Asuman Kiyingi
Asuman Kiyingi Munnayuganda Munnamateeka era Munnabyabufuzi. Yeeyali He was the Minisita ayambako Ow'abakozi mu Kakiiko akafuga Uganda's. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 1 Ogwokusatu, 2015, nga yaddirira John Byabagambi, nga ono yali yalondebwa ku kifo kya Minisita W'emirimu N'ebyentambula.[1] Ebyo nga tebinnabaawo, okuva nga 27 Ogwokutaano, 2011 okutuusa nga 1 Ogwokusatu 2015, yeeyali Minisita ayambako Ow'ensonga Z'ebweru akola ku nsomga ezikwata ku bitundu. Yaweebwa ekifo kino nga 27 Ogwokutaano 2011. Ye gweyaddira mu bigere yali Isaac Musumba, nga ono yagobebwa okuva ku kakiiko akafuga.[2] Gyebyasookera, yali aweereza nga Minisita ayambako ow'ettaka okuva mu 2009 okutuusa mu 2011.[3] Yaakiikirira essaza ly'eBugabula mu Maserengeta, nga eno esangibwa mu Disitulikiti y'eKamuli, mu Paalamenti ya Uganda. Aweerezza mu kifi ekyo okuva nga 23 Ogwokubiri 2006.[4]
Obuto bwe n'okusoma kwe
kyusaYazaalibwa mu Disitulikiti He was born in Disitulikiti y'eKamuli nga 27 Ogwekkumineebiri 1963.[5] Yasomera ku Makerere University, nga ye Ssettendekero esinga obukulu mu Uganda, era yatandikibwa mu 1922, yafuna Diguli bbiri, Diguli Esooka mu By'amateeka ne Diguli Eyookubiri mu Mateeka. Alina DHe also holds the Dipulooma mu Kugeza Amateeka era nga eno yagiggya ku kifo awakolerwa amateeka ekya Law Development Center mu Kampala.[5]
Obumanyirivu mu kukola kwe
kyusaNga tannaba kuweebwa kifo mu Kakiiko akafuga eggwanga mu Gwokubiri gwa 2009,[6] Kiyingi yali akola mu bifo eby'enjawulo ebikola mu mateeka. Yatandika nga omuyambi w'abannamateeka mu kkampuni emu eya bannamateeka esangibwa mu Kampala eyitibwa Ntume, Nyanzi & Company Advocates. Oluvannyuma, yafuna endala mwe yadda nga eyitibwa Mugenyi & Company Advocates. Bweyali mu kkampuni eyo yakuzibwa nadda ku kifo ky'oMuwolereza. Bwe yavaayo, yafuuka Munnamateeka w'ekibiiina Ky'ekittavvu. Bwe yava eno, yafuuka Muwandiisi w'ekitongole ku kitongole kya National Medical Stores, nga kino kikola ku Kufuna ddagala erikozesebwa mu Uganda. Omulimu gweyasembayo okukola nga tannaba kuyingira by'abufuzi yeeyali Munnamateeka Omuwabuzi ow'ekitongole ekikola ku kukuba ppulaani z'eggwanga.[5] Yalondebwa okuweereza mu Paalamenti ya Uganda mu Gwokubiri gwa 2006, era naanyiza oyo eyaliko Salaamu Musumba ow'ekibiina kya Forum for Democratic Change, nga kino kibiina ekivuganya.[7]
Ebimukwatako eby'obuntu
kyusaAsuman Kiyingi mufumbo. Ali mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement. Ayogerwako ng'omuntu ayagala ennyo okukuba empawa, okutambula, ebifo awazannyirwa firimu, n'ebyobutontomi.[5]
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ https://web.archive.org/web/20170709092825/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/2639388/data/956667/-/oq6gpdz/-/cabinet.pdf
- ↑ https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
- ↑ http://allafrica.com/stories/200907200835.html
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
- ↑ 5.0 5.1 5.2 5.3 https://web.archive.org/web/20150924064627/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=355&const=Bugabula+County+South&dist_id=20&distname=Kamuli
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
- ↑ https://web.archive.org/web/20141227231232/http://www.newvision.co.ug/D/8/17/486466