Akafuba
Akafuba
kyusaBuno bulwadde obuleetera okukololakola ekisusse. Endwadde eno esobola okujjanjabwa mu n'ezinjanjaba za mirundi ebiri: ey'ekizungu n'ey'ezinjanjaba y'ekinnansi. Enzijanjaba ey'ekinnansi esoboka ng'omuntu akozesa ekimera ekiyitibwa Ekkajjolyenjovu. AKAFUBA Akafuba bwe bulwadde obuleetebwa akawuka akakwata amawuggwe. Kaleetebwa singa omuntu ayingiza empewo erimu obuwuka bwako okuva ku muntu omulwadde waako era nga buyita mu kunyiza, okuseka, okuyimba, okukolola oba okuwandula era nga bino binnyonyolwa Dr. Charles Kasozi, omusawo mu kitundu ekimu. Dr. Lydia Nakiyingi era ng’ono musomesa mu matendekero agawaggulu ate ng’akola ku kunoonyereza ku ndwadde ezitali zimu ezikwata abantu mu kitongole ekimu e Makerere ayongerako nti akafuba kasobola okufunibwa singa omuntu afuna amalusu g’omuntu akalina. Kino kisobola okubaawo mu kuwandula, okukwata mu ngalo z’omuntu alina amalusu, ku minyolo egirina akawuka, ebintu ebikozesebwa awaka n’obutambaala bw’omungalo.. Newankubadde akafuba katera kukosa mawuggwe, Dr. Nakiyingi annyonyola nti kasobola okukosa ebitundu by’omubiri ebirala. Agamba nti ebitundu bino mulimu, olususu, omutima, ennyingo n’amagumba. Akafuba kasobola okukosa ebinywa mu mubiri n’obwongo. Dr. Nakiyingi annyonnyola nti bwekaba mu mawuggwe, kayitibwa kafuba ka mu misuwa. Bwe kaba wabweru w’amawuggwe, kayitibwa akafuba k’emisuwa egyawabweru era nga katera nnyo okukosa abantu abatalina bukuumi bumala mu mubiri naddala abo abalina akawuka ka ssirimu. Obubonero bw’akafuba Okusinziira ku Kasozi, obubonero mulimu: - Omusujjasujja okutera okubeerawo olweggulo. - Okutuuyana ekiro - Okukogga - Okukolola olutatadde Kasozi annyonnyola nti newankubadde akafuba kalagibwa mu ngeri zanjawulo mu bantu abalina akawuka ka ssirimu kuba omuntu ayinza obutaba na musujja ng’ate alina akafuba ak’olutatadde. Obujjanjabi Nakiyingi agamba nti akafuba kamutawaana nnyo aketaaga eddagala eritali limu okumala emyezi egiwera. Era agamba nti akawuka akaleeta obulwadde buno tekamala gafa. Ekiseera kino mu Yuganda, obujjanjabi butwala emyezi wakati w’omukaaga (6) n’omunaana (8) okusinziira ku ddagala erikozeseddwa.