Angelina Wapakhabulo
Angelina Wapakhabulo
Angelina Chogo
Yazaalibwa nga 24 Mugulansigo 1949 (aweza egy'obukulu 73) abeera Tanzania
Munnayuganda
Mu Uganda atera kuyitibwa Maama Angelina
Yasomera mu University ya Dar es salaam
Omulimu gwe.Mulwanirizi wa nkyukakyuka,mulwanierizi wa ddembe ly'aabalwadde bwa mukenenya ate mugunjufu
Aweerezza okuva mu mwaka gwa 1980 okutuusa kati.
Omwami we ye James Wapakhabulo Angelina Chogo Wapakhabulo (a manyiddwa ennyo nga maama Maama Angelina mu Uganda) (yazaalibwa ng'ennaku z'omwezi 24 Mugulansigo mu mwaka gwa 1949) yaliko kaminsona omukulu owa Uganda mu ggwanga lya Kenya.[1] [2]Ye mutandisi era ayambako ssentebe wa United Way Board. Wapakhabulo mulwanirizi wa nkyukakyuka mu kitundu era ng'akolerera kukyusa mbeera z'abantu.
Emirimu gye
kyusaNg'omukwanaganya wa w'ekibiina kya Market Vendors AIDS Project (MAVAP), yakyusa obutale bw'ekibuga Kampala ne bufuuka ekifo ekigulwamu eby'amaguzi abaguzi n'abasuubuzi gye bagulanira ate era gye bakubirizibwa okwekekebeza akawuka ka mukenenya wamu n'okufuna obujjanjabi. Wapakhabulo wamu ne pulezidenti w'ekitongole kya United Way ko ne CEO Brian Gallagher baakiikirira United Way mu lukungaana olumanyiddwa nga White House Summit olwali lukwata ku musujja gw'ensiri mu Washington D.C. ng'ennaku z'omwezi 14 omwezi gwa Ntenvu omwaka gwa 2006[3].
Ebimufaako ngomuntu
kyusaWapakhabulo yazaalibwa era n'akulira mu Disitulikiti y'e Iringa mu Tanzania. Ng'akyali muyizi ku yunivasite y'e Dar es Salaam, yasisinkana James Wapakhabulo (ng'ennaku z'omwezi 23 Mugulansigo okuva mu 1945 okutuuka ng'ennaku z'omwezi 27 Ogwokusatu omwaka gwa 2004), eyali minisita w'ensonga z'ebweru, okuva mu mwaka gwa 2001 okutuuka mu 2004. Baali bafumbo era baazaala abaana bana. Muwala waabwe, Josephine Wapakabulo y'akulira kkampuni ya Uganda National Oil Company.[4]
Wapakhabulo n'omwami we baali mu kiseera kye kimu ku Dar es Salaam University, ne Pulezidenti Yoweri Museveni mu myaka gya 1960.
Laba ne
kyusa- Disitulikiti y'e Sironko
- Olukiiko lwa Uganda
- Law Development Centre
- Disitulikiti y'e Iringa
Okujuliza
kyusa- ↑ https://web.archive.org/web/20150402103926/http://www.ugahicom.co.ke/index.php?option=com_content&view=article&id=86&Itemid=58
- ↑ https://web.archive.org/web/20150402141529/http://www.newvision.co.ug/news/661773-uganda-s-hybrid-car-launched-in-kenya.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20150402141529/http://www.newvision.co.ug/news/661773-uganda-s-hybrid-car-launched-in-kenya.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20170126092249/http://www.weinformers.com/2016/06/02/unoc-appoints-wapakabulo-for-ceo/
Enkolagana ey'ebweru
kyusa- Omukutu gwa United Way Uganda
- Angelina Wapakhabulo ku Facebook