Anthony Masake Munnayuganda omulwanirizi w'eddembe ly'abantu era munnamateeka naddala ku nsonga ezikwata ku bantu babulijjo nga aweereza nga Dayilekita ow'okuntikko ow'ekitongole ekirwanirizi ky'eddembe ly'abantu ekya Chapter Four Uganda.[1][2]

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Anthony omu kuba Mmemba b'ekibiina kya 2023 Fellow of the Fisher Family Summer Fellows Program at the Center on Democracy, Development and the Rule of Law (CDDRL), Stanford University.

Emirimu gye

kyusa

Anthony akoze omuli gwa teno mu kitongole kya Chapter Four Uganda, ekitongole ekimanyikiddwa mu kutumbula eddembe ly'obwebange eri ndowooza z'auli muntu ssekinoomu n'eddembe ly'obuntu. Masake yafuna ekifo kino oluvanyuma lw'okukwatibwa kw'abo abaali bakolera mu Dipaatimenti eya eyali Dayilekita, Nicholas Opiyo.[3] Ngayita mu kulungamizibwa kwe, Chapter Four Uganda yeyongerayo n'emirimu gyayo omwali okulwanirira eddemnbe ly'obuntu n'obwenkanya mu Uganda. Era pulezzidenti w'ekitongole kya GreenDeal and organization nga kino kirwanirira abo abalwanirira eddembe ly'obuntu nga by'ekuusa ku butonde bw'ensi..[4]

Ng'emirimu gye egy'abwamateeka n'okulwanirira eddembe ly'obuntu ng'obitadde ku bbali, Anthony era amanyikiddwa mu kwogera ku nsonga z'ebyobufuzi n'embeera z'abzntu. Awandiika ku ddembe ly'abantu n'ensonga z'ebyobufuzi mu Uganda, nga n'ebiwandiiko bye bifulumizibwa mu miko gy'empapula z'amawulire nga Daily Monitor ne New Vision, saako n'emikutu mgata bantu egyenjawulo nga Africa Blogging. Ebiwandiiko bye bikunaganya ebiroowozo ku nsonga ezo ezisomooza eddembe ly'obuntu mu Uganda ne ku nsonga z'ebyobufuzi.[5]

Nga tannaba kwegatta ku kitongole kya Chapter Four Uganda, Anthony yaweerzaako nga munnamateeka atasasulwa mu Uganda Law Society (ULS).

Emirimu gye egy'obwannamateeka n'obulwanirizi bw'eddembe ly'obuntu

kyusa

Masake alina obumanyirivu mu misango egiwozebwa ku bwerere, eddembe ly'obuntu, n'ensonga ez'ekuusa ku butonde bw'ensi. Abadde mulwanirizi mu nsonga z'okufuna obwenkanya, okuvunanibwa mu obwenkanya, n'eddembe ery'obwogerero okumala emyaka kkumi. Mu mirimu gye mulimu okukulemberamu okutendeka n'okwebuuza ku nsonga z'amateeka, eddembe ly'obuntu n'okuwoza emisango ku bwerere eri ebitongole by'obwannanyini saako n'abalwanirizi b'eddmbe ly'obuntu ssekinnomu. Yetabye buterevu mu kulwanisa okutema emiti n'okwokya amanda nga kino kyayolesa obumalirivu bwe mu kulwanirira obutonde.[4]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. {{cite web}}: Empty citation (help)"Anthony Masake | Chapter Four". chapterfouruganda.org. Retrieved 2024-06-05.
  2. https://nilepost.co.ug/news/147338/poor-cultural-practices-violence-hindering-africas-development
  3. https://www.pulse.ug/news/chapter-four-resumes-operations-appoints-ag-executive-director/bms1s5p
  4. 4.0 4.1 https://greendealglobal.org/member/chairperson-masake-anthony/
  5. https://blogging.africa/author/anthony/