Achia Remegio (nga yazaalibwa mu Gwekumineebiri nga 27 mu 1970, munabyabufuzi Omunayuganda, eyasoma eby'enfuna y'abantu n'okukuguka mu by'embaliriza.[1] ababdde Omubaka wa Paalamenti ng'ali wansi w'ekibiina kya National Resistance Movement ng'akiikirira esaza lya Pian, mu Disitulikiti ye Nakapiripirit okuva mu 2006, okutuuka nakati.[2][3][4]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Yazaalibwa mu Disitulikiti ye Nakapiripirit ng'eno esinganibwa mu Bukiika Ddyo bwa Uganda.[1] Musajja mufumbo eyawasa omulamuzi Jane Frances Abodo akulira abasalawo ekirina okukolebwa eky'enkomeredde eri omuzi w'emisango singa gubeera gumise muvi.[1]

Yasomera ku St. Mary's Seminary Nadiket, erisinganibwa e Moroto mu Uganda nga gyeyamalira n'emisomo gye egya sekondale. Wakati wa 1986 ne 1990, yeegata ku Yunivasite ye Makerere n'atikirwa ne Diguli mu by'embalirira wamu n'eby'enfuna.[1]

Emirimu gye

kyusa

Yawerezaako nga eyeebuzibwaako ku by'ekikugu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by'emere n'eby'obulimi ekya mawanga amagate wakati wo Gwekuminoogumu mu 1999 n'Ogwokutaano mu 2005.[1] Okuva mu Gwokutaano mu 2011 okutuuka kati, abadde awereza nga Omumyuka wa ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku by'embalirira mu Paalamenti ya Uganda.[1] Okuva mu Gwokuna mu 2006 okutuuka kati, abadde omubaka wa Paalamenti ya Uganda n'emirimu gamba nga okwekaanya ebikozesebwa n'okubisaasaanya, okwekaanya embalirira, n'okuteela munkola embalirira ebeera yeetagisibwa.[1] Yeeyali Omumyuka wa ssentebe ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by'embalirira By'eggwanga wakati wo Gwokutaano mu 2006 okutuuka mu Gwomusanvu mu 2009.[1]

Remigio Achia ensangi zino ye ssentebe w'akakiiko akeegatibwaamu ababaka ba Paalamenti okuva mu bitundu bye Karamoja.[1][5] Yavumirira nnyo amagye g'eggwanga aga UPDF olw'okuyisa ekitundu kyonna nga ekimannyi ky'amateeka ekyavirako okufiirwa abatuuze b'aggwanga 3,000, wamu n'enkumi z'abaana abaawalirizibwa okugenda kunguudo z'ebibuga.[5]

Obukuubagano

kyusa

Mu gwokutaano mu 2013, yakwatibwa olw'okubeera nga yali avuga ate nga atamidde.[1] Yawalanyizibwa olw'okusalinkiriza gyebaliira emere mu Wandegeya, wadde nga ku geeti kwali kuliko ekiwandiiko.[6]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwaamu

kyusa

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa