Amalagala ga lumonde biba bikoola okuba n'obuti omulimi by'asonseka mu kikata kya lumonde. Ku buti obuba busonsekeddwa mu kikata ebikoola ne bisigala wabweru w'ekikata kwe kumera emirandira egigenda nga gikulira mu kikata okutuusa lwe gifuuka lumonde. Okusonseka amalagala ga lumonde mu kikata bakuyita okubyala mu Luganda. Amalagala ga lumonde nno gaavaamu n'enjogera egamba nti "akootakoota mu ga lumonde". Ng'amakulu amakusike agali mu njogera eyo gali nti omuntu akola ekintu ky'ataayinze kutuukira oba kufunamu kalungi konna aba amala biseera bye okufaananako ng'omuntu amala ebiseera okugezaako okukootakoota, kwe kugamba okwekweka mu malagala ga lumonde mbu abamunoonya baleme okumulaba.

Amalagala