Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Amasoboza ag’Amasannyalaze(Electric energy)

Mu 1897 bannasayansi lwe baazuula okubaawo kw’akasannyalazo oba obusannyalazo (electrons) era eno ye yali entandikwa y’amasanyalaze.

Okumanya amasannyalaze, olina okumanya obutoffaali obusookerwako ,atomu n’obuzimbe bwabwo. Buli kitonde kikolebwa atomu. Atomu bwe butoffaali obusingayo obutono obuzimba buli kintu. Kyokka buli ka atomu kalina obuzimbe bwako obwa atomu omuli nyukiriyasi ne erakitooni. Ate ne nyukiriasi erina obuzimbe bwayo , erimu piratooni ne nyutirooni. Erakitooni butebenta okwetoloola nyukiriyasi ya atomu.

Buli kintu nga bwe tulabye kikolebwa mu atomu. Ssinga omenyamenya ekintu mu butoniinya obusembayo olaba nyukiriyaasi eyebulunguddwa akasannyalazo kamu oba okusingawo nga katambula ketoloola nyukiriyaasi eno era ng’akasannyalazo kano nga kalina kyagi eya negatiivu.

Yadde buli kintu ekiri kikolebwa atomu ezirimu nyukiriyasi (omuli nampa ne konta) era nga wabweru wa nyukiriyaasi waliyo akasannyalazo akatambula, ebintu bingi birina atomu ezirina obusannyalazo obutatambula. Mu bintu ebitali byuma obusannyalazo bwekutte ku nyukiriyasi kabandi ku ndongo era tezbuli mu mugendo kwetoloola nyukiriasi zabwo nga bwe guli mu atomu eziri mu byuma. Ebintu nga bino mulimu emiti emikalu, embaawo, pulasitiika, giraasi, seramiki, empewo, n’ebirala.

Kubanga mu bintu ebyo obusannyalazo tebuli mu mugendo, tebusobola kulandiza masanyalaze (conducting electricity) bulungi oba n’akatono. Ebintu bino biyitibwa bikugiro bya masanyalaze (electric insulators) kuba bikugira amasanyalaze okubiyitamu.

Obutafanana, bino atomu z’ebyuma (metals) zirina obusannyalazo obusobola okwetagguluza ku nyukiriyasi zabyo ne bugyetoloola ku misinde. Buno bwe buyitibwa obusannyalazo obwetaaya (free electrons). Obusannyalazo obwetaaya busobozesa amasanyalaze okuyita mu byuma era ebyuma bino biyitibwa birandizo bya masanyalaze (electrical conductors) obulandiza(conduct) amasanyalaze olw’okuba nga obusannyalazo buli mu mugendo ogulandiza amasanyalaze okuva ku katonnyeze akamu okudda mu kifo ekirala.


Engeri amasannyalaze gye gakolamu

Amasanyalaze ge gatambuza obwengula n’ebikolebwa emibiri gyaffe. Naye gava wa? Ensibuko y’amasanyalaze gyonna giri mu katoniinya k’ekintu akayitibwa “atomu”.

Mu butonde tekisoboka kwawula biramu na masanyalaze. Ne bw’ogenda  mu kifo ekisinga okubeera emabega ennyo mu nkulaakulana nga tewatwalibwangayo masanyalaze era mu butonde amasanyalaze gye gali. Ebimyanso by’ebire eby’enkuba biva ku masanyalaze mu ngeri y’emu ensengekera y’obusimu bw’omubiri (nervous system), obukozesa obwongo okukola kye bwagala, n’ebikola ebitali bya kyeyagalire ng’okussa oba okukuba kw’omutima bwe birina akakwate n’amasannyalaze mu mubiri.

Amasoboza g’amasanyalaze era nga ge gamu ge gakusobozesa okuwulira omukwano ng’omwagalwa wo akukonyeeko, gasibika mu katiniinya kano akayitibwa atomu.

Atomu zikola zitya?

Mu kyasa kya 20, omuntu annyonnyose era n’akozesa amaanyi ga atomu; akoze “bbomu za atomu” n’akola n’amasanyalaze okuva mu “maanyi ga nyukiriya”. Ne atomu agyabuluzzaamu obutundutundu obuyitibwa “obutiniinya bwa atomu” (sub atomic particles).

Atomu zino ziri mu mubiri gwo, mu ngoye z’oyambadde, mu nviiri zo, mu kitanda kw’osula yadde kya muti oba kya kyuma, mu mazzi g’onywa, emmere gy’olya , ne mu mpewo gy’ossa.

Kyokka ddala atomu kye ki? Butaffaali ki obuzimba atamu zino? Zitunula zitya? Obuzimbe bwazo bufaanana butya? Ebibuuzo bino miramwa gya kemisito ne Fiizikisi mu sayansi.

Kyaagi y’Amasannyalaze

Kyagi kintu ekiri mu mbeera y’ebitonde ekireetawo ensikirizo (empalirizo esikiriza (force of attraction) oba ensindikirizo (empaliririza esindikiriza = force of repulsion) mu kubaawo kw’ekintu ekirala. Mu kunyonyola okwangu ensolo ensajja bw’esemberera enkazi efuna okusikirizibwa okwegatta nayo. Kino kigerageranyizibwa n’ensikiriza mu masanyalaze. Ate ensolo ensajja oba enkazi bwesembererwa ensajja oba enkazi endala tewabaawo kisikiriza kw’egatta wabula buli emu okugenda ekole ebirala ebigigasa oba okunoonya enkazi oba ensajja okutwalira awamu. Kino kigeraagelanyizibwa n’ensindiikiriza mu masanyalaze agali mu butonde.

Kyagi y’amasanyalaze kintu ekiri mu buli kitonde ekikireetera okufuna amasindiikiriza oba ensika nga kiri kumpi n’ekintu ekirala ekirina kyagi y’amasanyalaze.

Kyagi y’amasanyalaze ebeera mu bika bibiri, ebiyitibwa pozitiivu ne negatiivu. Ebintu bibiri ebirina kyaagi eya pozitiivu bifuna ensindika (repulsive force) mu kiseera ky’ekimu nga buli kimu kyekandula okuva ku kirala. Era ebintu ebibiri ebirina kyaagi eya negatiivu bwe bikola. Kyagi y’amasanyalaze ebalibwa mu kolumbu (Coulomb).