Anita Among

Munabyabufuzi Omunayuganda, Munnamateeka era omubazi w'ebitabo

 

Anita Among

Anita Annet Among yazaalibwa nga 23 Ogwekuminoogumu mu 1973,nga mubalirizi w'ebitabo Omunayuganda, munamateeka ng'ate munabyabufuzi akola nga omwogezi wa Paalamenti ya Uganda eyekumineemu okuva mu 2022.[1] [2]Kuno kwagatta n'okubeera ng'awereza nga omubaka Omukyala owa Paalamenti akiikirira konsitituweensi ya Disitulikiti ya Bukedea, ekifo kyekimu kyeyaliko mu Paalamenti eyekumi okuva mu 2016 okutuusa mu 2021.[3] Yali mu kibiina kya FDC ekyebyobufuzi nga tanaba kwegatta ku kya NRM ekiri mubuyinza, ng'eno gyebaamulondera okubeera omumyukwa w'omwogezi wa Paalamenti eyekumi. Yateekebwa ku lukalala lw'e kkokto y'ensi yonna ey'obumennyi bw'amateeka okubeera nga beemulugunyizibwako okutulugunya nga bali mu gavumenti ya Uganda.[4]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Among yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Bukedea nga 23 Ogwekuminoogumi mu 1973. Yasomera ku masomero g'omubitundu okuli aga pulayimale ne siniya. Yatikirwa ne Diguli mu Byokudukanya Bizineensi okuva ku Yunivasite y'e Makerere mu 2005. Mu 2008, Yaweebwa Diguli ey'okubiri mu Kudukanya Buzineensi nga nayo yagigya ku Yunivasite y'e Makerere.[5]

Mu 2018, Among yatikirwa okuva ku Kampala International University, ne Diguli mu By'amateeka[6]Mukaseera keyali agenda okufuna ebiwandiiko by'okubeera Obubalirizi W'ebitabo.[5]

Emirimu gye

kyusa

Okuva mu 1998 okutuuka mu 2006, Among yali akola mu Baanka ya Centenary , ezimu ku baanka z'ebyobusuubuzi ezisinga obunene mu ggwanga. Mu kaseera keyalekulira mu 2006, yali akuziddwa okubeera nga y'akulira ettabi erimu. Emyaka 10 nga tanaba kulondebwa kubeera mubaka wa Paalamenti, yawereza nga omusomera w'okubala ebitabo kutendekero lya Makerere University Business School ne Kampala International University.[5]

Ebyobufuzi

kyusa

Okumala okulonda kwa Paalamenti okwemirundi ebbiri mu 2007, Disitulikiti ya Bukedea bweyali yakatondebwawo, nga mu 2011, Among yawangulwa ku kifo ky'Omubaka Omukyala lng'awanguddwa Rose Akol eyali ow'ekibiina kya of the National Resistance Movement (NRM) eky'ebyobufuzi.[3]

Among, eyali aludde ng'ali mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC), yeesimbawo mu 2016 nga talina kibiina kyeyali agiddemu, n'awangula omubaka eyali mu kifo kino.[3]

Mu 2020, yeegata ku kibiina kya National Resistance Movement (NRM) oluvannyuma lwokufuna obutakaanya n'ekibiina kye ekya FDC[7][8], n'awangula akakungunta k'ekibiina kino. Mu kalulu kabonna aka 2021, Among yali omu ku banamateeka abatono abali ku kakiiko akakola amateeka abaalondebwa nga tebavuganyiziddwa okwegatta ku Paalamenti eyekumineemu nga wadde obuwanguzi buno bwali buwakanyizibwa kuba ab'akakiiko akadukanya eby'okulonda kaaziyiza abalonza baabo beyali yeesimbyeko okugenda okulonda .[9][10][11][12][13][14][15]

Among yawaayo okusaba kwe ku kyokubeera omumyuka w'omwogezi wa Paalamenti ya Uganda eyekumineemu.[16][17][18][19]

Among yalondebwa ng'omwogezi wa Paalamenti ya Uganda mu Gwokusatu nga 25, 2022[1] ng'adira Jacob Oulanyah, eyali Omwogezi wa Paalamenti ya Uganda, eyali afiridde mu kibuga Seattle mu Washington.[20][21][22]

Mu 2023, yasaba aba Ugandan National Assembly okuwagira eteeka epya eryali livirako omuntu yenna okusibibwa singa yavangayo neyeerangirira okubeera omuli w'ebisiyaga. [23]

Mu Paalamenti eyekumi, Among yawereza nga Omumyuka wa Ssentebe ow'akakiiko ka Commissions, Statutory Authorities and State Enterprises (COSASE).[3][5][24]

Obulamu bwe

kyusa

Among ne baawe Moses Magogo Hassim balina omugogo gw'abalongo. Ekimuweesa ekitiibwa ky'okubeera Nnalongo mu Uganda. Yamwanjula mu bazadde bbe mu mukolo gw'embaga ogwali ogwobuwangwa.Waliwo n'engambo ezigamba nti alina omwana omulenzi n'omu ku bakungu b'ekibiina kya Forum for Democratic Change mu bitundu by'omubugwanjubwa bwa, Patrick Baguma Atenyi.[25]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. 1.0 1.1 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nrm-s-anita-among-beats-opposition-s-basalirwa-to-become-speaker--3760166
  2. https://www.parliament.go.ug/speaker-of-parliament
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 "Archive copy". Archived from the original on 2021-12-02. Retrieved 2021-03-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/speaker-among-named-in-fresh-icc-torture-petition--4312870
  5. 5.0 5.1 5.2 5.3 https://web.archive.org/web/20190107124413/https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=178
  6. https://campusbee.ug/news/photos-mp-anita-among-graduates-from-kiu/
  7. https://www.youtube.com/watch?v=M5d4dFEpc44
  8. https://www.youtube.com/watch?v=G6HZ5BZr3kU
  9. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/voters-petition-ec-over-bukedea-mp-s-academic-papers-2723060
  10. https://www.pmldaily.com/news/politics/2020/11/bukedea-woman-mp-anita-among-unopposed-as-ec-cancels-nomination-of-her-six-rivals.html
  11. https://ugandaradionetwork.net/story/two-women-aspirants-blocked-from-nomination-in-bukedea
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-13. Retrieved 2024-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. https://www.independent.co.ug/court-declines-to-order-ec-to-degazette-mp-anita-among/
  14. https://nilepost.co.ug/2020/10/31/mp-anita-amongs-opponent-cries-foul-after-she-is-declared-unopposed-in-bukedea/
  15. https://www.pmldaily.com/news/2021/03/122453.html
  16. https://kampalapost.com/content/mp-anita-among-declares-bid-deputy-speaker-slot
  17. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/battle-for-deputy-speaker-job-heats-up-as-minister-joins-race--3277906
  18. https://www.independent.co.ug/deputy-speakers-race-bukedi-mps-ask-oboth-oboth-to-do-more-consultions/
  19. https://ugandaradionetwork.net/story/seven-eyeing-deputy-speakers-job-in-parliament-
  20. https://www.newvision.co.ug/articledetails/129819/oulanyah-died-before-accessing-treatment---ac
  21. https://www.newvision.co.ug/articledetails/129783
  22. https://www.newvision.co.ug/articledetails/129779
  23. https://lematinal.media/louganda-debat-dun-projet-de-loi-rendant-illegale-lidentification-lgbtq/
  24. https://www.theeastafrican.co.ke/news/ea/Uganda-FDC-Speaker-parliament-committees-leadership/4552908-4922828-13gd8wk/index.html
  25. https://www.watchdoguganda.com/news/20190920/77970/profile-all-eyes-on-anita-among-as-bukedea-mp-becomes-most-powerful-woman-politician.html

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa