Apio Moro

Munayuganda omuyimbi

   

Lilian Apio, gwebasinga okumannya nga Apio Moro munayuganda omuyimbi aludde ng'awandiika wamu n'okuyimba ennyimba z'ekika kya Afro-soul mululimi lwe olwa Japadhola, nga muno mw'ayongereza oluzungu wamu n'oluganda, mw'anyumiza engero mu by'ayiseemu mu lugendo bw'obulamu bwe .[1] Aba Music in Africa baasalawo okunyonyola muziki we ng'elinamu ekika kya hip-hop, RnB, Soul, n'engeri ya rock omutono tono".[2]

Ebimukwatako

kyusa

Yazaalibwa abazadde abaali bakola omulimu gwegumu ogw'okubeera abasomesa ng'era yakuzibwa mu disitulikiti y'e Tororo.

Emirimu gye

kyusa

Mu mwaka gwa 2015, yeetaba mu mpaka z'okuyimba ezaali ku Urban TV eza Coca-Cola Rated Next, mwebaali banoonyeza ebitone ne talanta ez'enjawulo.[3] Nga Sima Sabiti, Benon Mugumbya ne Sharpe Ssewali beebaali abalamuzi baazo abasatu.

Okubeera nga yali ta,annyi bulungi lulimi luganda, nga luno lwerulimu olusinga okubeera nga lwogerwa ennyo mu Uganda, kyamukosa nnyo wekyatuuka mukuyimba kwe okw'ennyimba ze ezaali zisinga kuba ennyimba zebaali babalondera okuyimba zaali muluganda ekintu ekitaamuyisa bulungi.[4]

Apio abaddeko mu mukisaawe ky'okuyimba wabula ng'asinga kubeera mu mpaka zakuyimba,mweyeegatira ku kibiika ky'abawala nga tanaba kwetongola nga ye kutandika kuyimba yekka.

Mu mwaka gwa 2017, yayimbirako ku siteegi ya Suzan Kerunen eya Pearl Rhythm Stage Coach activations oba eya Coutinho Kemiyondo eya Aka Dope. Kano keekaseera kekamu mweyatongoleza olutaambi olwaliko ennyimba eziwera lweyali yatuumye “Chuny Adech” ekitegeeza ekitundu ky'omwoyo gwange (Half my Soul), nga kuno yayimba ennyiimba ezaali zisinga ku lutaambi lwe olusooka oluyitibwa “Chuny”.[5]

Yakolako oluyimba n'omuwanguzi w'engule ya Grammy award Joss Stone bweyali azeeko mu Uganda mu bukujjuko byeyayita "Joss Stone Total World Tour" mu zimu kunnyimba za Apio oluyitibwa “Pariye”.[6]

Apio agenze mu maaso naayimbira e Kigali ne mu Nairobi mu bikujjuko bya 'The Music Weekender'.

Mu mwezi ogw'okusatu, mu mwaka gwa 2019, Apio yatongoza olutaambi lwe olupya olwali luyitibwa “Choore” (Move Closer) ku kabaga akaali kawuliriza ku ''The Square'' okumujaguza okubeera nga yali yeezudde. “Choore” lwaliko ennyimba 8 ezaali zitabuddwamu ennimi ez'enjawulo ng'olu Japadhola, oluzungu, oluganda wamu n'olunyarwanda, nga lwafulumizibwa Vincent Othieno ng'asiiziira mu Washington D.C.

Mu mwezo ogwokutaano mu mwaka gwa 2019, Apio yayimbira ku DOADOA ku East African Performing Arts Market.[7]

Ennyimba zze

kyusa

Akataambi ka ''Chuny Adech''

kyusa
  1. Kiisa [8]
  2. Atiya [9]
  3. Slave [10]
  4. Obia [11]

Akataambi ka 'Choore'

kyusa
  1. Yik’an [12]
  2. Ajok
  3. Pariye
  4. Kod'an [13]
  5. Bayi
  6. Ndi Mukyala
  7. Onduuri
  8. Parasite
  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://observer.ug/lifestyle/52913-introducing-jopadhola-songstress-apio-moro
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.musicinafrica.net/directory/apio-moro
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1325581/coca-cola-rated-comes-kampala
  4. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1511937/profile-apio-moro-queen-afro-pop
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20210925223208/https://bayimbafestival.com/apio-moro/
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20200203131918/http://jstotalworldtour.com/tour/uganda
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20210416121034/https://doadoa.org/band-profiles/apio-moro/
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.youtube.com/watch?v=3-s7-w1Oogo
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.youtube.com/watch?v=Pp5bbq2APc8
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.youtube.com/watch?v=BRTmYh9Sh0c
  11. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.youtube.com/watch?v=iqM3BqU0Yk0
  12. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.youtube.com/watch?v=ssSWgf5ZDoY
  13. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.youtube.com/watch?v=hlGncNGDOvE