Auma Juliana Omwetoowaze
Auma Juliana Modest yazaalibwa nga 14 ogwekkumi 1964 munnabyabufuzi wa Uganda. Yali mubaka wa Palamenti mu lukiiko lwa Palamenti ya Uganda ey'omwenda ng'akiikirira disitulikiti eye Abim mu kibiina eky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement.
Olugendo lwe mu by'obufuzi
kyusaYali Mubaka wa palamenti ey'olutuula olw'omwenda mu lukiika lw'eggwanga olukulu olwa Palamenti ya Uganda. Yafiirwa ekifo kye mu palamenti wakati wa (2011-2016) ku kigambibwa nti yakozesa emyaka gye etaano egyasooka ng'omubaka wa palamenti mu kisanja ekyasooka ng'agoba ku diilu z'ettaka mukifo ky'okuweereza abalonzi be.[1] Mu kulonda okwa 2021 okw'awamu, yavuganya ku bwa memba wa palamenti nga talina kibiina naye n'awangulwa Janet Akech Okorimoe eyafuna obululu 7,705 ate Auma n'afuna obululu 7,608. Wabula, Auma yawakanya ebyaali bivudde mu kulonda ng'agamba nti okulonda kwalimu okubba obululu era n'asaba okubala obululu kuddibwemu.[2] Oluvannyuma yasaayo okusaba kw'ebyaava mu kulonda kugaanibwe ng'okusaba kwe kwagobwa omulamuzi omukulu Ow'e Kotido Emmanuel Seiko era n'asalirwa omutango olw'okuba Auma teyaleeta bujulizi obw'essimba mu musango guno.[2] Y'omu ku babaka ba palamenti abawera 34 mu Uganda aboogedde emirundi egitawera etaano nga kubano, 29 baviira mu kibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu buyinza ekya NRM.