Amambulugga

amambulugga

Amambulugga ndwadde ereetebwa akawuka akayitibwa Mumps virus. Amambulugga mangu nnyo okusaasaanyizibwa mu bantu ababeera ewamu anti endwadde eno eyitira mu mukka gwe tussa, oba ebintu ng'amalusu oba eminyira gy'omulwadde singa bikutonnyera ku maaso, mu nnyindo oba mu kamwa.

Endwadde eno ekwata muntu yekka, era abalwadde basobola okusiiga bannaabwe amambulugga okuva mu nnaku nga musanvu(7) nga bubakutte naye nga tebunnalaga kabonero konna, okutuusa ku nnaku nga munaana(8) nga bumaze okweyolekera mu bubonero bwabwo. Abasawo okumanya endwadde eno kisinga kuba ku kuteebereza olw'okuzimba kw'obutaffaali obuzaala amalusu obusangibwa mu mba, okumpi n'amatu. Era okukebera obulwadde buno mu musaayi kyangu nnyo, newankubadde bukyayinza okwekweka ne butalabika naddala mu mibiri gy'abo abaagemebwa obulwadde buno.

Obubonero bw'amambulugga

Mulimu okuwulira omusujja omutonotono mu mubiri, okulumwa omutwe wamu n'obukosefu mu mubiri. Okugeza okulumizibwa mu nnyingo. Bino biddirirwa okuzimba kw'obutaffaali obuzaala amalusu obusangibwa mu mba okumpi n'amatu, era okuzimba kuno kumala ebbanga lya wiiki ng'emu.

Obubonero obulala kuliko akamwa okukala(nga temuli malusu), okuzimba mu bwenyi oba okuzimba amatu, n'ekirala kwe kulumizibwa ng'omulwadde ayogera.

Ekireeta endwadde eno

Amambulugga galeetebwa akawuka akayitibwa 'Mumps virus' akayita mu mpewo gye tussa, mu malusu oba mu minyira. Singa omulwadde akolola(oba ayasimula) oba anyiza, ne wabaawo obutondo obukusammukira mu maaso, mu nnyindo oba mu kamwa, olwo okwatibwa endwadde eno. N'ekirala esobola okukukwata ng'okozesezza ebikozesebwa mu kulya n'okunywa bye bimu n'oyo abulina.

Akaseera omulwadde k'amala n'obulwadde buno nga tebunnalaga bubonero bwabwo kali wakati w'ennaku kkumi na mukaaga n'ekkuminoomunaana(16-18) era omuntu kyangu nnyo okubusiiga abalala nga tamanyi nti abulina.

Engeri y'okweziyizaamu endwadde y'amambulugga

Engeri esooka era esinga kwe kwegemesa n'eddagala erigema amambulugga gano. Era wano ekitongole ekikulira n'okulondoola ebyobulamu mu nsi yonna , kikubiriza abantu okugemesa abaana baabwe ku kirwadde kino, nga bawezezza emyezi kkumi n'esatu (13) Endwadde eno singa esajjuka eba esobola okukoseza ddala omuntu, era n'emutuusaako bino wammanga: Okukosebwa mu bwongo, okukosebwa kw'akalulwe, ate oluusi n'okufuuka kiggala(amuggavu w'amatu-atawulira!). Mu birala mulimu okuzimba n'obulumi obungi mu nsigo z'ekisajja ezizaala ekiyinza okuviirako omulwadde oyo okugumbawala (okufuuka omugummba!) ate nga ne ku bakyala wabeerawo okuzimba kw'amagi agazaala newankubadde si kya bulabe nnyo nga bwe kiri ku basajja.