Annie Logiel

Munnabyabufuzi munayuganda era omusawo

Annie Logiel yazaalibwa mu mwezi ogw'okusatu, ng'enaku z'omwezi 27 mu mwaka gwa 1968[1][2] nga yali mukyala munabyabufuzi omunayuganda, naansi omutendeke, ng'era yeeyatandikawo ekibiina kya Karamoja Traditional Healers Association ekyali kijanjaba abantu nga kiyita mu dagala ly'ekinaansi,[3] era omukyala eyali akiikirira Moroto mu palamenti ya Uganda ey'e 10 wansi w'ekibiina kyeby'obufuzi ekya National Resistance Movement .[4] Yalondebwa mu mwaka gwa 2016 wabula naafa mu mwaka gwa 2017.[4] Yafiira kumyaka 48 mu ddwaliro lya Rigshospitalet mu kibuga Copenhagen ekisingaanibwa mu ggwanga ;ya Denmark gyebaali baamutwala okulongoosebwa nga bagya ekizimba ekyamuli ku bwongo.[4][5] Kyali kigambibwa aba famire ye nti yasobola okulongoosebwa ekizimba ekyamuli ku bwongo, wabula oluvannyuma n'afunamu obuzibu ekyamuleetera okufiirwa obulamu be.[4]

Annie Logiel
Yazaalibwa Enaku z'omwezi 27, mu mwezi ogw'okusatu, mu mwaka gwa 1968
Yafa Ng'enakuz z'omwezi 14, mu mwezi ogw'okubiri, mu mwaka gwa 2017
Gyebaamuziika Ku kyalo kya Nakapelimen, mu muluka gwa Nadunget, mudisitulikiti y'e Moroto
Eggwanga lye Munayuganda
Gyeyasomera Lotome Girls Primary School

Kangole Girls Secondary School

Gyeyasomera Kampala International University

Nsambya Nursing Training School and Health Administration and management University of Copenhagen

Omulimu gwe munabyabufuzi, munamateeka, ate omusawo omutendeke
Ekibiina ky'eby'obufuzi National Resistance Movement
Baawe Eric Joe Logiel
Abaana 2

Okusoma kwe

kyusa

Yasomera ku Kangole Girls mu byenjigiriza bye ebya siniya nga bino yabimaliriza mu mwaka gwa 1986 ne Lotome Girls Primary School gyeyatuulira P.7 (PLE) mu mwaka gwa 1982.[4] Alina diguli mu by'obusawo oba mu by'okubeera naansi gyeyatikirwa okuva kutendekero lya Kampala International University, gyeyafuna mu mwaka gwa 2014.[4] Alina ne dipulooma endala bbiri mu by'okubeera naansi n'omuzaalisa okuva mutendekero lya Nsambya Nursing Training School and Health Administration and Management. Yafuna ne diguli ey'okubbiri mu bikwatagan n'eby'obulamu munsi yonna gyeyafuna okuva kutendekero lya University of Copenhagen mu ggwanga lya Denmark.[4]

Obulamu bwe mu by'obufuzi

kyusa

Logiel yali mukisanja kye ekyali kisooka ng'ow'amateeka mu palamenti ey'e 10.[4] Nga tanaba kwegata ku palamenti, Logiel yeeyali akulira pulojekiti ya Karamoja Indigenous and Modern Health project okuviira ddala mu mwaka gwa 2008 okutuusa mu mwaka gwa 2016.[4][6] Yakolako ng'omusawo omukugu mu ddwaliro lya Moroto Regional Referral Hospital wakati w'omwaka gwa 2006 ne 2008.[4] Yeeyali omumyuka wa ssentebe w'akakiiko ka palamenti akaali kavunaanyizibwa ku by'obulamu, wamu n'okubeera omu kuba memba baakakiiko akalwanyisa ekirwadde kyamukenenya mu palamenti.[6]

Obulamu bwe

kyusa

Yaleka abaana babiri emabega okuli omulenzi nomuwala.[4][6] Yali yafumbirwa Eric Joe Logiel.[7][6] Museveni yeeyama okuweerera n'okuwaayo ebyeetaago by'esomero eby'abaana ba Logiel.[6]

Mukaseera ke ak'okufa, Logiel yali ayamba ku bayizi abawera 101 ku 106 mu bitundu gyebaali babeera ne basale ez'okusomera obweereere nga kino yali yakitandikawo mu Moroto.[2][8] Ku bano, kwaliko abaana bbe ababiri beyali yeezaalira, abeenganda zze 12, abantu b'omu kitundu 87 abaali kumadaala eg'enjawulo mu by'okusoma kwabwe. Mubano, munaana baali basoma kufuna diguli, 20 baali basoma koosi za dipulooma, 16 nga basoma satifikeeti. Waaliwo n'abayizi 10 abaali mu S.6, 41 nga bali mu S.4, bana nga bali mu pulayimale, ate omu ng'ali mu nasale.[6]

Okuziika kwe

kyusa

Annie yaziikibwa ku Sande mu maka gaabajjajja bbe akasingaanibwa ku kyalo ky'e Nakapelimen, mu muluka gw'e Nadunget mu disitulikiti y'e Moroto ng'oli kuluguudo lw'e Moroto okudda e Soroti.[6][8]

Laba ne

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-21. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 https://observer.ug/news/headlines/51478-fallen-moroto-woman-mp-was-supporting-101-school-children
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)http://ugandaradionetwork.com/story/moroto-woman-mp-annie-logiel-dead
  4. 4.00 4.01 4.02 4.03 4.04 4.05 4.06 4.07 4.08 4.09 4.10 {{cite web}}: Empty citation (help)https://ugandaradionetwork.net/story/moroto-woman-mp-annie-logiel-dead-1
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)http://capitalradio.co.ug/mp-logiel-dies-denmark-due-brain-tumor-complications/
  6. 6.0 6.1 6.2 6.3 6.4 6.5 6.6 {{cite web}}: Empty citation (help)https://observer.ug/news/headlines/51478-fallen-moroto-woman-mp-was-supporting-101-school-children
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)
  8. 8.0 8.1 {{cite web}}: Empty citation (help)