Akaziba ka ayidologyeni (hydrogen atom)
Ayidologyeni ke kaziba akasingayo obwangu era mu nnaku ezasooka nga “okubwatuka okunene” (big-bang) kumaze okubaawo, ayidologyeni kye kika ky'akaziba kyokka ekyali mu bwengula obupya.
Akaziba ka ayidologyeni, okufaanana n'obuziba obulala endala, kalina obuziizi (nuleous) naye buno bbwo ebulimu akakontanyo kamu kokka, n’akasannyalazo kamu, akatebenta okwetoloola obuziizi bw'akaziba.
Obuziba bwa ayidologyeni obwasooka mu bwengula bwetuuma wamu mu birimba ebiyitibwa nabire (nebulae). Nabire bwe yafuuka enkwafuwavu (when the nebula became dense) ekimala, n’evaamu ekiyitibwa enjuba. Munda mw’enjuba zino mwalimu ebbugumu lingi nnyo n’empalirizo esikira mu njuba (ensikirizo = gravity).
Ensikirizo ey’amaanyi (strong gravity) n’enyigira wamu atomu za k-mazzi ekyatondekawo atomu za k-mazzi nnya ezikwasiwaziddwa wamu (bonded together) okutondekawo akaziba akapya akalina obukontanyo bubiri, nampawengwa bbiri, n’obusennyalazo bubiri. Kano kaziba ka kaziba akayitibwa “keriyamu” (helium).
Obukontanyo bwalina amasoboza (energy) mangi okusinga aga nampawengwa, olwo amasoboza agasukkulumye ne gawaguza okugenda mu bwengula ne gakola okwokya n’ekitangaala kino ekitumulisa.
Mu butuufu munda mw’enjuba ezisinga obungi mu bwengula obuwumbi n’obuwumbi bw,obuziba bwa ayidologyeni(billions of hydrogen atoms) buli mu kukyuka okufuuka obuziba bwa keriyamu (helium atoms) buli lunaku. Enjuba singa eba tekyalimu ayidologyeni (hydrogen), efuuka sabalangaatira (super giant) oba omulangaatira gw’enjuba omumyufu (red giant).
Kyokka si buli ayidologyeni nti yasigala mu njuba.Ayidologyeni omu yatandika okuwewenyuka okwetoloola enjuba. Ayidologyeni yegattika n’ebika by'obuziba ebirala, oluvannyuma lw’ekiseera essikirizo (gravity) ne lisikira awamu obuziba buno okukola enkulungo z’enjuba (planets of the sun).
Ku nsi kuliko obuziba bwa ayidologyeni nkuyanja, yadde obusinga ku bbwo bwegasse n'obuziba obulala okukola molekyu. Olw’okuba obuziba bwa ayidologyeni buwewufu nnyo, buwewuka okusinga empewo, ekitegeeza nti bw’ojjuza bbaluuni ne ayidologyeni eba etengejja waggulu mu lubaale okufaanana ne bbaluuni ya keriyamu gy’ogula ku dduuka.
Ekintu ekisinga obukulu ku ayidologyeni, bwe buziba obubiri obwa ayidologyeni obwekwasawaza n'akaziizi kamu aka okisigyeni okutendekawo molekyo y’amazzi ag’omugaso ennyo mu bulamu ate era akaziizi aka kitondekamazzi kegatta n'akaziizi ka kaboni okukola molekyo ya "kaboni za nakazzi" (hydrocarbons), eno nga eba molekyo ya kaboni n’amazzi, omukolebwa ebiramu byonna.