Agnes Taaka
Agnes Taaka gwebatera okuyita Taaka Agnes Wejuli yazaalibwa nga 3 Ogwokuna mu 1980 nga Munabyabufuzi Omunayuganda, akola kunsonga z'abantu ezitali zimu era mu namateeka ali kukakiiko akakola amateeka. Ye mukyala omubaka akiikirira Disitulikiti ya Bugiri. Yawereza mu Paalamenti ya Uganda eyomwneda, eyekumu n'eyekumineemu nga Omubaka wa Paalamenti. Ali mu kibiina kyebyobufuzi ekiri mubuyinza ekya National Resistance Movement.[1][2]Ye Mubaka wa Paalamenti Omukyala owa Disitulikiti ya Bugiri wakati w'akaseera okuva 2021 okutuuka mu 2026 oluvannyuma lw'okulangirirwa ng'omuwanguzi mu kulonda okwakakomekerezebwa okwali okwa pulezidenti wa Uganda n'okwa Babaka ba Paalamenti.[3][4]
Okuwoma kwe n'obulamu bwe
kyusaMukyala mufumbo. Yamaliriza okusoma P7 okuva ku Kigulu Girls Primary school mu, oluvannyuma neyeegata ku Bukoyo Senior Secondary School gyeyatuulira S4 mu1996. Mu 1999, Agnes yeegata ku Iganga Senior Secondary School gyeyafunira satifikeeti ya S6. Yafuna Diguli mu by'embeera z'abantu n'ebitundu okuva ku Yunivasite y'e Makerere mu 2004. Okwongerezaako mu 2007, yagenda okwongerezaako ku misomo gye, gyeyafunira satifikeeti mu koosi yokudukanya amateeka okuva kutendekero lya Law Development Centre mu Kampala.[5]
Obumannyirivu bwe mu by'emirimu nga tanayigira byabufuzi
kyusaWakati wa 2006 ne 2014, Agnes yali akola ng'akulakulanya ebitundu ebyenjawulo mu gavumenti z'ebitundu mu Disitulikiti ye Bugiri, nga oluvannyuma baamukuza nebamufuula akulira okulakulanya ebitundu mu Bugiri Town Council gyeyakolera okuva mu 2014 okutuuka mu 2015. Okuva mu 2010 okutuuka mu 2012, yaweebwa eky'okukulira munisipaali za gavumenti z'ebitundu bya Disitulikiti ye Bugiri.[5] Y'akulembera ekitongole kya Taaka Agnes Wejuli Development Foundation.[6]
Emirimu gye mu byobufuzi
kyusaOkuva mu 2016 okutuuka kati, awereza nga Omukyala Omubaka owa Paalamenti akiikirira Konsitituweensi ya Bugiri.[5][7]Nga ali mu buwereza bw'Omubaka wa Paalamenti, mu Paalamenti ya Uganda, Agnes awereza ne kukakiiko k'ebyobulimi. Asinga kwagala kuzannya muzannyo gwa kubaka n'okuzina amazina, nga kuno kw'ateeka n'okwagala okulondoola amaka agali mumbeera embi, ebitundu wamu n'abavubuka.[5] Yeegatta ku kibiina Ekigatta Abakyala abali mu Paalamenti (UWOPA), mu Paalamenti e yekumi.[8] At Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA). Awereza ne ku kakiiko k'eteeka ly'ebyemirimu n'ebyenfuna akali awamu n'akadukanya embeera z'ebutundu mungeri y'okulaba nga bisala amagezi okulaba nga batuuka kuntegeka ennya ezitereddwawo.[9]
Laba ne bino
kyusa- Olukalala lwa babana ba Paalamenti ya Uganda eyekumineemu
- Olukalala lwa babana ba Paalamenti ya Uganda eyekumi
- Olukalala lwa babana ba Paalamenti ya Uganda eyomwenda
- Disitulikiti ye Bugiri
- Ekibiina kye byobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement
- Omubaka wa Paalamenti
- Paalamenti ya Uganda
Ewalala w'oyinza okubigya
kyusaEbijuliziddwaamu
kyusa- ↑ https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=170
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-06-15. Retrieved 2021-03-28.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/list-of-mps-who-have-been-declared-winners-so-far-3258198
- ↑ https://www.independent.co.ug/tag/agnes-taaka-wejuli/
- ↑ 5.0 5.1 5.2 5.3 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=170
- ↑ https://www.pmldaily.com/tag/taaka-agnes-wejuli-development-foundation
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/taaka-agnes-10152/
- ↑ https://web.archive.org/web/20210418030533/http://uwopa.or.ug/content/members-uwopa-10th-parliament
- ↑ https://web.archive.org/web/20210418020754/http://uwopa.or.ug/page/uwopa-round-table-committees