Armando Broja

Armando Broja (yazaalibwa nga 10 Ogwomwenda 2001) muzannyi wa mupiira omutendeke azannya ng'omuteebi mu ttiimu ya Chelsea, eguzannyira mu liigi ya Bungereza eya babinywera. Yazaalibwa mu Bungereza era ng'akiikirira ttiimu y'eggwanga lya Albania.

Olugendo lwe mu mupiira gw'ensimbi

kyusa

Gye yatandikira

kyusa

Broja yatandika okuzannya omupiira ng'azannyira Burnham Juniors. Oluvannyuma yagenda mu kugezesebwa ku ttiimu Reading ne Fulham, nga tannassa mukono ku ndagaano ne ttiimu ya Tottenham Hotspur ne yeegatta ku ttiimu yaabwe ey'abazannyi abali wansi w'emyaka 8.[1] Oluvannyuma lw'emyaka ebiri nga ali ku Tottenham, Broja yeegatta ku akademe ya Chelsea mu mwaka 2009.

Chelsea

kyusa

Nga 26 Ogwokubiri 2020, Broja yassa omukono ku ndagaano ye eyasooka ne ttiimu ya Chelsea ezannyira mu liigi ya Bungereza eya babinywera oluvannyuma lw'okutuuka ku kukkiriziganya ku ndagaano ya myaka ebiri. Nga 8 Ogwokusatu, yazannya omupiira gwe ogusooka ku ddaala ery'ekikugu mu mupiira gw'ewaka nga ttiimu ye ewangula Everton ku ggoolo 4-0 ewaka oluvannyuma lw'okuva ku katebe mu ddakiika 86 mu kifo kya Olivier Giroud.[2]

Sizoni ya 2020: Obweyazike ku Vitesse

kyusa

Nga 21 Ogwomunaana 2020, Broja yeegatta ku ttiimu ya Vitesse ku bweyazike okumala sizoni nnamba. Nga 19 Ogwomwenda yateeba ggoolo ye eya liigi eyasookera ddala mu mupiira gwe baakuba Sparta Rotterdam ggoolo 2-0. Broja yamaliriza ebbanga lye ery'obweyazike ku ttiimu ya Vitesse ng'omuzannyi asinze okubateebera ggoolo ennyingi mu liigi ya Eredivisie eya sizoni ya 202-21, ne ggoolo kkumi.

Sizoni ya 2021 22: Obweyazike ku Southampton

kyusa

Nga 18 Ogwomusanvu 2021, Broja yassa omukono ku ndagaano empya ya myaka etaano ku ttiimu ya Chelsea. Nga 10 Ogwomunaana 2021 yaweerezebwa ku ttiimu ya Southampton (nga nayo omupiira eguzannyira mu liigi ya Bungereza eya babinywera) azannyireyo sizoni ya 2021-22. Mu mupiira gwe ogusooka yateeba ggoolo bbiri mu mupiira gwe baawangulira ku ggoolo 8-0 nga bakuba ttiimu ya Newport County ezannyira mu liigi ya Bungereza eyitibwa League Two mu luzannya olw'okubiri mu kikopo kya EFL. Nga 16 Ogwekkumi, Broja yateebera ttiimu ya Saints ggoolo ye aya liigi esooka nga bakuba Leeds United, era n'afuuka Omwalubaani eyasooka okuteeba ggoolo mu mpaka za liigi ya Bungereza ey'oku ntikko.

Sizoni ya 2022-23

kyusa

Nga 2 Ogwomwenda 2022, Broja yassa omukono ku ndagaano empya ey'ebbanga eggwanvu okutuuka mu mwaka gwa 2028 ku ttiimu ya Chelsea.

Olugendo lwe ku ttiimu y'eggwanga

kyusa

Abali wansi w'emyaka 19

kyusa

Nga 28 Ogwokutaano 2019, Broja yayitibwa ku ttiimu ya Albania U19 mu mipiira gy'omukwano ne Kosovo U19. Nga 3 Ogwomukaaga 2019, Broja yazannya omupiira gwe ogusooka ku ttiimu ya Albania mu mupiira gw'omukwano ogusooka ne Kosovo oluvannyuma lw'okuteekebwa ku lukalal lwa ttiimu etandika era n'ateebera ttiimu ye ggoolo ey'okusatu nga bwangulira ku bugenyi ku ggoolo 3-1.[3]

Abali wansi w'emyaka 21

kyusa

Nga 9 Ogwomukaaga 2019, Broja yazannya omupiira gwe ogusooka ku ttiimu ya Albania U21 mu mupiira gw'omukwano ne ttiimu ya Wales U21 oluvannyuma lw'okuva ku katebe mu ddakiika ya 46 ng'asikira Din Sula era n'ateeba ggoolo ebbiri ttiimu ye ze yateeba nga bwangulira ewaka ku ggoolo 2-1.[4]

Eddaala ly'ekikugu

kyusa

Mu Gwokutaano 2019, Broja yayitibwa ku ttiimu ya Albania mu lusiisira lw'okutendekebwa mu Durrës, Albania okuva nga 21 okutuuka nga 26 Ogwokutaano 2019.

Nga 7 Ogwomwenda 2020 yazannya omupiira gwe ogusooka nga bakubwa Lithuania ku ggoolo 1-0. Nga 5 Ogwomwenda 2021, Broja yateeba ggoolo ye esooka ey'omupiira ogw'ekikugu mu mpaka z'okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z'ekikopo ky'ensi yonna eza 2022 mu mupiira nga bazannya n'eggwanga lya Hungary, n'ayamba ttiimu ye okuwangulira ku ggoolo 1-0.

Obulamu bwe

kyusa

Broja yazaalibwa mu kibuga Slough ekisangibwa mu ggwanga lya Bungereza, eri abazadde Abaalubaani okuva mu Malësi e Madhe, mu Albania.

Ebikwata ku lugendo lwe lwonna

kyusa

Ttiimu

kyusa

Template:Updated

Okulabika n'ebiruubirirwa by'omupiira, omwaka n'omupiiro
Ttiimu Sizoni Liigi National cup League cup Continenta Omugatte
Division Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo
Chelsea 2019-20 Premier League 1 0 0 0 0 0 0 0 1 0
2022-23 Premier League 4 0 0 0 0 0 2 0 6 0
Omugatte 5 0 0 0 0 0 2 0 7 0
Ebbeeyi y'ebbeeyi 2020- 21 Eredivisie 30 10 4 1 34 11
Southampton (bweyazike) 2021- 22 Premier League 32 6 4 1 2 2 38 9
Omugatte ogw'awamu 67 16 8 2 2 2 2 0 79 20

Ttiimu y'eggwanga

kyusa
Emipiira ne ggoolo z'ateebedde ttiimu y'eggwanga n'omwaka mwe yaziteebera
Ttiimu y'eggwanga Omwaka Emipiira Ggoolo
Albania 2020 3 0
2021 7 3
2022 4 1
Omugatte 14 4
Olukalala luno lusooka kwoleka ggoolo z'ateebedde Albania, olukalala lwa score lulaga ggoolo eziteebeddwa oluvannyuma lwa Broja okuteeba.
Olukalala lwa ggoolo za ttiimu y'eggwanga eziteebeddwa Armando Broja
Nedda. Olunaku Ekifo Cap Omulabe Ebyavaamu Ekivuddemu Okuvuganya
1 5 Ogwomwenda 2021 Elbasan Arena, Elbasan, Albania 7  Hungary 1-0 1-0 Empaka z'okusunsula abaneetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2022
2 8 Ogwomwenda 2021 Elbasan Arena, Elbasan, Albania 8  San Marino 3-0 5-0 Empaka z'okusunsula abaneetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2022
3 9 Ogwekkumi 2021 Puskás Aréna, Budapest, Hungary 9  Hungary 1-0 1-0 Empaka z'okusunsula abaneetaba mu kikopo ky'ensi yonna ekya 2022
4 10 Ogwomukaaga 2022 Arena Kombëtare, Tirana, Albania 13  Israel 1-0 1-2 2022-23 UEFA Nations League B

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named youth
  2. . Chelsea (4-3-3): Kepa; Azpilicueta (c), Rudiger, Zouma, Alonso; Barkley, Gilmour, Mount (James 60); Willian (Anjorin 71), Giroud (Broja 86), Pedro. {{cite news}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help)
  3. . Në pjesën e skuadra e Dedes ka dominuar mbi kundërshtarin duke arritur të shënojë dy herë, me anë të Muçit përsëri në minutën e 69-të dhe Armando Brojas në minutën e 80-të. Goli i sulmuesit të Chelsea vulosi dhe rezultatin 3–1 që nuk ndryshoi deri në fund. {{cite news}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help)
  4. . Në pjesën e dytë trajneri Bushi ka aktivizuar sulmuesin Armando Broja, njeriun e ndeshjes, në minutën e 46-të, i cili ka shënuar një dygolësh në minutën e 47 dhe 59. {{cite news}}: Check date values in: |date= (help); Missing or empty |title= (help)

Obulandira obw'ebbali

kyusa