1. REDIRECT Template:Charles Muwanga

Atomu= Akaziba (atom).

Kano ke katoffaalikazimbakintu akasembayo . Ekigambo atomu(akaziba) kyava mu ky’olugeleeki “atomos” ekitigeeza “ekitasalwamu” oba ekitagabanyizibwamu” , okulaga ekintu ekitasobola kugabanyizibwamu butundu busingako awo butono. Mu butuufu obuziba(atomu) butundutundu bw’ekintu obusirikitu obusembayo okugabanyizibwamu  obutasoboka kulabibwa na maaso gali bukunya  wabula ng’omuntu akozesezza enzimbulukusa(microscope).

“Obuziba” (atomu ennying) bwe butundutundu obutono obukola ebintu ebya bulijjo era bukolebwa obutoffaali obuyitibwa obukontanyi oba konta(protons) obulimu kyagi y’amasannyalaze eya pozitiivu, nampawengwa oba nampa akatalina kyagi ya masannyalaze yonna oba ka tugambe aka kibogwe n'akasannyalazo akalimu ekisannyalazo(kyagi ya masannyalaze) eya negatiivu .

Obutoffali bwa atomu obwa konta ne nampa bwekwata kitole wakati mu buziizi (amakkati) ga atomu ate bbwo obusannyalazo ne butambula nga bwebulungula obuziizi nga enkulungo bwe zebulungula enjuba oba nga emyezi bwe yebulungula enkulungo zagyo.

Mu njogera endala atomu bwe butaffaali obuzimba ebintu ebya bulijjo. Ebiramu n’ebitali biramu bikolebwa atomu(buziba). Mu biramu watomu era ze zizimba obutaffaalikazimbamubiri(cells). Obuziba(Atomu) obusinga obukola ensi n’ebigirimu bwaliwo nga bwe bufanana kati mu nnabire eya sesebbuka okuva mu kire kya molekyu okukola ensengekera y’enjuba.

Kubanga atomu erina kyagi eya kibogwe , eba n’omuwendo gwa konta n'obusannyalazo gwe gumu kyokka atomu efuuka(eyitibwa) vatomu(ion) bwefuna kyagi(ekitegeeza bw’esanyalazibwa). Okusanyalazibwa kwa atomu kubaawo ng’eviiriddwako oba efunye obusannyalazo. Kino kitegeeza nti vatomu(ion) teziba na muwendo gwa busannyalzo ne konta gwe gumu.

Konta tetambula nga busannyalazo. Eno ye nsonga lwaki obusannyalazo buyinza okujjibwa mu atomu oba okwongerwa mu atomu, ekifuula atomu eno vatomu, naye si konta.

Okutambuza obusannyalazo wakati wa atomu ez’enjawulo kye kiviirako ekikyusabuziba(chemical reaction) oba okukyuka okw'obuziba(Chemical change). Buli atomu eyawulibwa ku ndala okuyita mu muwendo gwa konta ne nampa by’erina kyokka endagakintu(element) zzo zawulibwa na muwendo gwa konta eziri mu atomu ezikola endagakintu(element) ey’ekika ekimu.

Ekikyusabuziba=ekikolwa ekikyusa obuziba(chemical reaction) kiva ku busannyalazo obubeera ku kire ekyetoloodde obuziizi(nucleus). Obuziizi(Nucleus) tebulina kakwate konna na kikyusabuziba era busigala tebukyusiddwa n'akatono yadde mu bikyusabuziba ebisingayo amaanyi.


Ebinnyonnyozo by'Obuziba/Ebinnyonnyozo bya atomu

                            (atomic properties)

• Vampa(Isotope) ze atomu ezirimu omuwendo gwakonta gwe gumu naye nampa za njawulo.

• Vamba zirina ebinnyonnyozo by'enkyusabuziba(chemical prpperties) n’endabika ze zimu.

• Omuwendo gwa konta bwe gukyusibwa nga endagakintu nayo ekyuka.