Sister Anne Nasimiyu Wasike, LSOSF (yafa nga 22 Ogwokubiri mu 2018) Munnayugandan Omukatulikki theologian, omukyaala omukiriza, era omuwandiisi w'ebitabo n'ebiwandiiko ku by'enjigiriza, empyempisa n'okuzaamu amaanyi mu baavu. [1][2] Yali omusunsuzi mu biwandiiko ebisinga. Yali mmemba wa Franciscan African Order of nuns called "The Little Sisters of St Francis."[3]

Wasike yayogera mu lukungaana lwa United Nations General Assembly Special Session mu 2001 ku buzibu abakyaala n'abawala mu Afirika bwe basanga mu myaaka gya HIV/AIDS. Yali mmemba eyatandika ekitongole kya Ecumenical Association of Third World Theologians.[4]

Wasike yali mmemba eyatandikawo ekitongole kya Circle of Concerned African Women Theologians, ekitongole kya pan African organization eky'abakyaala Abafirika ekyatandikibwawo wansi w'obukulembeze bwa Mercy Amber Oduyoye mu 1989. Circle eno emanyikiddwa n'okuba n'eddobboozi ely'okusunsula n'okuswaaza eby'obukaba mu kkanisa n'entabaganya era balwaana okukomya okutulugunyizibwa n'okukozesa abakyaala.[4] Agambibwa okuba nti yakoowoola ensi okumanya n'okukozesa apply Afro-Christian theo ethics nga engeri y'okunoonya ensi esobola okubeeramu abantu.[3]

Obuto n'emisomo kyusa

Anne Wasike yali muwala wa Matayo Wasike ne Annastasia Nanyama. Yali muganda wa Priscah, Isaac, Sabina, Priscilla, John, Immanuel, Chachi ne Patrick.[2] Wasike yatendekebwa nga omusomesa eyafuna diguli ya Master of Arts degree mu by'Enjigiriza by'Ediini ku Gannon University, Pennsylvania, USA ne PhD ye mu Systematic Theology okuva mu Duquesne University, USA. Yali omukyaala Omufirika munnatheology okufuna PhD mu theology.[5]

Emirimu kyusa

Wasike yawandiika akatabo akayitibwa Seeds of Mutuality in Mission: Response to Anne Nasimiyu-Wasike akaasoka okufulumizibwa nga 1 Ogusooka1, 2001 nga ekiwandiiko eky'okunoonyereza. Ekiwandiiko kilaga ebizibu ebisangibwa abantu ab'omu bugwanjuba. Munno mwemuli obwetaagao bw'okumanaya n'amagezi mu byobugaga n'obugazi bwenono za Afirika.[6][7]

Wasike yaweereza nga Superior General wa Little Sisters of Saint Francis abalina ekitebe kyabwe ekikulu mu Nkokonjeru, Uganda mu bisajja bbibiri buli emu nga yamyaaka mukaaga.[4] Yaweereza ku Yunivasitte ya Kenyatta, Nairobi okumala emyaaka 24 mu myaka gya 1980s ne gya 1990 mu Dipaatimenti y'essomabibuuzo n'essomadiini eya Philosophy and Religious Studies. Yalondebwa nga Dayirekita w'ensonga z'abayizi era n'asobola okusomesa n'okuyigiriza abayizzi bangi nnyo.[4][3] Yali omutegesi era n'omukulembeze eyakakasa nti abalala badizibwamu amaanyi nga abawa eby'okukozesa.[4]

Wasike yali omusomi era n'omusomesa wa African Theology ne African Religions ne Cultures. Yali mmemba ow'amaanyi omututumuvu mu kibiina kya Sagana group abaasisinkana buli mwaaka okuteesa ku nsonga eziri mu African Christian Theology and practice era ebyava mu kwebuuzibwa kuno by'asunsulwa ne bifulumizibwa Jesse N Mugambi wansi wa African (theology) Challenge series nga ba mmemba b'ekibiina kya Sagana group.[3] Yasomesa courses, nafulumya era nayamba mu kunoonyereza ebyaali eby'okwongeza okumanyikwa n'okuwa emizimu gya Afirika ekitiibwa. Ye yali muwanguzi wa ekyaali kimanyikidwa mu Catholic circles nga "inculturation theology". Mu 1992, yali omu kubaasunsula ekiwandiiko kya Moral and Ethical Issues in African Christianity Exploratory Essays in Moral Theology, with J. N Mugambi ekyafuuka ekimu ku biwandiiko eby'enjawulo mu African Challenge series.[3][1]

Okufa n'ebyeyakola kyusa

Wasike yafa ekilwadde ekitono, ekyaalowoolezebwa okuba malaria. Yaziikibwa kumpi n'enyumba ya maama we omugenzi mu Nkokonjeru, ekisangibwa mu makati ga Uganda nga 3 Ogwokussattu 2018.[2] Ekilango ky'alabikira mu lupapula lwa Daily Nation nga 26 Ogwokubiri mu 2018.[3] Yasiimibwa Irimina Nungari, eyamuddira mu bigere nga superior general ne Cecilia Njeri, akulila Little Sisters of Saint Francis, ku lw'okukulembera mu ntegeka y'ebikwaata ku bantu baabwe abakungaanye era n'okuteekawo enkulaakulana ezaamanyi.[4]

Bibliography kyusa

  •  Mugambi, J N Kanyua; Nasimiyu, Anne J; Magesa, Laurenti; Nthamburi, Zablon John (1999). Democracy and reconciliation: a challenge for African Christianity. African Christianity (in Lungereza) (2nd ed.). Nairobi, Kenya: Acton. ISBN 9789966888259. OCLC 785148003.
  •  Mugambi, J N Kanyua; Wasike, A Nasimiyu (1992). Moral and ethical issues in African Christianity: exploratory essays in moral theology. African Christianity series, no. 3. Nairobi, Kenya: Initiatives Publishers. ISBN 9966420347. OCLC 29769088.
  •  Nasimiyu, Anne J; Waruta, D W (1993). Mission in African Christianity: critical essays in missiology. African Christianity. Nairobi: Uzima Press. ISBN 9966855238. OCLC 30664144.
  • Nasimiyu, Anne J. Oduyoye, Mercy Amba; Kanyoro, Musimbi R.A. (eds.). "Polygamy: a feminist critique". Will to Arise: Women, Tradition and the Church in Africa (in Lungereza): 101–118. OCLC 40341819.

Thesis

  •  Nasimiyu, Anne J (1986). Vatican II; the problem of inculturation (thesis). Duquesne University. OCLC 15611652.

Laba na bino kyusa

Ebikuliziddwa kyusa

Ebijulizidwa wa bweru wa wikipediya kyusa