Abed Bwanika

Pulezidenti wa People's Development Party

Abed Bwanika yazaalibwa nga 1 Ogwomunaana 1967, Munnayuganda, munnabyabufuzi era ppaasita. Ye Pulezidenti wa People's Development Party, ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti.[1]

Image of Bwanika

Obuvo n'okusoma

kyusa

Bwanika yazaalibwa nga 1 Ogwomunaana 1967 mu biseera bino disitulikiti y'e Lwengo.[2] Yasomera ku Kimwanyu Primary School, okumpi n'amaka ga bazadde be. Oluvannyuma yeegatta ku Masaka Secondary School 'O' level, ne ku Kigezi High School gye yakolera 'A' level. Yaweebwa ekifo ku ssettendekero ya Makerere , gye yafunira digui mu busawo bw'ebisolo. Oluvannyuma, Yafuna diguli eyookubiri eya ssaayansi mu kisaawe kye kimu, era okuva ku Makerere.[3]

Emirimu

kyusa

Oluvannyuma lwa diguli ye eyasooka, yasigala e Makerere ng'omusomesa ng'akola okunoonyereza kwa diguli ye eyookubiri.[4] Mu 2001, yava mu busomesa n'okwebuuzibwako ku bulunzi bw'ebisolo. Yatandikawo ekkanisa, Christian Witness Church.[5]

Mu kulonda kw'obwapulezidenti okwa 1996, yawagira Yoweri Museveni wabula n'adda ku ludda lwa Kizza Besigye mu 2001. Yavuganya ku bwapulezidenti mu Gwokubiri 2006 ku bwannamunigina, n'amalira mu kifo kyakuna n'ebutundutundu 0.95 bwe bululu 65,874.[6]

Yaddamu okuvuganya mu kalulu kw'obwapulezidenti ak'Ogwokubiri mu 2011.ku kkaadi ya People's Development Party, kye yatandikawo era nga ye Pulezidenti waakyo. Omulundi ogwokubiri yafuna obululu obuli mu 14,000 omugatte obululu butono 51,708, nga bye bitundu 0.65 ku kikumi.[7]

Mu Gwomunaana 2020, yava mu People's Development Party okwegatta ku National Unity Platform.[8] Mu kalulu ka bonna aka 2021 yalondebwa ng'omubaka wa Paalamenti akiikirira konsituwensi ya Kimanya-Kabonera mu kibuga ky'e Masaka.[9]

 

Obulamu bwe ng'omuntu

kyusa

Bwanika yawasa Gladys Namusuwe, omukugu mu byennyanja era omusomesa ku Department of Zoology ku Makerere University. Babadde bafumbo okuva mu 1995 era balina abaana abalenzi bana Wise, Decent, Chosen, ne Delight.[10]

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://www.monitor.co.ug/News/National/Get-out-of-Kampala--Bwanika-tells-Opposition/-/688334/2670172/-/o462eiz/-/index.html
  2. https://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=61913
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-12. Retrieved 2021-08-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-12. Retrieved 2021-08-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/4719944.stm
  6. https://web.archive.org/web/20160505203624/http://www.ec.or.ug/
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2015-04-02. Retrieved 2021-08-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://www.pmldaily.com/news/politics/2020/08/crossing-the-red-line-president-bwanika-defects-to-nup-from-his-own-party.html
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2021-03-13. Retrieved 2021-08-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://web.archive.org/web/20150402113429/http://www.newvision.co.ug/D/9/500/736451