Angela Atim Lakor (yazaalibwa mu 1982), era Angela Lakor Atim, Munnayuganda omukyaala alwaanirira eddembe ly'essomabuvobwaawamu, nga y'omu ku batandisi b'ekitogole kya Watye Ki Gen (Tulina Essuubi), ekiwanirira abakyaala abaali baawambibwa amaggye ga Lord's Resistance Army (LRA). Ekitngole ekiyambako abakyaala abatoloka ne mu misomo gy'abaana baabwe era kiyamba famire okulwanisa entiisa gyebalina ku majje ga LRA.[1]

A PHOTO OF ANGELA ATIM LAKOR
#WCUG2024 A PHOTO OF ANGELA ATIM LAKOR

Ebimukwaatako n'emisomo

kyusa

Yazaalibwa mu Bitundi byomu Mambuka ga Uganda mu 1982. Mu Gwekkumi 1996, ku myaaka kkumi neena, nga muyizi ku somero lya Saint Mary's College Aboke, essomero ly'abakatuliki ery'ekisulo ky'abawala wakati w'emyaaka kkumi neena okutuusa ku kkumi na mwenda, abayeekera ba LRA balumba essomero ne bawamba abawala 139 girls. Sister Rachele Fassera, omumyuuka w'akulira essomero eryo, yagoberera abayeekera mu nsiko, n'ateesa nabo okusumululako abawala 109 ku bonna bebaali bawambye. Abayeekera basigazza abawala 30. Angela Atim yali omu ku bawala 30.[2]

Obuwambe

kyusa

Mu buwambe, Angela ne banne batwaalibwa mu Sudan. "Baamufumbiza" eri omu ku baduumira LRA era n'abonaabona mu mbeera z'omubiri, ebilowoozo era n'akabasanyizibwa okumala emyaaka. Yalabirira abaana baabo abamukabaasanyanga bwe yali eyo.[3]

Emirimu nga avudde mu buwambe

kyusa

Angela yasobola okuva mu buwambe bwa LRA mu 2012, oluvanyuma lw'emyaaka 16 bukyanga awambibwa. Yafuna obuyambi okuva mu kibiina ekigaba obudamu ekya Children of War Reintegration Centre mu kibuga kye Gulu, that is operated by World Vision. Oluvanyuma, yali omu ku batandikawo ekitongole kya Watye Ki Gen non-profit, ekiyamba bakyaala banne abava mu buwambe n'ensonga z'okweza obugya mu ntabaganya.[1]

Mu kusiima amaanyi ge n'obukulembeza, yaweebwa engule ya Marsh Award for Peace Making and Peace Building, okuva mu Wilton Park, ekitongole kya United Kingdom Foreign and Commonwealth Office. Kyamuweebwa mu London mu Gwekkuminoogumu 2017. Engule y'omwaaka eya Marsh Award eweebwa abo abasunsuddwaamu mu bikolwa byaabwe eby'emirembe n'okukuuma eddembe.[1][4]

Mu Gwomukaaga 2014, Angela yayogera ne ba chief ba United Nations era n'abakulemebeze mu Gaavumenti okuva mu nsi 140 ku mukolo ogwokulwanisa obikolwa by'okukabasanya abantu ogwa "Global Summit to End Sexual Violence in Conflict", ogw'ategekebwa mu London era ogwakulembewa sentebe William Hague ne Angelina Jolie.[1][5]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1465037/aboke-girl-honoured-fighting-stigma-abductees
  2. https://www.hrw.org/news/2016/10/07/remembering-wisdom-ugandas-aboke-girls-20-years-later
  3. http://www.itv.com/news/2014-06-10/sexual-violence-survivor-speaks-of-hope-for-other-victims-at-start-of-summit/
  4. https://www.christiantoday.com/article/former.child.soldier.in.lords.resistance.army.receives.peace.award/117584.htm
  5. https://web.archive.org/web/20171107221912/https://www.basw.co.uk/resource/?id=5200