Angelline Osegge

Munabyabufuzi omunayuganda

Angelline Asio Osegge, Bangi gwebamanyi nga Angelina Osege (Yazaalibwa nga 8 ntenvu mu mwaka gwa 1969) muna'byabufuzi muna Yuganda, kaakano akoola ng'omubaaka omukyala akikiilira Disitulikiti ya Soroti ku kakonge ka Forum for Democratic Change (FDC) mu palamenti ya Yuganda ey'ekumi (2016 to 2021).[1] Ye sentebe w'akakiiko akalondola enkozesa ya sente z'egwanga mu palamenti yegwanga.[2]

Gyenvudde wamu n'okusooma kwe

kyusa

Bamuzaala nga ye Angelline Asio, nga 12 muwakanya 1969, mu Soroti District, mubu'vaanjuba bwa Yuganda .[3] Yasoomera mu masoomero g'omukyalo nga tanayingira Yunivasite. mu 1991 yaweebwa ekiffo ekweyunga ku Makerere University Ssetendekero asinga obukaade nobuganzi mu gwanga, ya yambala digulli ya Bachelor of Arts mu Social Science mu mwaka gwa 1994. mu mwaaka gwa 2007, ya'yingira Ssetendekero Uganda Martyrs University, weya'yambalira Dipuloma ya Diploma in Microfinance. Osege mufumbo.[1]

Obukugu bwe

kyusa

Nga tanayingira byabufuzi, yakoola ng'omukoozi wenkulakulana mubitundu abantu mwebabeera kulwa World Vision International atte yakoola nga Credit Officer ku Pride Microfinance Limited lino ttelekero lya sente e'ntono elya gavumenti ngaliwereza abantu ba'wansi abatasobola kwewoola sente mu ma'terekero ga sente ama'nene. Ng'akola wano, yakuzibwa okutuuka ku daala ly'akulila etaabi ly'eterekero lino. okuva 2006 okutusa 2008, yeyali omukulu owokuntiiko owa "Local Enterprise Assistance Programme", ekiibina mu Yuganda ekitakolera magooba (non-profit organization)

Gyenvude'we mu by'obufuzi

kyusa

Osegge yasooka kulondebwa okuyingira olukiiko lwa Yuganda (Ugandan parliament) mu 2011, ku kakonge k'ekibiina ky'ebyobufuzi ekiwakanya Gavumenti ekya Forum for Democratic Change (FDC).[4][5] mu 2016 yesigaliza ekifo kye mu palamenti.[6] ngali mu palamenti, yawereza nga sentebe w'akakiiko akalondola enkozesa ya sente z'egwanga.[7] okuva mutunda wa 2016, akola ng'adilira senteebe wekitongole ky'Africa ekigatta obukiiko obulondola enkozesa ya sente z'egwanga (African Organisation of Public Accounts Committees. AFROPAC).[8]

Ebyenyamiiza ku'ye

kyusa

Osege mwogezi owenkizo atte owamanyi ow'kibinja ekiwakanya Gavumenti mu palamenti. mu muwakanya wa 2013,Jacob Oulanyah adirila omukubaganya wolukiiko lwa uganda yagoba Osege mu palamenti okumaala enaku satu kulw'okusingayo okuyombera mu palamenti.[9] Mu mutunda wa 2017, nga banjula enongosereza mu semateeka ku ky'okuja ekoomo ku myaka gyomukulembeze wegwanga, Angeline Osege yakosebwa mu kulwana okwaliwo mu kisenge kya palamenti natwalibwa mudwaliro.[10][11]

Ebijulizo

kyusa
  1. 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-30. Retrieved 2021-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.parliament.go.ug/committee/2727/public-accounts-committee-central-government
  3. https://www.wikidata.org/wiki/Q42759362
  4. https://www.theguardian.com/katine/2010/oct/20/katine-poltics-primaries
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-07. Retrieved 2021-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://web.archive.org/web/20171107005421/http://www.elections.co.ug/new-vision/election/1407725/fdc-osege-retains-flag-soroti
  7. https://www.monitor.co.ug/News/National/PAC-expels-MP-extortion/688334-3460208-jd5k4a/index.html
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2020-09-25. Retrieved 2021-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-07. Retrieved 2021-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://www.sunrise.ug/news/201709/parliament-goes-chaotic.html
  11. https://www.howwebiz.ug/news/national/17997/mp-collapses-in-parliament-rushed-to-the-hospital