Agnes Nandutu

Munnayuganda munnamawulire era munnabyabufuzi

Agnes Nandutu munamawulire Omunayuganda, munabyabufuzi eyabadde Minisita avunaanyizibwa ku Karamoja ekifo ekyamugiddwaako Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni n'akikwasa Florence Namboozo Wamala Omubaka wa Disitulikiti ya Sironko omukyala.[1] Mu 2020 yeenyigira mu kamyufu k'ekibiina kya National Resistance Movement [2] n'awangulwa eyali mu kifo kino Omubaka omukyala Justin Khainza,[3][4] nga mu kulululu ka bonna aka 2021, n'avuganya nga talina kibiina kyeyali agiddemu, nalondebwa nga Omubaka Omukyala eyali akiikirira Disitulikiti ya Bududa.[5][6][7][8]

Nandutu Agnes

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Nandutu yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Bududa mu Uganda nga asibuka mu ggwanga ly'abantu Abagisu. Nandutu yasomera ku Bumwali primary school gyeyatandikira, oluvannyuma yeegata ku Bbulo girls secondary gyeyava okugenda ku Blucheke secondary school[9]

Emirimu gye

kyusa

Mu 1997, yeegata ku mukutu gwa Radio Uganda ng'akola nga omusasi w'amawulire.Oluvannyuma, n'agenda okusoma Dipulooma mu Mawulire kutendekero lya Uganda Institute of Journalism and Media studies. Yakolako mu lupapula lwa Daily Monitor ng'omusasi w'amawulire. Wakati wa 2002 ne 2008, Nandutu yakolako ku mukutu gwa leediyo ya Impact FaMa nga omusasi w'amawulire nga tanaba kwegata ku mukutu gwa ttivi ogwa NTV Uganda.[10] Yali kafulu u kusaka amawulire g'ebyobufuzi ku mukutu gwa ttivi ya NTV Uganda. Nandutu yeeyali akumakuma n'okubeera omwogezi ku pulogulaamu ya NTV citizen debate eyali ayitibwa "The People’s Parliament."[11][10] Yawereza nga pulezidenti w'ekibiina ekigatta Banamawulire mu Paalamenti okuva mu 2011 okutuuka mu 2016.[12] Y'awandika n'okutaanya pulogulaamu emannyikiddwa ennyo ku mukutu gwa ttivi ya NTV Uganda eyitibwa Point Blank.[13] Mu 2011, yafuna ekirabo kya ssekukulu okuva mu lupapula lwa The Observer olwa pulogulamu ye ku kumukutu gwa NTV eyitibwa, Point Blank.[14][15]

Obutabanguko

kyusa

Mu 2017, Nandutu akulira ekitongole ky'ebyempuliziganya yagaana okumuwa ebiwandiiko ebyali bimukiriza okusaka amawulire okuva mu Paalamenti ya Uganda.[16]

Mu 2020, mukaseera k'okukola kakuyege wa Paalamenti, Nandutu yaweebwa omulimu gwokulaga bbaawe, ekintu ekyamulema okukola wabula n'asaba akakiiko k'ebyokulonda ng'ali ku leediyo okumufunira omusajja amusaana n'abasaba esira okuliteeka ku by'okukiikirira mu kifo ky'obufumbo. Ensonga y'obufumbo yaletawo obutabanguko mu bantu.[17][18] Nandutu yategeeza nga bw'alina abaana musanvu nga wadde yagamba nga bw'atayinza kwongera ku by'ogerako ab'olupapula lwa The Observer bwelwali lumusoya ebibuuzo.[9]

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. https://www.tuko.co.ke/399970-uganda-elections-journalists-joel-ssenyonyi-agnes-nandutu-3-elected-parliament.html
  2. https://pearltimes.co.ug/ntv-ugandas-agnes-nandutu-picks-nrm-nomination-forms-for-bududa-woman-mp-seat/
  3. https://www.matookerepublic.com/2020/09/21/nrms-agnes-nandutu-says-the-poor-can-no-longer-win-an-election-in-uganda/
  4. https://eagle.co.ug/2020/07/24/ntv-journalist-agnes-nandutu-picks-nrm-nomination-forms.html
  5. https://www.pmldaily.com/news/2021/01/four-journalists-set-to-grace-the-11th-parliament.html
  6. https://www.watchdoguganda.com/news/20210124/107872/how-agnes-nandutu-used-journalism-to-build-a-career-in-politics.html
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2021-06-02. Retrieved 2021-04-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://chimpreports.com/from-newsroom-to-house-floor-how-journalists-performed-in-last-weeks-elections/
  9. 9.0 9.1 https://observer.ug/lifestyle/66517-agnes-nandutu-s-tough-childhood-was-worth-it
  10. 10.0 10.1 https://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Nandutu--The-people-s-speaker-on-the-People-s-Parliament/691232-2851964-lqdvqiz/index.html
  11. https://www.ntv.co.ug/anchors/4521988-4521974-2acvmr/index.html
  12. https://chimpreports.com/9689-ntvs-agness-nanduttu-reelected-uppa-president/
  13. https://www.sqoop.co.ug/201201/four-one-one/i-am-agnes-nandutuuuuuuu.html
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-17. Retrieved 2021-04-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. https://www.youtube.com/watch?v=z-Yd8BuekXU
  16. https://kyakala.com/agnes-nandutu-obore-parliament-doesnt-belong-family/
  17. https://www.independent.co.ug/bududa-woman-mp-campaigns-voters-task-ntvs-agnes-nandutu-to-present-husband/
  18. http://ugandaradionetwork.com/story/bududa-woman-mp-campaigns-voters-task-ntvs-agnes-nandutu-to-present-husband