Augustine Nshimye
Augustine Nshimye mulamuzi wa Uganda era nga memba wa kkoti ensukulumu mu Uganda okuva mu mwaka 2015. [1]
Omulimu
kyusaOmulimu gwe gwatandika mu 1967 ng’omuwandiisi omukulu. Okuva mu 1986 okutuuka mu 1988, yaweereza ng’omumyuka w’omuwandiisi omukulu. Mu 1988, yagenda mu nkola ey’obwannannyini. [1]
Mu 2008, yalondebwa okuba Omulamuzi wa kkooti ejulirwamu (era ekola nga kkooti ya Ssemateeka). Mu 2010, yaweerezaako ng’omulamuzi wa kkooti ensukkulumu okumala akaseera. [1] Yalondebwa mu kkooti ensukkulumu mu Gwomwenda 2015. [1]
Wakati wa 1988 ne 2008, yaliko omubaka wa palamenti mu kitundu kya Mityana South. Era yaliko minisita wa kabineti ow’enkolagana mu bitundu mu gavumenti ya NRM. [1]
Obuvunaanyizibwa obulala
kyusaY’omu ku baatandikawo ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement . [1] Mu 2015, yalondebwa ng’omulambuzi wa kkooti, obuvunaanyizibwa bw’akola mu kiseera kye kimu n’omulimu gwe mu kkooti ey’oku ntikko. [1] [2]
Laba nabino
kyusa- Ekitongole ekiramuzi mu Uganda
- Kkooti ensukkulumu mu Uganda
- Kabineti ya Uganda
- Palamenti ya Uganda