Angella Katatumba
Angella Franklin Keihongani Katatumba [yazaalibwa nga 21 Ogwokubiri 1989] munnayuganda omuyimbi, omuwandiisi w'ennyimba, mugabi wa buyambi, akiikirira ensi ye mu nsi endala era musuubuzi.
Obulamu bw'ekito, obuyigirize n'ebyafaayo.
kyusaAngella yali mu Nairobi, Kenya. Muwala w'omubaka wa Pakistan mu Uganda, Omukenkufu Boney Mwebesa Katatumba ne Gertrude Katatumba omutandisi wa AFK Beauty Clinic esangibwa e Kabalagala. Angella alina muganda we omuwala omu ne bannyina musanvu; Rosemary, Allan, Dennis, Rugiirwa (omulongo wa Angella), Colin (omugenzi), Ken, Ian ne Jay.
Yasomera pulayimale mu Uganda ku Katatumba Academy oluvannyuma n'agenda ku Belmont Senior Secondary School e Vancouver, B.C Canada, gye yafunira dipuloma mu ngeri y'okukolaganamu n'abantu. Oluvannyuma yagenda ku Oxford Brookes University, England gye yafunira diguli mu Byobubazi n'amateeka. Era ku Oxford Brookes University, England, gye yafunira diguli eyookubiri mu ngeri y'okukolaganamu n'abantu. Oluvannyuma yagenda mu Chicago, Illinois, gye yakolera.
Nga Angella azzeyo e Uganda, yatandika okukola nga yakulira abakozi ku wooteri ya taata we eyitibwa Diplomaté. Taata we bwe yafa mu 2017, nga omumyuka we, yafuuka omubaka wa Pakistan mu Uganda okumala emyaka ebiri okutuusa Pulezidenti wa Pakistan Oweekitiibwa Mamnoon Hussain lwe yalonda omuntu omulala.
Okwongereza ku kuyimba, Angella yatandikawo ekitongole kyobwannakyewa ekiyitibwa Angella Katatumba Development Foundation (AKDF) ekiwagira pulojekiti za Angella ez'okuyimba.
Ebikulu ebituukiddwako
kyusa• Mu 2010 olukiiko lw'Ebungereza lwalonda Angella nga akola ku nkyukakyuka mu mbeera y'obudde mu Uganda.
• Nga 23 Ogwokutaana 2016, Angella yayitibwa omuwandiisi w'ekitongole ky'ensi yonna Ban-Ki Moon, okwetaba wamu n'okwolesa ku mukolo gw'ensi yonna agwali gusookedde ddala okubaawo ogwali gutunuulira embeera za bantu e Istanbul, Turkey.
• Nga 28 Ogwekkumi n'ogumu 2016 Angella yayitibwa omukago gw'amawanga ga African okukiikirira Uganda mu lukungaana olwokuna olubeerayo buli mwaka olukwata ku nkola z'abantu e Nairobi, Kenya.
• Nga 9 Ogwomwenda 2017, Angella yayolesa e Bungereza mu Austria, omwoleso ogwali gutuumiddwa nga ‘African Gala’ ku nguudo za Längenfeldgasse 13-15 1120, Vienna.
Ennyimba eziri ku butambi
kyusaAngella yatandika mu butongole okuteeka ennyimba ze ku butambi nga ali mu Uganda. Kati alina obutambi bw'ennyimba buna.
• Olutambi lwa Album – luliko ennyimba 10; For You Gulu, Peace nga ali ne Buchaman, Sikyetaga nga ali ali ne Bebe Cool, I Live For You, Let Me, I Surrender, One Minute Man nga ali ne Bebe Cool, Success and Standing in the Rain.
• Olutambi lwa Glad I'm Alive Album - luliko ennyimba 10; Feel Alright nga ali ne Navio, Glad I'm Alive, Thank You, The Pledge, Without You, Wind Beneath Your Wings, A Better Place nga ali ne First Love, Forgiveness, Ngenze Noono ne Gwenjagala.
• Olutambi lwa Supernatural Girl - luliko ennyimba 15; Mulago Yaffe, Together Forever, Let's Go Green nga ali ne Keko, In the Air nga ali ne Keko, Only You, The Struggle nga ali ne NTO, So Painful nga ali ne NTO, Multiply By 2 nga ali ne Radio ne Weasel, Out of My Head nga ali ne Kuzi Kz, They Don't Care About Us nga ali ne Kuzi Kz, Supernatural Girl, So Close, Tonelabila nga ali ne Daddy Andre, Darling nga ali ne Mr. Green, Strange Feelings nga ali ne Herbert Skillz.
• Olutambi lwa Wendi - luliko ennyimba 15; Inside, All About You, Cool Down, Mukyikiri, Wendi nga ali ne Daddy Andre, Goshodo nga ali ne Mbuzi Gang, Only Jesus, Dance For You, Hey, Sample Dat, Jump In nga ali ne Jegede, Love Me nga ali ne Kent & Flosso, This Boy nga ali ne Pastor Yiga, Emotional ne Tubigezeeko.