Aloisea Inyumba (28 gwa kkumi n'ebiri 1964 - 6 ogw'ekkumi n'ebiri 2012) yali munnabyabufuzi w'e Rwanda, eyali minisita w'eggwanga ow'okutumbula ekikula n'amaka era nga muwandiisi w'akakiiko k'obumu n'okuzzaawo emirembe.[1]

Bwe yali asoma eby'okukola ku nsonga z'abantu n'obukulembeze bw'abantu mu Yunivasite ya Makerere mu Uganda, yeegatta ku kibiina kya Rwandan Patriotic Front.[1]

Pulezidenti Paul Kagame ye yasoma obubaka ku lumbe lwe .[1]

Obulamu bwe obwasooka

kyusa

Aloisea Inyumba yazaalibwa nga 28 ogw'ekkumi n'ebiri 1964 mu Uganda, mu bazadde be abazaalibwa mu Rwanda.[1] Yazaalibwa oluvannyuma lw'enkyukakyuka eyaliwo mu Rwanda mu 1959, eyalaga okuteekebwawo kw'olukiiko olwali lufugibwa Abahutu abasinga obungi, n'okuyigganyizibwa kw'abantu abatono ab'ekika kya Tutsi. Bazadde be bwe baali bakyali mu Rwanda, era nga tannazaalibwa, kitaawe yattibwa mu lutalo lw'Abatuusi; nnyina yadduka ne baganda be bataano n'ab'ab'omu maka ge ne baddukira mu Uganda.[1]

Inyumba yakulira mu Uganda, n'amaliriza emisomo gye, n'agenda ku Makerere University mu Kampala, nakusoma diguli mu mirimu gy'abantu n'obukulembeze bw'abantu.[1] Mu 1985, yasisinkana Paul Kagame, omulundi gwe ogwasooka ,omunoonyi w'obubudamu omulala owa Rwanda mu kiseera ekyo eyali aweereza mu ggye lya bayeekera erya Yoweri Museveni. Nga wayiseewo omwaka gumu, Museveni yafuna obuyinza ku ggwanga era n'asindika Kagame ne munne ow'e Rwanda Fred Rwigyema okuba abakungu mu ggye ly'eggwanga lyabwe. Kagame ne Rwigyma baafuna ebifo bino, naye ekigendererwa kyabwe ekikulu kyali kya kudda mu ggwanga lyabwe, okusobola okuyambako okukomawo kw'abanoonyi b'obubudamu . Kagame ne Rwigyemabeegatta ne bawamba Rwandan Patriotic , ekitongole kyokwenunula era Inyumba kweyegatta .[2][1]

Eby'obufuzi bwe

kyusa

Oluvannyuma lw'obuwanguzi bwa RPF mu gw'omusanvu 1994, Inyumba yalondebwa mu gavumenti empya ey'ekiseera.[1] Gavumenti eno yakulemberwa Pulezidenti Pasteur Bizimungu, naye eggwanga lyali likulemberwa Paul Kagame. Yalondebwa okubeera Minisita w'okutumbula abakazi n'amaka, era n'atandikawo entegeka ey'okwetegekera abakyala okuzimba Rwanda.[1][1]

Mu 2011, yaddamu n'alondebwa mu kifo kye eky'emabega nga Minisita w'okutumbula ekikula n'okutumbuza amaka, ekifo kye yamala ng'akikola okutuusa lwe yafa mu 2012.[1]

Obulamu bwe n'okufa kwe

kyusa

Inyumba yafumbirwa Dr. Richard Masozera, eyaliko Director-General wa Rwanda Civil Aviation Authority (RCAA).[3] Abafumbo baatandika okwogerezeganya nga bombi bakyali bayizi mu Makerere University mu Kampala.[3] Baalina abaana babiri, omuwala n'omulenzi.[2]

Inyumba yafa nga 6 ogw'ekkumi neebiri 2012 mu maka ge e Kigali.[4] Yali mulwadde wa kkansa w'omubulago, era yali yakakomawo awaka oluvannyuma lw'okunoonya obujjanjabi mu Germany.[5][2] Inyumba yaweebwa omukolo gw'okuziikibwa mu kizimbe kya Palamenti ya Rwanda mu Kigali era obubaka bwe bwasomebwa pulezidenti w'eggwanga, Paul Kagame.[2] Kagame yamwogerako ng'omukulembeze afa ku bantu abalala nga "yali mulungi nnyo nga muyivu era ng'alina endowooza ennuŋŋamu".[2] Aboogezi abalala abaaliwo ku kuziikakwe okwali minisita w'ensonga z'akakiiko Protais Musoni n'omumyuka wa gavana wa National Bank of Rwanda, Monique Nsanzabaganwa.[2]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 https://web.archive.org/web/20130311012945/http://www.independent.co.uk/news/obituaries/aloisea-inyumba-politician-who-played-a-key-role-in-the-rebuilding-of-rwanda-8527166.html
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 "Archive copy". Archived from the original on 2016-10-21. Retrieved 2022-10-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. 3.0 3.1 https://www.theeastafrican.co.ke/Rwanda/News/Kagame-leads-nation-in-eulogising-Inyumba/1433218-1643938-2i719r/index.html
  4. http://www.newtimes.co.rw/section/article/2012-12-07/60544/
  5. http://www.newtimes.co.rw/section/article/2012-12-07/60544/

Ebitabo ebijuliziddwa

kyusa
  •  
  •  

Ebijuliziddwamu eby'ebweru

kyusa