Annet Nakawunde Mulindwa
Annet Nakawunde Mulindwa gwebassinga okumannya nga Annet Nakawunde), mukyala munabizineensi ng'ate muntu wa kikungu mu Uganda, ekwata ekifo eky'okusatu ku zisinga okubeera enene mu by'enfuna by'akakiiko k'omubugwanjuba bwa Afrika. Y'akulira era avunaanyizibwa ku by'emirimu (CEO) mu Finance Trust Bank, ekitongole ekiyamba ku by'ensiimbi nga kiyita mu bintu ebukalu ebibalubwamu obukadde 92 obwa doola za Amerika okuviira ddala ng'enaku z'omwezi 31 mu mwezi ogw'ekumineebiri, mu mwaka gwa 2020.[1]
Ebimukwatako n'okusoma kwe
kyusaYazaalibwa mu bitundu byamasekati ga Uganda okuva mu myaka gya1960. Yasomera mu masomero ga pulayima ne siniya g'omubutundu nga tanaba kuyingira mu setendekero lye Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukulu n'obunene mu ggwanga lyonna. Yatikirwa okuva mu yunivasite y'e Makerere ne diguli mu Arts , oluvannyuma yafuna dipulooma mu by'okudukanya eby'ensiimbi okuva mutendekero lya Uganda Management Institute (UMI) erisinganibwa mu Kampala. Era oluvannyuma, yafuna diguli ey'okubiri mu kudukanya bizineensi mu by'ensiimbi era okuva mutendero lya UMI.[2]
Emirimu gye
kyusaMutandikwa y'emyaka gya 1990, Mulindwa yatandikira ku Pride Microfinance Limited, oluvannyuma gyeyava okugenda mu Nile Bank Limited, nga tanaba kwegata ku Finance Trust Bank. Ng'ali ku Finance Trust, akoze mu bifo eby'enjawulo omuli: (a) eby'emirimu n'okudukanya ebibeera bimutegezeddwa, (b) akulira ebibeera bigenda mu maaso.[2] Mu budde yasiimibwa olw'okubeera nga yali alina obukugu mu by'obukulembezze ng'era yaweebwa akakiika k'okweyongerayo mu kutendekebwa, kudukanya wamu n'okugonjoola ebizibu.[3] Ng'enaku z'omwezi 3, mu mwezi ogw'okuna, mu mwaka gwa 2012, yaweebwa omulimu gw'okubeera eyali akuulira eby'emirimu era adukanya ekyali kikyamannyikiddwa nga Finance Trust, ekyali kigaba looni (microfinance institution). Wabula baanka ya Uganda enkulu bweyawa Finance Trust ebisaanyizo ebibakiriza okubeera baanka ezijuvu era eyeetongodde, Mulindwa yafuuka omukyala ow'okubiri mu byafaayo bya baanka mu ggwanga okulinya okutuuka kudaala ly'okubeera akulira eby'emirimu oba agidukanya mu Uganda, ng'ali emabega wa Edigold Monday.[4] Baanka y'eby'ensiimbi eno empya yatongozebwa mubutongole mu mwezi ogusooka ogw'omwaka gwa 2014.[5]
Laba ne
kyusa- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230321195024/https://www.financetrust.co.ug/wp-content/uploads/2021/04/FTB-Financials-2020.pdf - ↑ 2.0 2.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20141209022633/http://www.financetrust.co.ug/annet-nakawunde-mulindwa - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://nextbillion.net/blogpost.aspx?blogid=3192 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1335927/banking-remains-attractive-finance-trust-entrant/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.monitor.co.ug/Business/Commodities/Museveni--Mutebile-caution-banks-on-customers--savings/-/688610/2154782/-/bxp4vp/-/index.html