Akatale k’omulimi ekikonoona biibino

akatale k’omulimi ekikonoona biibino FARMING MARKETS PROBLEMS

Omutindo gw’ebimela
Ebyonoona obutale bw’omulimi byebino, omutindo gwekyo kyotunda, obungi bwebirimibwa, ensiba yabyo, entereka yabyo, endabika yabyo n’omutindo, ekifo awatundirwa, entambuza enkyaamu, enkwata gyobikwatamu, endabika yomutunzi.

‘’Omusubuzi owawakati’’ Abantu abawakati bebasubuzi abemirundi ebiri, abo abagula ebirime oba ebirundwa okuva ku balimi n’abalunzi mubyalo, ate nabo nebabiguza abasubuzi abalejjalejja. Ate nabasubula kubano ababitusizza mu bibuga okubigya gyebirimirwa oba ku malundiro, nebabiguza ababirya consumers Abalimi bandifunye ssente nnyingi singa betundira ebirime n’ensolo zaabwe butereevu mu katale. Abalimi okutundira awamu nga beggasse kijja kuyamba nnyo abalimi n’abalunzi era n’abaguzi ababirya. Kijja kukirizisa abasubuzi aba kolijja nabalongoosa ebirime ate naabo ababitwala emitala wamayanja okufunako akatono, basobole okuuwa abalimi emiwendo eminene mubirime nensolo zaabwe. Wano nno, Abalimi betaaga ebyaggi omuterekwa ebirime nga byamutindo ate nga biri ku kubo , basobole okukungaanya era n’okukuuma ebirime byabwe , awo era basobole okufuna entambula ennyangu. ‘’emigaso abalimi gyebafuna nga batundira wamu ebirime’’ gyegino. Byebatunda bimanyika mangu, ssente zonna ezetaagisa okukaza, okulongoosa, okupakira munsawo, mu bokisi [boxes], n’okubituusa gyebinatundibwa, zisondebwa okuva mu balimi bonna awamu. Tezinnyiga ssekinoomu. Abalimi bawalirizibwa okulongoosa ebirime byabwe nebitukira ddala kumutindo ogwawaggulu. Ate nga, Emirimu gyonna egikolebwa mu bweggassi, giwagirwa nnyo naddala Govumenti [Government] eya Uganda n’ebibiina ebirala ebya nakyewa NGOs