Assumpta Oturu
Assumpta Oturu (yazaalibwa mu 1953). MunnaUgandan-Omumerika, munnamawulire era omutontomi. Akola ku ppulogulaamu yaabuli wiiki eya 'Spotlight Africa', ku leediyo esangibwa mu Los Angeles eya KPFK. Atongozza eby'okutontoma nga yeeyita Assumpta Acam-Oturu.
Obulamu bwe
kyusaAcam-Oturu yazaalibwa mu kitundu kye'Teso, mu Eastern Uganda.Yafuna diploma mu by'amawulire nga yasomera ku ssomero ly'ebyamawulire erya Mindolo Ecumenical Centre's School of Journalism erisangibwa e Zambia. Mu 1983 yafuna Diguli ya BA in Journalism and International Relations mu University of Southern California.[1] Yatandika 'Spotlight Africa' ku KPFK mu Gw'omusanvu gwa 1986, okugonjoola ensonga y'obutamanya bifa ku Africa mu Bamerika.[2] Pulogulaamu eno eragibwa buli lw'amukaaga lwa wiiki, Erimu ebikwata ku by'obufuzi, ebyenfuna, ebitambula n'obulamu bwabulijjo awamu nensonga zaabakyala mu Africa.[3]
Oturu yalabikirako ku pulogulaamu ekwata ku nsonga ez'enjawulo mu 2015 omwali okukubagana empawa wakati w'aBafirika abali wano naabali mu American. Baali boogera ku bbugumu erivudde ku kugenda kw'abafirika mu Amerika okuyitiridde. Oturu yakkaatiriza ensonga y'ebyafaayo okuvaako ebbugumu lino, mu kitunda bantu n'obutamanya bw'aBafirika abali mu Amerika mbeera mwebayita. Nga ali mu Lukungaana olukwata ku kutambula kw'abafirika okugenda mu nsi endala olwaliwo mu Gwekkuminoogumu gwa 2017, yakkaatiriza ensonga yeemikisa Abafirika abali mu Africa naabali mu Amerika gyebalina okusomesangana ku nnono ez'enjawulo.[4]
Ebitontome bye
kyusa- 'A Fountain of Blood',[5] Ufahamu: A Journal of African Studies, Vol. 16, Issue 1 (1988), p. 136
- 'Arise to the Day's Toil' and 'An Agony... A Resurrection', in Stella Chipasula & Frank Mkalawile Chipasula, eds., The Heinemann book of African women's poetry, Heinemann Educational Publishers, 1995.
- 'An Agony... A Resurrection', in Tanure Ojaide and Tijan M. Sallah, eds., The New African Anthology, Lynne Reinner Publishers, 1999.
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/978-0-435-90680-1
- ↑ Newswatch: Nigeria's Weekly Magazine, 1991, p.25
- ↑ Spotlight Africa. Accessed 17 August 2020.
- ↑ The Resurgence and Redefinition of Pan-Africanism, Our Culture Our Identity, The Immigrant Magazine, 15 November 2017. Accessed 17 August 2020.
- ↑ https://www.immigrantmagazine.com/the-resurgence-and-redefinition-of-pan-africanism-our-culture-our-identity/