Amateeka agafuga Empandiika y'Oluganda

AMATEEKA AGAFUGA EMPANDIIKA Y'OLUGANDA ENTONGOLE

kyusa

Empandiika y'Oluganda gye tugoberera yabagibwa mu mwaka gwa 1947. Empandiika eno erimu amateeka agawerako. Mu kiwandiiko kino tugenda kwogera ku mateeka ana.

  1. Etteeka erifuga enkozesa y’ennukuta ennene
  2. Etteeka erifuga ennukuta empeerezi
  3. Etteeka erifuga enkozesa y’ennukuta R ne L
  4. Ennukuta J ne GY

Etteeka erifuga enkozesa y’ennukuta ennene

kyusa

Tukozesa ennukuta ennene mu ngeri zino wammanga: 1. Tukozesa ennukuta ennene ku ntandikwa ya sentensi okugeza;

  • Omwana akaaba
  • Enkuba yatonnye n’endala

2. Tukozesa ennukuta ennene ku ntandikwa y’erinnya ery’enkalakkalira okugeza:

  • Namuli
  • Mutebi
  • Kato n’amalala

3. Tukozesa ennukuta ennene singa tuba tuwandiika emitwe emikulu okugeza;

  • OKUBUMBA MU BUGANDA
  • AGAFA E MAKERERE n’emirala.

4. Tukozesa ennukuta ennene singa mu sentensi mubaamu ekigambo eky’olulimi olulala nga tekyagandawazibwa okugeza;

  • Leeta MACHINE eyo
  • Ani abbye CALCULATOR yange?

5. Tukozesa era ennukuta ennene singa mu sentensi mubaamu ekigambo ekyetaaga okussaako essira okugeza:

  • Mu kusoma, EMPISA kintu kikulu nnyo
  • Ongulirayo essaati ENJERU bbiri.

Etteeka erifuga ennukuta empeerezi

kyusa
 

Ennukuta empeerezi ezitafaanagana teziddiring'ana mu kigambo.

  • Empeerezi eza nnabansasaana tezitandika era tezikomekkereza kigambo kya Luganda.
  • Empeerezi zino “i” ne “u” tezitandika bigambo bya Luganda.
  • Empeerezi A, E ne O ze zitandika ebigambo by’Oluganda ebitandisa empeerezi.
  • Etteeka erifuga enkozesa y’ennukuta R ne L
  • Tukozesa tutya ennukuta R?
  • Ennukuta R tetandika kigambo kyonna kya Luganda.
  • Empeerezi ebiri nga tezifanagana teziwandikibwa wamu mukigambo ekyo luganda.

Tukozesa ennukuta R singa ku kkono waayo wabeerayo empeerezi “i” okugeza;

  • Okusirika
  • Okulira
  • Ebirime
  • Emirembe

Tukozesa ennukuta r singa era ku kkono waayo wabeerayo empeerezi “e” okugeza;

  • Omupeera
  • Emmere
  • Emmeeri
  • Eriiso n’ebirala.

Tukozesa tutya ennukuta L?

kyusa

Ennukuta L esobola okutandika ebigambo mu Luganda, okugeza:

  • Luti
  • Lutono
  • Lwasama n’ebirala.

Tukozesa ennukuta eno singa ku kkono waayo wabeerayo empeerezi “a” okugeza:

  • Okubala
  • Ekibala

Tuwandiika ennukuta eno singa ku kkono waayo wabeerayo empeerezi “o’ okugeza:

  • Omugole
  • Okusola
  • Okukola

Ennukuta L ewandiikibwa singa ku kkono waayo wabeerayo empeerezi “u”, okugeza:

  • Okusuula
  • Okukula
  • Okufuula

Ennukukta zombi R ne L teziwandiikibwa za nnabansasaana mu kigambo, okugeza:

Lleeta oba Wulirra.

Ennukuta J ne GY

kyusa

Ennukuta zino zitabula bangi mu kuwandiika Oluganda. Mu njogera ziwulikika nga ze zimu naye mu mpandiika y’Oluganda zaawukanira ddala era tulina engeri bbiri mwe tuyinza okuzaawulira singa tuba nga tuzikozesezza.

1. Engeri esooka yeeno nti: ekigambo ekirimu amakulu g’ekikolwa okujja (to come), tukiwandiika na nnukuta eya J okugeza; i) Tujja mwattu ii) Munajja enkya iii) Temujjanga ewaffe

2. Ate ekigambo kyonna ekirimu amakulu g’okutwala oba okuggyamu ekintu oba abantu (to remove), tuwandiika nga tukozesa ennukuta GY (esobola okubeera ng'ekigambo mw'erabikira eggumira oba nedda), okugeza: i) Ggyamu engoye ii) Amatooke ago ng’ogaggyamu mu mmotoka weetegereze.

Wabula waliwo ebigambo nga bwe biba byogerwa omuntu awulira nga birimu “gy” ate ne biwandiikibwa n’ennukuta eya “g”, okugeza:

  • Eggi (egg)
  • Oluggi (door)
  • Obuuggi (poriege)