okukozesa amanyi

Amaanyi kye ki?

kyusa

Mu nnyinyonnyola eya bulijjo, Amaanyi y'embeera nga singa ebeera eteekeddwa ku kintu esobola okukiggya mu kifo ekimu okukizza mu kirala oba Amaanyi bwe busobozi bw'omuyuŋŋano gwonna okukola omulimu. Amaanyi gali buli wamu nga mu bantu oba mu bisolo oba mu bintu ebitalina bulamu okugeza ennyonyi, Ekitaangaala, Ebyuma n'ebirala. Amaanyi ga ngeri nnyingi: Amajjuluzi, Ag’omu kifo, Ekitaangaala, Amaloboozi, Ag’oku ttaka, Amanafuya, Amanaanuufu oba Ag’mu buttoffaali. Okusinziira Ku mateeka g'okukuuma Amaanyi, Amaanyi ag'engeri yonna gasobola okukyusibwa ne gazzibwa mu ngeri endala naye nga omuwendo gwago gusigadde gwe gumu. Okugeza, Omukozi asindika ensawo Amaanyi ge amajjuluzi gakyusibwa ne gafuuka ag'ekifo okuva Ku nkyukakyuka ebaawo oba singa oyokya ekiti, Amaanyi agakirimu gafuuka ebbugumu oba bw'oteeka essimu yo Ku masannyalaze, Amaanyi g'amasannyalaze gakyusibwa ne gasobola okuterekebwa mu buttoffaali obuli mu lyanda. Enkyukakyuka nnyingi ez’amaanyi ag'obutonde n'agatali ageeyolekera Ku mitimbagano buli lukya. Envumbula nnyingi ez'amaanyi agatali ga butonde zibaddewo okumala emyaka.

Amaanyi gava mu ki?

kyusa

Amaanyi gaawuddwamu ebibinja ebikulu bibiri: Ag'obutonde n'agatali ga butonde.

Amaanyi ag'obutonde.

kyusa

Amaanyi ag'obutonde ge maanyi agava mu bintu binnansangwa. Ga,ba, enjuba, empewo, enkuba era gasobola okufunibwa nga gaddiŋŋanibwa wonna we geetaagisibwa. Amaanyi ago mangi ddala mu nsi. Okugeza, Amaanyi ge tufuna mu njuba gasobola okukozesebwa ne tufunamu amasannyalaze. Mu Amaanyi agava mu mpewo, ebbugumu ly'omuttaka, agoomubimera, ag’omu bbanga gonna gasobola okukozesebwa okutuukiriza ebyetaago byaffe ebya bulijjo. Bino bye bimu Ku birungi n'ebibi ebiri mu kukozesa Amaanyi ag'obutonde.

Ebirungi

kyusa

Enjuba, Empewo, Ettaka, n’amayanja weebiri mu bungi ate nga bya bweereere. Amaanyi agatali ga butonde ge tukozesa matono ate nga gaggwaawo. Amaanyi ag'obutonde gagambibwa obutaba na bulabe Ku bwebulungulule. Amaanyi g'obutonde gayamba okwongera Ku by'enfuna n'okutondawo emirimu. Ensimbi ezikozesebwa okuzimba amakolero gasobola okubangawo emirimu eri enkumi n'enkumi z’abantu. Tekikwetaagisa kwesigama Ku muntu yenna okukutuusaako Amaanyi ag'obutonde nga bwe kiri Ku gatali ga butonde. Amaanyi g'obutonde galina emisoso mitono okusinga okukozesa amasannyalaze. Eyo gye bujja, emiwendo gy’amasannyalaze gisuubira okweyongeraa kubanga emiwendo gyago gisinziira Ku gy'amafuta, noolwekyo amaanyi g'obutonde gayamba okukendeeza ku misoso gy'amasannyalaze. Ebisikiriza eby'enjawulo ku misolo ng’ebiwandiiko ebisonyiwa emisolo, okukendeeza ku misolo weebiri eri abantu abaagala okutandikawo ebintu bino omuva ssente.

Ebitali birungi

kyusa

Si kyangu kutandikawo makolero gano kuba emisoso mingi. Amaanyi g'enjuba gasobola kukozesebwa budde bwa misana so si kiro oba mu biseera by'enkuba. Ebbugumu ly’omu ttaka erikozesebwa okukola amasannyalaze nalyo kya bulabe. Lisobola okuvaamu omukka ogw’obulabe wamu n'okuleeta enkyukakyuka mu bwebulungulule. Amasannyalaze gatuwa Amaanyi amalungi naye okuzimba amabibiro kiwemmenta obusanga wamu n'okwonoona entambula y'amazzi nga kw'ossa n'okutaataaganya ebintu ebibeeramu. Okukozesa amaanyi g'enjuba, olina okwesigama ku mpewo ez’amaanyi noolwekyo weetaaga okulonda ekifo ekirungi okugakola. Era kitaataaganya omuwendo gw'ebinyonyi mu bbanga.

Amaanyi agatali ga butonde

kyusa

Amaanyi agatali ga butonde mangi agaggyibwa mu bintu ebiri ku nsi. Bino bya kuggwaawo mu myaka ataano mu etaano okuva kati. Amaanyi agatali ga butonde si malungi ku bwebulungulule bwaffe era ga bulabe nnyo ku bulamu bwaffe. Gayitibwa agatali ga butonde kubanga tegasobola kuzzibwawo mu kaseera katono. Amaanyi agatali ga butonde gasangibwa mu bintu nga ebisigalira by'ebisolo, amafuta n'ebirala. Bino bye bimu ku birungi n'ebibi ebiri mu kukozesa amaanyi agatali ga butonde.

Ebirungi

kyusa

Amaanyi agatali ga butonde so gaabuseere naye nga mangu okukozesa okugeza kyangu okuteeka amafuta mu mmotoka. Osobola okuteekamu kitono ate n'ofunamu obungi bw’amasannyalaze obuwera. Tegaliiko kuvuganyizibwa. Okugeza, singa obeera ovuga baatule n'eggwaako, tosobola kugiddizaako mu lugendo wakati okuggyako ng’ogenze we bazikolerako. Gatwalibwa okuba nga si gaabuseere okugakyusa okugazza mu kikula ekirala.

Ebitali birungi

kyusa

Amaanyi agatali ga butonde gajja kutuuka gaggweewo. Amaanyi gano gavaamu omukka omubi bwe gaba gakolebwa era ne goonoona omukka ffe abantu gwe tussa. Ng’amaanyi gano bwe gali ag’okuggwaawo akaseera konna, emiwendo gyago gyeyongera buli lukya.

Lwaki tulina okukuuma ebikwata ku maanyi?

kyusa

Amaanyi gano galina okukuumibwa tusobole okutangira obwebulungulule bwaffe obutataataaganyizibwa. Tulina okugakuuma olw'emigigi egijja. Obungi amaanyi ago bwe tugakozeserezaamu kiyiza okuba eky'obulabe ku nsi. Tusobola okukendeeza ku bulabe obuyinza okututuukako nga tukozesa amaanyi matono. Emisoso gy'amaanyi ago gyeyongera buli mwaka. Kya mugaso okumanya omuwendo gw'amaanyi ago era ne tutagadiibuuda. Tusobola bulungi okukendeeza ku bungi bw’amaanyi ge tukozesa. Tusobola okukendeeza amaanyi nga tutandikira mu maka gaffe, nga tuggyako amataala emisana; engoye nga tuzooza n’amazzi amabisi oba okukozesa entambula ez'olukale mu kifo ky'okukozesa ez'obwannanyini.