Alex Ruhunda
Alex Ruhunda (yazaalibwa nga 2 Ogwekkuminebiri 1971) Munnayuganda ey'ebuuzibwako mu byokunoonyereza, mukwanaganya w'ensonga z'okukitundu, Munnabizinensi era Munnabyabufuzi. Ye Mmemba wa Paalamenti omulonde owa Munisipalite y'e Fort Portal era y'akiikirira ekibiina kya NRM, ekibiina ekiri mu bukulembeze bwa Uganda.[1]
Ruhunda ye Ssentebe w'ekibiina kya Parliamentary Forum for Road Safety, era Ssentebe wa Rwenzori MPs Forum, Omumyuka wa Ssentebe ku Kakiiko ka Paalamenti ak'eby'obusuubuzi, k'ebyobulambuzi n'amakolero era Mmemba ku kakiiko k'eby'embalirira mu Paalamenti ya Uganda eya 10.[2][3]
Mu 2007, yali Pulezidenti wa IACD, ekigwaayo nti (International Association for Community Development) nga ye mutandiisi era eyali omukulu atwala ekitongole kya Kabarole Research and Resource Centre (KRC), ekitongole ky'obwannanyini ekisangibwa mu Ttundutundu ly'e Toro.[4][5] Era yaliko Mmemba mu Ttendekero lya Mountains of the Moon University, kalabalaaba w'ebibiina ebiwerako ebiwola n'okutereka ssente (SACCOs) mu Uganda era atuula ku bukiiko bw'ebitongole ebiyanba abali mu bwetaavu nga mwemuli ne Rotary International n'ebirala bingi.[6][7][8]
Obuto bwe n'emisomo gye
kyusaRuhunda yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kabarole, nga 2 Ogwekkuminebiri 1971 mu famire y'abakatoliki. Yasomera ku St Peter and Paul Primary School, Kijanju, Fort Portal M/C mu misomo gye egya Pulayimale, City High School, Kampala mu misomo gye ku mutendera gwa O-level ne Namilyango College mu misomo gya A-Level .[9]
Ruhunda oluvanyuma yegatta ku Ssettendekero wa Makerere ng'eno gya yatikkirwa Diguli eya Bachelor of Social Science in Political Science and Public Administration mu 1996. Mu Ssettendekero y'omu, Ruhunda yeyongerayo nafuna Diguli ey'okubiri mu misomo gya Master of Arts in Gender and Development studies mu 2000.[1]
Emirimu gye
kyusaOluvanyuma lw'okutikkirwa mu 1996, Ruhunda yatandikawo, naweereza nga Dayilekita era ng'omuwandiisi w'akakiiko akakulu mu kibiina kya Kabarole Research and Resource Centre (KRC), ng'ekifo kino yakikwasa omulala mu 2009. Nga akyakulembera ekitongole eky'okunoonyereza, yakulemberamu pulogulaamu z'okunoonyereza eza MTN Uganda, Shell Uganda ne mu bitongole ebirala era nga yaweereza nga omukulembeze wa ACD mu 2007 era nga Mmemba ku kakiiko akakulembera ekitongole kya global community development organization ngakiikirira Ssemazinga wa Africa.[10]
Era yaweereza nga Ssentebe omutandiisi w'ekibiina kya Uganda Governance Monitoring Platform (UGMP)[11] era nga kalaabalaaba wa Sustainable Agriculture Trainers Network (SATNET), Rwenzori-Anti-Corruption-Coalition (RAC) n'ebitongole ebirala eby'enjawulo. Alex Ruhunda, wamu ne Dennis Mugarra, Joseph Rwabuhinga batandiikawo Kkampuni ya DAJ Communications mu 2000, nga mu Kkamouni eno Ruhunda akyaweereza nga Dayilekita ow'okuttikko.[12]
Mu mwaka gwa 2011, Ruhunda yegatta ku by'obufuzi ku tiketi ya'ekibiina kya NRM era nafuuka Mmemba mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda nga akiikirira Munisipalite y'e Fort Portal. Mu 2016, yawangula akalulu akaddako era n'asigala ng'awereeza mu Konsityuwensi y'emu mu Paalamenti 10th ey'eKKula lya Africa.[13]
Mu Paalamenti ey'omwenda, Ruhunda yaweereza ku Kakiiko ka Paalamenti aka ad hoc committee okunoonyereza ku nsonga z'amasanyalaze; akakiiko akanoonyereza ku nsonga z'ebyobugagga eby'omuttaka. Mu Paalamenti ey'ekkumi, y'e Ssentebe w'akakiiko ka Paalamenti akakwasaganya obutebenkev ku nguudo aka Parliamentary Forum for Road Safety,[14] Ssentebe w'akakiika ka Rwenzori MPs Forum, Omumyuka wa Ssentebe wa kakiiko ak'ebyobusuubuzi, Obulambuzi n'amakolero, era Mmemba ku kakiiko k'ebyembalirira.[15]
Emyaka egiyise, Alex Ruhunda ayanjudde empapula eziwerako era akaatirizza ensonga ez'enjawulo eri abantu ab'enjawulo okwetoloola ensi yonna era aky'eyongerayo n'omulimu ogwo.[7]
Mu 2017 Ruhunda yawandiika ekiwandiiko ekyakozesebwa mu The Tower Post okusaayo endowooza ye ku nsonga z'okuggya ekkomo ku myaka gy'obufuzi mu Ggwanga. Yawandiika bwati, "Nsubira Katonda anakwata mu mutima gwa Pulezidenti Yoweri Museveni okwewala okukemebwa ng'awuliriza endowooza z'abantu abamu abalina ebigendererwa byabwe nga basindikiriza eky'okuggya ekkomo ku myaka gy'obukulembe mu Ssemateeka wa Uganda."[16]
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=95
- ↑ http://torodev.blogspot.ug/2013/08/rwenzori-mps-boss-gives-accountability.html
- ↑ http://www.newtimes.co.rw/section/Printer/2017-03-21/209263/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-19. Retrieved 2024-03-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-09-08. Retrieved 2024-03-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1434793/fort-portal-shines
- ↑ 7.0 7.1 https://books.google.com/books?id=hHnFBQAAQBAJ&q=rotary+international+ruhunda+alex+uganda&pg=PT378
- ↑ https://journalism.mak.ac.ug/?q=news/010816/mp-ruhunda-moves-end-drug-abuse-poor-performance-fort-portal-schools-0
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1328535/museveni-grace-city-school-celebrations
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1450476/fort-portal-hospital-boost-emergency-ward
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-09-15. Retrieved 2024-03-22.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1309068/daj-communications
- ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/alex-ruhunda-leads-fort-portal-mp-seat
- ↑ https://web.archive.org/web/20170505222820/http://www.parliament.go.ug/index.php/about-parliament/parliamentary-news/1224-sensitize-citizens-on-road-use-speaker
- ↑ http://ict4democracy.org/category/blog/page/6/
- ↑ http://thetowerpost.com/2017/09/24/mp-alex-ruhunda-why-i-rejected-nrm-caucus-plot-to-remove-age-limit/