Angela Kalule
Angela Kalule Munnayuganda omuyimbi era aweereza ne ku laadiyo. Yawangula 'Oluyimba lw'omwaka' era n'awangula okubeera omuyimbi akuba bbandi y'obuliwo nga ali yekka mu awaadi za 2011 eza Pearl of Africa Music.
Ebyafaayo
kyusaAngela Kalule yazaalibwa nga 18 Ogwokubiri 1977 e Kampala, Uganda. Yasomera ku ssomero lya Aga Khan nursery erisangibwa e Nairobi Kenya, Nakasero SS okuva mu 1992 okutuuka mu 1993 olwo n'agenda e Mengo Senior School. Alina diguli mu byamawulire.
Eby'okuyimba
kyusaYatandika okuyimba nga akyasoma olwo n'atandikira ddala okuyimba mu 1997 nga ayambako abayimbi abalala mu kibiina kya Diamond Ensemble. Eyo gye yafulumiza oluyimba lwe olwasooka ‘Akamuli’. Mu 2006, yafulumya akatambi k'ennyimba nga kaliko ennyimba mukaaga nga ebbiri ziri mu Lungereza ate ennya mu Luganda. Kati ayimbira mu bbandi ye emanyikiddwa nga K’angie bbandi.
Ennyimba eziri ku butambi
kyusaEnnyimba
kyusa- Kankwekumire
- Katikitiki
- Kantuntunu
- Highway
- Olimu Ssukkaali
Entambi z'ennyimba
kyusa- Dark Chocolate
- Kakondo
Awaadi n'obumanyifu
kyusa- Oluyimba lw'omwaka mu Pearl of Africa Music Awaadi mu 2011 olwa "Katikitiki"
- Asinga okukuba bbandi y'obuliwo nga ali yekka mu Pearl of Africa Music Awaadi mu 2011 ku luyimba lwa "Katikitiki"[1]
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>
tag; no text was provided for refs namedobserveru