Akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu Uganda


    Akakiiko k'eddembe ly'obuntu mu Uganda (UHRC) kaweereza okulabaalaba n'okulinyisa eddembe ly'obuntu mu Uganda. UHRC kitongole ekyatandikibwawo mu Ssemateeka wa 1995 akawayiiro 51 wansi w'ebbago ly'eddembe erisangibwa mu ssuula ey'okuna mu Ssemateeka. Kyagungibwawo ku Paris Principles nga by'ebyagobererwa okutandikawo ekyatuumibwa national human rights institution. Omulamwa gw'akyo omukulu gwatukirizibwa mu kawayiiro namba 52 mu Ssemateeka.[1]

Ekisangibwa kyusa

Ebitebe ebikulu ebya UHRC bisangibwa ku namba 4929 oluguudo lwa Buganda Road, ku kasozi k'e Nakasero, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.[2]

Enkola y'ekakiiko kano kyusa

Akakiiko kano kalina Sentebe, n'abalala abatakka wansi w'abasatu, abalondebwa Pulezidenti nga bakkirizibwa Paalamenti. Mu 2009, waaliwo ba Kaminsona musanvu. Sentebe w'akaseera ako yali omugenzi Meddie Kaggwa (1955–2019). Ba Mmemba b'akakiiko kano balina okuba abantu ab'empisa y'ekigunjuvu era n'entegeera y'abwe nga y'akakasibwa. Baweereza okumala ebbanga ly'amyaka mukaaga era bakkirizibwa okuddamu okulondebwa.[3]

Ba Sentebe b'akakiiko kyusa

Omugenzi Meddie Ssozi Kaggwa, y'adda mu bigere bya Margaret Sekaggya mu 2009. Okuva mu Gwekkuminogumu 2019, ekifo kya Ssentebe kikyali kikalu, oluvanyuma lw'okufa kwa Kaggwa, nga 20 Ogwekkuminogumu 2019.

Embeera y'akyo ku mutendera gw'ensi yonna kyusa

UHRC esiimibwa ne "A status" okuva mu International Co-ordinating Committee of National Human Rights Institutions (ICC), nga kino kibawa omwagaanya eri enkola y'ekibiina ky'amawanga amagatte eri eddembe ly'obuntu. Era mmemba mu Network of African National Human Rights Institutions.

Ebijuliziddwamu kyusa

  1. Government of Uganda (November 2019).
  2. https://en.wikipedia.org/wiki/Google
  3. UHRC (14 September 2009).

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya kyusa

Lua error: Invalid configuration file.