Annet Katusiime Mugisha
Annet Katusiime Mugisha yazaalibwa 1974, nga munabyabufuzi Omunayuganda, awereza nga Omubaka wa Paalamenti ya Uganda eyekumineemu ng'akiikirira Disitulikiti ya Bushenyi.[1][2]
Annet Katusiime Mugisha
| |
---|---|
Yazaalibwa | 1974
Kukyalo Kantunda Mu muluka gwa Bumbaire Mu Disitulikiti ye Bushenyi |
Egggwanga | Munayuganda |
Gyeasomera | Uganda Maryrs University |
Emirimu gye | yakuguka mu by'okujanjaba obwongo bw'abantu ne neeyisa yabawe, munabyabufuzi, awabula abantu abatawanyizibwa embeera ez'enjawulo, musiga nsiimbi wamu n'okubeera omubuulizi w'enjiri |
Ekibiina ky'ebyobufuzi | National Resistance Movement |
Omwami we | Silver Mugisha |
Obulamu bwe n'okusoma kwe
kyusaMugisha yazaalibwa mu 1974, ku kyalo Kantunda mu muluka gwa Bumbaire mu Disitulikiti y'e Bushenyi mu ggwanga lya Uganda. Alina Diguli mu Kuwabula n'Okubudabuda gyeyafuna okuva ku Uganda Martyrs University, yunivasite y'obwa nannyini edukanyizibwa Eklezia, nga esinganibwa Nkozi mu Uganda. Mu 2021, yatandika okusoma Diguli ey'okubiri mu Kudukanya Bizineensi ku Uganda Martyrs University.[3][4]
Emirimu gye
kyusaEgyobukugu
kyusaMugisha mukusooka yali akola nga omusomesa wa pulayimale, nga esaawa eno adukanya kampuni ekola ku by'okufumba emere.Yakuguka mu by'okujanjaba abantu neneeyisa yabwe, abudabuda abatawanyizibwa ensoga ez'enajwulo, musiga nsiimbi, ng'era mubuulizi wanjiri. Ye ne baawe Silver Mugisha, akulira eby'emirimu n'okudukanya ekitongole ekivunaanyizibwa ku Mazzi ne Kazambi mu Uganda,baatandikawo ekibiina ekiyitibwa Bamugisha Community Welfare Ltd., ekibiina ekitadukanyizibwa gavumenti, wabula nga kirina ebigendererwa[5] by'okulakulanya eby'enjigiriza, okwongera eby'enfuna by'amaka ag'enjawulo, n'ogaba emere wamu n'okulakulanya ebitundu eby'etolodde eri abantu ba Disitulikiti ya Bushenyi.[6][7][8]
Ebyobufuzi
kyusaMugisha ialina akakwate ku kibiina ky'ebyobufuzi mu Uganda ekya National Resistance Movement (NRM). Emirimu gye mu byobufuzi gyatandika mu kalulu ka Paalamenti aka 2021, nga eno gyeyawangulira Mary Karooro Okurut mu kayufu ka NRM nga kuno kweyateeka n'okuwangula ekifo mu kalulu ka bonna aka Paalamenti. Ng'ali mu kakuyege w'okunoonya obululu bw'akamyuufu, Mugisha baamulumirira okubeera nga yakozesa emapula z'esomero mu kuwaaba okwali kulembeddwamu Zeddy Gakyalo ne Phillip Murwani.[9][10] Mugisha yeegana byonna byebaali bamuwaayiriza, ng'akatiriza ebyali bimwogerwako ku mpapula zze nti yali yayita mu mateeka okukyusa amannya gge okuva mu Musoga okudda mu Mugisha.[11]
Ebijuliziddwaamu
kyusa- ↑ https://mknewslink.com/ms-annet-katusiime-mugisha-first-to-be-nominated-for-bushenyi-district-woman-mp/
- ↑ https://eastafricanwatch.net/i-will-kick-poverty-out-of-bushenyi-annet-katusiime-mugisha/
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/analysis/2020/06/eyes-on-the-prize-how-annet-katusiime-mugisha-has-won-hearts-and-minds-in-bushenyi.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/four-in-race-to-replace-karooro-in-bushenyi-3244760
- ↑ https://www.pmldaily.com/investigations/special-reports/2019/07/bushenyi-ba-mugisha-community-welfare-resort-to-disease-fighting.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-19. Retrieved 2024-03-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://opencorporates.com/companies/ug/80010004273347
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/analysis/2020/06/eyes-on-the-prize-how-annet-katusiime-mugisha-has-won-hearts-and-minds-in-bushenyi.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-24. Retrieved 2024-03-25.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.youtube.com/watch?v=Vtb0qgf639U
- ↑ https://mknewslink.com/petition-on-my-qualifications-by-phillip-and-zeddy-is-trash-ms-annet-katusiime-mugisha/