Akayanja ka Kabaka
Ennyanja ya Kabaka oba Akayanja ka Kabaka nga bwetera okuyitibwa nnyanja eyasimibwa omuntu n'emikono nga akozesa enkumbi era esinganibwa mu kitundu Ndeeba mu ggombolola Lubaga mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Ennyanja eno y'emu ku bifo eby'obulambuzi ebisinga etuttumu mu kibuga Kampala era etambulirako ebyafaayo eby'amaanyi naddala eri Abaganda n'obwakabaka era yamugaso eri eby'obuwangwa.[1][2] Mu Uganda ennyanja ya Kabaka y'enyanja ensime n'emikono esinga obunene.[3]
Ebyafaayo by'enyanja ya Kabaka
kyusaEnnyanja ka Kabaka yasimibwa mu biseera by'ekyasa ekyo 19 ku biragiro bya Kabaka Mwanga II eyali owa Buganda,(Kabaka ono era ajjukirwa nyo olw'okuwa ebiragiro ebyavaako okuttibwa kwabakkiriza oluvanyuma abafuuka Abajulizi ba Uganda). Okusinziira ku mboozi yamawulire[4] ey'omukutu gw'obwakabaka ogwa BBS Terefayina eyakolebwa ku nyanja eno eraga nti Enyanja ya Kabaka yasimibwa ku biragiro bya Kabaka Mwanga era nga kino kyava ku kwagala kweyalina eri okubeera okumpi n'amazzi era nga yali agenderera nokutumbula eby'okwerinda bye wamu nokutumbula ebyobusuubuzi akageri kekiri nti enyanja eno olubereberye yali yakusimibwa okutuuka nga ekwataganye n'enyanja nalubaale oba Victoria nga bweyitibwa kati. Ennyanja eno era yasimibwa okuwa Kabaka Mwanga amazzi kwasobolera okuwummulira era n'okutekawo obukuumi eri olubiri lwe e Mengo.[3][5][6]
Enkula yaayo n'ebigisinganibwaako
kyusaEnnyanja ya Kabaka eliko obugazi bwa yiika 200 nga zino ze sikweeya kiromita 0.8, nga erina obwanvu bwa mita 4.5 okuka wansi. Enzizi ez'obutonde (soma ensulo) awamu n'amazzi g'enkuba byebintu ebiriikiriza ennyanja eno okubaamu amazzi obudde bwonna. Ennyanja eno era eliko ekizinga ekyabbulwa mu yaliko Nnaabagereka wa Buganda Nnambi Nantuttululu era ekizinga kino kiriko engabo ey'ekyuuma eyatekeebwako ku Mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II okusinziira ku kunyonyola kw'omukungu Abdul Karim Ssemanda era nga ono yamyuka akulira ekitongole ky'obwakabaka ekivunaanyizibwa ku by'obulambuzi n'enono ekya Buganda Heritage and Tourism Board[7]
Ebikolebwako n'omugaso
kyusaEnyanja ya Kabaka erina emigaso egy'enjawulo eri abantu abajetoloode muno mulimu; okubawa amazzi gebakozesa mu kufukirira ebimera byabwe wamu n'ebyetaago ebyabulijjo. Ennyanja eno era kifo kyabulambuzi, nga kisikiriza abantu b'omukitundu wamu n'abalambuzi abakolerako ebintu nga okuvugirako amaato, okuwumulirawo, wamu n'okutambulirawo nadala kumbalama.[8][1]
Omugaso eri eby'obuwangwa
kyusaEnnyanja ya Kabaka elina omugaso munene nnyo eri eby'obuwangwa wamu n'ebyafaayo eri abantu mu Uganda, nadala mu bwakabaka bwa Buganda.Eno etwalibwa okubeera akabonero k'ensibuko y'obumu mu bwakabaka, era nga ekozesebwa ku mikolo egy'enjawulo nadala ku bikujuko by'obuwangwa eby'omugaso. Akakwate k'ennyanja eno n'obwakabaka bwa Buganda wamu n'abakulembezze ab'obuwangwa ky'ongera okulaga omugaso gyekalina eri obuwangwa.[1]
Laba ne bino
kyusaEbijjuliziddwaamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/kabaka-s-lake-his-highness-mwanga-s-positive-legacy-1549042
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=uhlinBM3mQ4
- ↑ 3.0 3.1 https://www.ganyanasafaris.com/blog/kabaka-lake-the-largest-man-made-lake-in-uganda/
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=E8ekOdVw28s
- ↑ https://ngaaliinflightmag.com/kabaka%c2%92s-lake-a-heritage-wonder/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-07-15. Retrieved 2024-06-28.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-07-23. Retrieved 2024-07-23.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.bwindiugandagorillatrekking.com/kabakas-lake/