Template:Infobox officeholderJohn Patrick Amama Mbabazi, amanyiddwa nga Amama Mbabazi yazaalibwa nga 16 omwezi ogw'olubereberye mu mwaka gwa 1949. Munnauganda era munnabyabufuzi eyaweerezaako paalamenti ey'omwenda nga Ssaabaminisita wa Uganda okuva nga 24 omwezi ogw;okutaano mu mwaka gwa 2011 okutuuka nga 19 omwezi ogw'omwenda omwaka 2014.yakola omulimu munene nyo mu gavumenti ez'enjazwulo ezirwanyisa obufuzi bwa bamusibiramubbwa okuva mu (1972-1986) era y'omu ku batandisi b'ekibiina kya National Resistance Movement, ekibiina ekiri mu buyinza kaakati.


Mbabazi yakolako ng'omubaga akiikirira Kinziki West constituency mu disitulikiti y'eKanungu mu Paalamenti. Ekifo kino yakibeeramu okuva m1996 okutuusa mu mwaka gwa 2016[1] lwe yavuganya ku kifo ky'obukulembeze bw'eggwanga naye n'awangulwa.



Obuto bwe n'okusoma kwe.

Yazazalibwa nga 16 omwezi ogw;olubereberye mu mwaka gwa 1949[2] ku kyalo Mparo mu ssaza lya Rukiga kati eyafuuka Kabaale disitulikiti. Yasomerako mu matendekero agamanyiddwa ennyo mu ggwanga mu kiseera ekyabafuzi b'amatwale ne mu kaseera nga Uganda efunye obwetwaze, nga muno mulimu Kigezi College Butobere ne Ntare school ng'eno gye yamalirriza siniya eyoomukaaga [3].Mbabazi yafuna diguli y'amateeka okuva mu Makerere University.[4] N'oluvnyuma n'afuna dipulooma mu kukozesa amateeka okuva mu Law Development center e Kampala.[5] Munnamateeka mu kkooti ya ugandaenkulu era abadde mmemba w'ekibiina ekigatta bannamateeka bonna mu Uganda. mu uganda okuviira ddala mu mwaka gwa 1977


Early life and education kyusa

Emirimu gye kyusa

Nga tannaba kwesogga nsiike ya byabufuzi, yakolako nga Ssaabawolereza wa gavumenti okuva mu 1976 okutuuka mu 1978 era n'asuumusibwa okufuuka Ssaabawandiisi w'ekibiina ekigatta ba nnamateeka mu ggwanga okuva mu mwaka gwa 1977 okutuuka mu mwaka gwa 1979[6]

Wakati wa 1986 ne 1992, Mbabazi yaweerezaako ng'akulira ekitongole ekirondoola eby'okwerinda bya Uganda n'ebweru waayo(ESO)[7]



Yaweerezaako nga Minisita mu office y'omukulembeze w'eggwanga avunaanyizibwa ku nsonga z'eby'obufuzi.[8]

yafuuka ssaabawandiisi w'akakundi kekibiina ekya NRM aka Constituent Assembly [9]akaakola ssemateeka wa 1995


Yaliko Minisita w'eggwanga ow'eby'okwerinda wakati wa 1986 ne 1992[10],ate era n'aweerezaalo nga minister of state for regional cooperatio okuva mu mwaka gwa 1998 okutuuka mu 2001[11]. yaliko ssaabawolereza wa gavumenti ate nga minisita w'obwenkanya okuva mu mwaka gwa 2004 okutuuka mu mwaka gwa 2006 ekifo ekyamuwanguza n'ekitiibwa ky'okubeera minisita asinze okukola obulungi (super minister).mu mwaka gwa 2006 Mbabazi yalondebwa okubeera minisita w'eby'okwerinda(defence) ekifo kyabeeramu okutuusa ye yafuulibwa minisita w'obutebenkevu mu mwaka gwa 2009[12] era nga ekifo kino yakibeeramu okutuusa mu mwezi gw'okutaano mu mwaka gwa 2011 lwe yalondebwa ku kifo ky'obwa ssaabamininsita bw;egganga.

.

Yaliko ssaaabawandiisi w'ekibiina kya NRM okuva mu mu mwaka gwa 2005 omwezi ogw'ekkuminoogumu okutuusa mu mwaka gwa 2015 omwezi ogw'olubereberye.[13][14]

Avuganya ku bwa Pulezidenti kyusa

Mu mwezi gw'omwenda omwaka 2014[15],Ruhakana Rugunda eyali enfiirabulago ya Mbabazi okuviira ddala obuto,yalondebwa ku kifo ky'obwa ssaabaminisita bw;atyo n'addira Mbabazi mu bigere. okugobwa kwa Mbabazi kwalabibwa ng'ekibonerezo museveni kye yali awdde Mbabazi oluvannyuma lwengambo okuyitingana nti Mbabazi yali yeeyagaliza okwenyigira mu lwokaano lw'okwesimbawo ku bukulembeze bw'eggwanga. Amangu ddala ng'ennaku z'omwezi 15 omwezi ogwomukaaga mu mwaka gwa 2015[16] Mbabazi yalangirira nga bwe yali aluubirira okwesimbawo ku kifo ky'okukulembera ekibiina kya NRM era nga yali mwetegefu okuvuganya museveni ku kifo ekyo kyennyini era nga kino yakyasanguliza mu lukungana lw'ekibiina olwatuula nga 4 omwezi omwezoi ogw'okutaano omwaka gwa 2015. oluvannyuma museveni yalangira Mbabazi okweyisa mu ngeri ey'ekito era atakkiribwa bannakibiina ba NRM.[17] Ng'ennaku z'omwezi 31 omwezi og'womusanvu omwaka ogwo gwenyini,oluvannyuma lw'okulemererwa okutegeeragana wakati w'abakulembeze ab'okuntikko Mbabazi yakawangammula bwe yalangirira nga bwe yali agenda okwesimbawo ku buklembeze bw'eggwanga nga talina kibiina kyonna mw'ajjidde. wabula nga ekibiina kya the Democratic Alliance(TDA), kye kya muli emabega neewankubadde nga kyalabika nga ekitaalina busobozi bumala kuwangula ntebe ya bukulembeze bwa ggwanga.

Mu kalulu kaabonna akaakubwa mu mwaka gwa 2016, Mbabazi yakwata ekifo kyakuatu oluvannyuma lw'okufuna obululu 1.39 ku buli ku kikumi.[18]


Obuteesa. kyusa

Mbabazi yakiikirirako Uganda mu mawanga g'ebweru, nga eno yakolerayo bino, yatuula ku kakiiko k'obutebenkevu aka amawanga amagatte era ng'eno gye yasabira nti eggye lya uganda ekkuuma ddemmbe (UPDF) likkirizibwe okukwata abayeekera ba Konny ab'eggye lya Lord's Resistance Army. abaali mu ggwanga lya congo[19]

  1. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2012-10-02. Retrieved 2021-09-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1011194/amama-mbabazi-eur-road-prime-minister
  3. https://web.archive.org/web/20150715230626/http://www.observer.ug/component/content/article?id=14694%3Ambabazi-mutebile-to-revive-former-school
  4. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1011194/amama-mbabazi-eur-road-prime-minister
  5. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1011194/amama-mbabazi-eur-road-prime-minister
  6. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1011194/amama-mbabazi-eur-road-prime-minister
  7. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1011194/amama-mbabazi-eur-road-prime-minister
  8. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1011194/amama-mbabazi-eur-road-prime-minister
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/Constituent_Assembly
  10. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1011194/amama-mbabazi-eur-road-prime-minister
  11. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1011194/amama-mbabazi-eur-road-prime-minister
  12. https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
  13. https://web.archive.org/web/20150702082932/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/666515
  14. https://web.archive.org/web/20150716174439/http://www.theinsider.ug/court-dismisses-mbabazi-nrm-case/
  15. http://www.newvision.co.ug/news/659918-ruhakana-rugunda-new-prime-minister.html
  16. https://www.economist.com/news/middle-east-and-africa/21654666-ugandan-presidents-29-year-rule-coming-end-bored-big-man
  17. http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/Elections/Mbabazi-to-stand-as-independent/-/859108/2815094/-/kj26ocz/-/index.html
  18. https://web.archive.org/web/20160304012250/http://www.ec.or.ug/sites/default/files/docs/01-Summary_PRESIDENT_1_Final22-FEB-2016.pdf
  19. https://web.archive.org/web/20150716103827/http://www.newvision.co.ug/D/8/14/494419