Amayengo (Waves)

amayengo

Amasoboza (Energy) ga bika binji ddala agatambulila mu mayengo. Ekyokulabilako:

(a) eddoboozi liba jjengo erijugumilira mu mpewo.

(b) Ekitangaala nalyo jjengo lya byebulungulo by’amasanyalaze ne magineeti.

(C)Waliwo n'amayengo ag'amazzi

Ekitangaala kika ky’amasoboza ekigendera oba ekitambulira mu mayengo; mu butuufu Ekitangaala kitundu kimu eky’ebyebulungulo bya erakitomagineeti ebijugumira. Ebyebulungulo bino biyitibwa ndaga ya elakitomagineeti oba mugendo gwa ndaga y’amasannyalaze ne magineeti (the electromagnetic spectrum).

Amayemgo ga erakitomagineeti gayita mu bwengula ku misinde egya 299,792 km/s (186,282 mairo/kasikonda). Kino kye kiyitibwa emisinde gy’ekitangaala (speed of Light).

Omugendo gw’amasoboza (flow of energy) gusinziira ku “buwanvu bwa jjengo” n’enziring’ana (frequency) yalyo. Obuwanvu bw’ejjengo bwe buwanvu obuli wakati w’entikko z’ejjengo ate enziringana gwe muwendo gw’amayengo oguyita buli sikonda. Ejjengo ly’ekitangaala gye likoma obuwanvu, n’enziringana gy’ekoma okubeera wansi era n’amaanyikasoboza agali mu jjengo lino gye gakoma okubeera amatono.

amayengo

Nawe baako by'oyongereza oba okusunula ku nzivuunulo ya Charles Muwanga eno !!