiro.

Radio ne Weasel baatandika okuyimbirako Jose Chameleone, omuyimbi omututumufu mu banayuganda, naye oluvannyuma baamweyawulako nebava mu kibiina kye ekya Leone Island Crew mu mwaka gwa 2008 okutondawo ekyabwe kyebaali bayita Goodlyfe Crew.

Ababiri bano Radio ne Weasel babadde n'ennyimba ezibaadde ez'amaanyi era nezikwata abantu omubabiro kuba zibadde zikubibwa ku leediyo za Uganda ez'enjawulo[2] .Okutandika n'oluyiumba lwebayita "Nakudata" mu mwaka gwa 2008, ababbiri bano baafulumya ennyimba endala okuli lwebayita "Lwaki Onumya", "Zuena", "Nyambura" ne "Bread and Butter". Mu masekati g'omwaka gwa 2008, ababiri bano baakola ennyimba n'abayimbi nga Rachel Kay, Blu*3, OS, Allan Toniks, GNL n'omuzambia Zambia General Ozzy. Baakola ekivulu butereevu nga bali n'omuyimbi omunayuganda amannyikiddwa nga Keko. Emabegako awo baakolako ennyimba n'abayimbi nga PJ Powers, n'oluyimba lwabwe lwebaali bayita"Home to Africa", n'omu Jamaica mu luyimba lwabwe lwebaali bayita "Fire & Butter" Abayimbi bano boongedde okulaga nti b'amaannyi webakoze ennyiimba n'abayimbi abali mu kibiina kyebaloongo ekya Warner Music Group kyebayita Locnville mu luyimba lwabwe lwebaali bayita 'Done'

Abali mu kibiina kya Goodlyfe Crew

kyusa

Radio ne Weasel beebaali abakulembera mu kuyimba mu kibiina kya Goodlyfe Crew. Enamba y'abaali nga mu kibiina kino yalinya nga, ate olumu nekka wabula nga bameba b'ekibiina kino ekya Goodlyfe Crew beebaali:[3]

Bonna abali mu kiibna kino baafulumyako pulojekiti nga bali bokka. Jeff Kiwanuka yadirwa Chaggaman mu bigere ng'eyali abadukanya oba maneja wabwe oluvannyuma lw'okugobwa kwa Kiwanuka mu mwaka gwa 2014 nga gugwako. .

Abaaliko mu kibiina kino nebakyabulira

kyusa
  • Moses Radio yeyalo omu kubaalitandikawo era eyali akikulira. Yafa oluvannyuma lw'okufuna ebinuubule ebyali bivudde mu kukubwa obubi ennyo mu mwaka gwa 2018, era n'aleka Weasel Manizo nga y'akulira ekibiina kino.[4]
  • Gift of Kado - yali abeerera ddala mu kibiina kino oluvannyuma lw'okukyegatako mu mwaka gwa 2009.[5] Naye mu mwezi ogw'ekuminoogumu mu mwaka gwa 2010, yakilekulira n'atandikawo ekikye ng'ali ne Mr. X eyafa mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 2012, nga kino baali bakiyita Kaddo Pharm with Mr X.[6]
  • Diamond Oscar[7]

Goodlyfe Crew yalina ekifo kyabwe mwebaali bafulumiza ng'ennyimba nga bakiyita, Goodlyfe Magic.[8] Naye ekibiina kino ekya Goodlyfe crew babadde ne pulojekiti endala nadala mu kufulumya muziki,: bakoze ennyimba nga bali wansi w'abazifulumya nga Washington, Bleas, Swangz Avenue, Bushington ne label Nash Wonder of Monster.[9][10]

Obukuubagano n'ennyimba zebakoze nga bali n'abayimbi abalala

kyusa

Mu mwaka gwa 2008, Radio ne Weasel baafuluymya oluyimba lwebaali bayita "Potential" nga bali n'omuyimbi okuva mu ggwanga lya Zambia gwebaali bayita General Ozzy.[11] Abayimbi bano abayuganda ababiri baakolayo oluyimba olulala nga bali n'omuzambia ono gwebayita Ozzy.[12][13]

Mu mwaka gwa 2009, ekibiina kino ekya 'Goodlyfe Crew' baakuba oluyimba nga bali ne Rabadaba, "Opportunity or Ability" nga luno lwakwata abantu omubabiro ng'era lwali lwatutumu nnyo. Wabula kyali kiteberezebwa nti oluyimba luno lwalimu amaloboozi agaali galumba Bebe Cool nga gagamba okumukolako effujjo, nadala lu katundu Radio keyali ayimba.[14] Muntandikwa y'omwaka gwa 2014, Radio ne Weasel baakola oluyimba ne Pallaso wamu ne Mess ng'oluyimba luno baali baluyita "Amaaso".[15] Mu mwaka gwa 2011, baafulymya oluyimba lwebaali bayita "Dembesa" n'abayimbi abeeyita ba Da TWINZ.[16][17] Radio ne Weasel baafulumya oluyimba olulala, nga luno baali balukoze ne Diamond Oscar nga luno baali baluyita "You Make Me cry".[18] Radio ne Weasel baakola oluyimba olulala n'omunayuganda omuyimbi gwebaali bayita Sizza Man, ng'oluyimba baali baluyita: "Tax Money",[19] "Pollination" baaluyimba n'ekibiina kyebayita Obsession mu mwaka gwa 2011.[20]

Mu mwaka gwa 2010, Radio ne Weasel baakola oluyimba lwebaali bayita "Maama Wabaana" nga bali n'omuyimbi gwebaali bayita Tom Close.[21]nga mu mwaka gwa 2013, tbaafulumya oluyimba ne Desire Luzinda, ssaako ne lwebayita "Hellena" nga bali ne David Lutalo.[22][23]

Mu mwezi ogw'okusatu, mu mwaka gwa 2011 obutakaanya bwabalukawo mu Kampala wakati wa Radio/Weasel ne Kenzo. Obutabanguko buno bwaali buva kuluyimba Kenzo lweyali akubye nga baluyita "Mundeke Numbe". Ekibiina kya 'Goodlyfe Crew' kyali kigamba nti buli kyaali muluyimba luno wamu ne vidiyo, baalu babikopa muluyimba lwabwe lwebayita "Talk and Talk".[24]

Mu mwezi ogw'ekumineebiri, mu mwaka gwa 2013, Radio ne Weasel baalwana olutalo olutalyerabirwa nga luno lwali llwakuyita mu kuyimba nga battunka ne Bebe Cool. Luno baali baluyita "The Battle of the Champions", olutalo lw'abanantamegwa, nga luno lwaali ku kisaawe kya Kyadondo Rugby grounds.[25] Chameleone yatendereza ekibiina kya 'Goodlyfe Crew' olw'okukola ekivulu kino; wabula yatendereza ne Bebe Cool.[26] Tewali kusalawo kwankomeredde kwavayo ku ani yali awangudde.[26][27] Kino kyavirako n'okugonjoola obutakaanya bwebaali balina n'eyali nannyini w'ekibiina ky'abayimbi kyebayita 'Leone Island', Chameleone nga Radio ne Weasel beegata ku Chamleone omulundi ogwali gusooka okuva webaali baayawukana mu mwaka gwa 2008.[28] Kino kyawaliriza ababiri bano okugabana siteegi ne Chameleone mu kivulu kyebaali bayita 'Tubonge' mu mwaka gwa 2014.[29]

Mu mwaka gwa 2013, ababiri bano baagamba nga webaali bakomekereza obutakaanya bwebaali balina n'omuyimbi okuva mu kibiina kya 'Gagamel' gwebayita Bebe Cool .

Byebawereddwa oba awaadi zebawangudde

kyusa

Zebawangudde

kyusa

Awaadi za muziki okuva mu ggwanga lya Tanzania

  • 2010: Oluyimba lw'omubuvanjuba bwa Afrika olwali lusinga – Bread and Butter ne Where You Are ft. BLU*3
  • 2011: Oluyimba lw'omubuvanjuba bwa Afrika olwali lusinga – Heart Attack Vuvuzela
  • Channel O Music Video Awards
  • 2011: Most Gifted African East Video – This is How We Do It ft. Keko

Buzz Teeniez Awards Uganda

  • 2010: Ekibiina ekyali kisinga okwokya
  • 2011: Ekibiina ekyali kisinga okwokya
  • 2011: Oluyimba olwasinga okwokya nga lukubiddwa abayimbi abawerako – Mr. DJ ft. Swangz Avenue

Byebabalonzeemu

kyusa

Mu mwezi ogw'omunaana , mu mwaka gwa 2011, abayimbi b'ekibiina kya 'Goodlyfe' okuli; Radio ne Weasle mu baalondebwa mu bikujuko bya 'Africa music awards', MOAMA mu tuluba ly'okubeera ekibiina ky'abayimbi eky'omwaka. Oluyimba lw'ekibiina kino kyebayita 'Goodlyfe' nga baluyita 'Vuvuzela' lwakwata omubabiri mu mwaka gwa 2010 nerubeera lwatutumu nnyo, nga baalulonda ne mu tuluba lya 'dance hall'.[34]

Obutaambi w'ennyimba za Radio ne Weasel, ekibiina kino ekya 'Goodlyfe' kirina entaambi z'ennyimba nga 10.

1. Mwana Wabandi (eya 2016)

2. Neera & The Best of Radio & weasel ( eya 2015)

3. Amaaso Ntunga Album ( eya 2014 )

4. Obudde (eya 2014)

5. Fantastic (eya 2014)

6. Tonjagala (eya 2012)

7. Talk and Tailk (eya 2011)

8. Ngenda Maaso (eya 2010)

9. Bread and Butter (eya 2009)

10. Nyambura (eya 2008)

Muziki waabwe

kyusa

Mulimu ab'ekibiina kya 'Goodlyfe Crew' nga ye Radio ne Weasel zebaafulumya

  1. 1.0 1.1 http://www.ugpulse.com/articles/daily/Entertainment.asp?about=Radio+and+Weasel%3A+Living+the+Good+Life&ID=1104
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2015-02-07. Retrieved 2022-12-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20100623020711/http://www.goodlyfe.net/bio.html
  4. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/news/world-africa-42902215
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20140419012252/http://www.ugandaonline.net/red.../the_hostel_s_tibba_thrown_out_by_lover
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160408041443/http://www.hipipo.com/music/news/1720/Mr-X-Is-Dead
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)http://xclusive.co.ug/?p=8815
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.hipipo.com/index.php?linkvar=music&pg=music_news&news_id=186&title=Ugandan%20Goodlife%20Musicians%20of%20the%20Goodlyfe%20Crew,%20the%20Nyanama%20Boys,%20Moses%20Radio%20and%20Weasel%20TV%20Manizo
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)http://bigeye.ug/battle-of-the-producer-nash-wonder-vs-washington/
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)https://archive.today/20141116195921/http://lyrics256.com/2014/01/.../ring-a-bell-nakudata-remix-lyrics-radio-wease
  11. [1] Template:Dead linkhttps://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:Link_rot
  12. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.reverbnation.com/radioweasel/song/7841270-take-my-heart
  13. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.reverbnation.com/open_graph/song/7852562
  14. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20190430233247/http://gosong.net/GOOD_LIFE_FEATURING_RABADABA_ABILITY.html
  15. {{cite web}}: Empty citation (help)https://archive.today/20141116193125/http://lyrics256.com/2014/01/.../amaaso-lyrics-radio-weasel-ft-pallaso-the-mess
  16. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.mp3olimp.net/radio-and-weasel/
  17. [2] Template:Dead linkhttps://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:Link_rot
  18. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20141129075538/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Goodlfye-Moses-Radio-Weasel-and-Diamond-Oscar-You-Make-Me-Cry
  19. [3] Template:Dead linkhttps://web.archive.org/web/20141129075538/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Goodlfye-Moses-Radio-Weasel-and-Diamond-Oscar-You-Make-Me-Cry
  20. [4] Template:Dead linkhttps://web.archive.org/web/20141129075538/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Goodlfye-Moses-Radio-Weasel-and-Diamond-Oscar-You-Make-Me-Cry
  21. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20140407140544/http://www.songswale.com/radio-and-weasel-goodlyfe-maama-wabaana-bange-mp3.html
  22. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20141129075543/http://www.hipipo.com/radio/26/Goodlyfe-Moses-Radio-And-Weasel-TV/Radio-Weasel-Desire-Luzinda-Fitting
  23. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20141129185433/http://lyrics256.com/tag/hellena-by-goodlyfe-and-david-lutalo/
  24. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20140403224053/http://ugandaonline.net/red_pepper/goodlyfe?category=141
  25. {{cite web}}: Empty citation (help)https://archive.is/20140414130403/http://www.ugandaonline.net/news/view/14500/battle_of_the_champions_2013___bebe_cool_wins
  26. 26.0 26.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20221202140958/https://redpepper.co.ug/battle-of-champions-chameleone-salutes-goodlyfe/
  27. [5] Template:Dead link
  28. [6] Template:Webarchivehttps://web.archive.org/web/20140413144342/https://xclusive.co.ug/?p=7790
  29. {{cite web}}: Empty citation (help)https://archive.today/20141116195159/http://ugandaonline.net/news/view/.../moze_radio__weasel_all_set_for_tubong
  30. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20141218163446/http://www.hipipo.com/hma/2014/news/553/Full-List-Of-Winners-Hipipo-Music-Awards-2014
  31. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20141218163446/http://www.hipipo.com/hma/2014/news/553/Full-List-Of-Winners-Hipipo-Music-Awards-2014
  32. 32.0 32.1 32.2 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20160130101808/http://museke.com/node/2396
  33. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20110223174235/http://allafrica.com/stories/201102220178.html
  34. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20140404042808/http://www.ugandaonline.net/news/goodlyfe?category=141
  35. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.sowetanlive.co.za/entertainment/2014/04/17/mafikizolo-uhuru-davido-lead-nominations-for-mtv-africa-music-awards