Alintuma Nsambu amanyikiddwa nga Alintuma Nsambu John Chrysostom Munnayuganda akiikirira ensi ye mu mawanga ge bweru, munnabyabufuzi era omukozi w'amateeka. Yaweerezako nga state minister wa information & communication technology okuva mu mwaka gwa 2006 okutuusa mu gwa 2011.[1][2] Yakyuusibwa okuva mu cabinet okuda mu Diplomatic Service era Nyombi Thembo namudira mu bigere mu lukyuusa lwa cabinet olwa 27 Pgwokutaano 2011.[3]

Ebimukwatako n'emisomo kyusa

Nsambu yasomera ku United States International University mu San Diego era ne Technical University of Braunschweig mu Germany.[4]

Emirimu kyusa

Okuva mu mwaka gwa 1996 okutuusa 2000, Nsambu yaweereza nga officer-in-charge ne coordinator wa Exchange Students’ Program eya European Union ku ttendekero lya Technical University of Braunschweig mu Germany.[4]

Nsambu yaweereza nga omubaka omulonde ku bwa mmemba wa Paalamenti akiikirira Bukoto County East mu Disitulikitti ye Masaka okuva 2001 okutuusa 2011. Mu kakululu ka bonna aka 2011 national election, yawangulwa Florence Namayanja, owa Democratic Party.[5][6]

Nsambu yaweereza nga ambassador wa Uganda to Eritrea omulonde naye yamaliriza aweereza nga High Commissioner wa Uganda eri Canada.[4][2]

Mu mwaka gwa 2013, yesimbawo ku bwa MP Bukoto South Constituency mu Disitulikitti ye Lwengo eyo gyeyawngulibwa Omugenzi Matia Nsubuga Birekerawo eyali omuwandiisi wa Democratic Party n'obubonero butino nyo.

Waliwo ekigambibwa nti okuwangulwa kwa Nsambu kwonna kwaleetebwaawo eyali Police Chief, Gen.Kale Kayihura akilizibwa okuba nti yakyuusa ebivudde mu kulonda. Nga akyaali Minisita, Nsambu akirizibwa okuba nti yagaana okukiriza enguzi okuva eri Kayihura okuwa engule ya ID production project eri abakozi b'ekitongole kye mu Bufaransa.

Nga okulonda kwa kagwa, Pulezidenti Museveni yatuuma Alintuma Nsambu Ambassador wa Uganda eri Canada, Cuba ne the Bahamas.

Mu mwaka gwa 2016, Pulezidenti Museveni yasdika Nsambu e Algiersnga Ambassador wa Uganda eri Maghreb region (Tunisia, Morocco, Mauritania, Algeria).

Ebikolwa kyusa

Alintuma Nsambu asinga kujukilwa mu mirimu jye ejy'okuyamba ku kuzimba labarotory za Kompyuta mu masomero ga Uganda nga ayambidwaako muwala wa Bill Gates - Jennifer Gates era n'amasomero gomu Bellevue area schools mu Washington State.

Nga Minisita, Alintuma Nsambu yawa Pulezidenti Museveni amagezi okuteekawo national data bank eya ba nansi ba Uganda era ekyo ky'afuuka akabonero k'okutandikawo National Identification Project eyambye buli Munnayuganda omukulu okubeera ne nanga muntu(National ID).

Nga Minisita wa ICT, Alintuma Nsambu yatandikawo enkola ya Mobile Money mu bitongole by'empuliziganya kati omukutu ogukyasinze okukozesebwa mu kusindika ssente mu Uganda.

Obulamu kyusa

Nsambu yawasa Susan Nakawuki mu 2014.[7][8][9][10]

Ebijuliziddwa kyusa

Ebijuliziddwa wa bweru wa Wikipediya kyusa