Azawi
Priscilla Zawedde (yazaalibwa 2 Ogwokubiri 1996) amanyiddwa ennyo nga Azawi nga ly'erinnya ly'akozesa ku siteegi ng'ayimba. Azawi Munnayuganda omuyimbi, omuwandiisi w'ennyimba era omuzinyi ng'ayimbira mu kampuni ya Swangz Avenue eyamuwandiika mu 2019. Ayimba ennyimba ez'ekika kya Afrobeats mu Luganda n'Oluzungu. Ye Munnayuganda omuyimbi omukazi eyasooka okulabikira ku ntimbe okuli New York "Times Square" ne Los Angelos ezirabikirako abantu abatutumufu.
Obuto bwe n'okusoma kwe
kyusaPriscilla Zawedde yazaalibwa nga 2 Ogwokubiri 1996 mu Kampala. Bazadde be ye mugenzi Walusimbi Samuel ne Nakamatte Mary. Yagenda ku Buganda road primary mu kusoma kwe okwasooka oluvanyuma ne yegatta ku Mother Kevin Primary School mu disitulikiti y'e Mukono gye yamalira Pulayimale (P.7). Yegatta ku St Henry’s college e Ggangu Masajja, Lubiri secondary school, London college eNansana, St Janani Luwum secondary school gye yamalira Siniya ey'omukaaga (S.6), gye yava ne yeyongerayo e Makerere University gye yafunira diguli mu by'obusuubuzi.
Omulimu gwe
kyusaEmirimu egyasooka
kyusaEmirimu gya Azawi yagitandika mu 2005 ng'omuzinyi mu kibiina ekiyitibwa Kika dance Group. Baakola omulimu guno nga guluupu mu bifo ebiwerako. Emyaka ena egyaddirira, yayingira ekibiina ekirala ekiyitibwa Crane Performers nga bino byonna yabikola akyali mu ssomero. Oluvanyuma lw'okukizuula nti yali takola bulungi mu ssomero, ebyokuzina yasooka n'abiwummuza. Wabula mu kiseera ekyo yagenda e China enfunda bbiri nga bagenze okuzannya n'ekibiina kye.
Omulimu gw'okuyimba
kyusaMu 2011, yatandika okuwandiika ennyimba, mu kusooka yakikolanga mu ngeri ya kinyumu, bwe yali tanakizuula nti asobola okukolamu ssente. Kitaawe yafa mu 2012, n'asigaza obuvunanyizibwa obw'okulabirira maamma we ne baganda be babiri, ekyamuleetera okukola omulimu gw'okuwandiika ennyimba n'ekigendererwa eky'okufunamu ssente.[1]
Ku myaka gye emito, Azawi yatandika okuwandiika ennyimba era obukugu bwe mu kuwandiika ennyimba kwamuleetera okusisinkana Omuyimbi Eddy Kenzo eyammuyamba okumugatta ku bayimbi abalala. Awandiikiddeko abayimbi nga Nina Rose, Lydia Jazmine, Carol Nantongo, Vinka, ne Eddy Kenzo.
Azawi oluvanyuma yegatta ku bbandi emu ey'abayimbi mu 2015, era nga bwakola ogw'okuweereza mu kirabo ky'emmere ekyali kyakatandikibwawo Maama we.
Bwe yava ku mulimu gw'okuweereza mu kirabo ky'emmere, yawandiika oluyimba "Quinamino" n'ekigendererwa eky'okulutunda, wabula bwe yalutwala mu Swangz Avenue omulundi gwe ogusooka, mu August 2019, ate gye yafunira omukisa okwegatta ku Kampuni eno ng'omuyimbi.
Okuvaayo n'ategeerekeka obulungi mu bantu, kwaliwo mu January 2020 oluvanyumma lw'okufulumya oluyimba oluyitibwa Quinamino.
Mu November 2020, abakulira, Swangz Avenue baamuwandiika era ne bamwanjulira abantu mu butongole nga yakafulumya oluyimba lumu mu January 2020. Mu kiseera kino akyali wansi wa Swangz Avenue n'ennyimba ezisoba mu 20.
Ennyimba ze
kyusaEntambi z'ennyimba ze
kyusa- Lo Fit (2020)
- African Music (2021)
Ezitafulumidde ku ntambi
kyusa- Gimme
- Craving you heavy
- Bamututte
- Thankful ft Benon
- Majje ft Fik Fameica,
- Slow dancing
- Face Me ft A Pass
- Fwa Fwa Fwa
- Ku Kido,
- My Year
- Tubatiisa
- Party Mood
- Nkuchekele ft Eddy Kenzo,
- Love you is easy,
- African Music
- Ache for you.
- Quinamino
- Repeat it
- Lo Fit
- Crazy lover
- Toast to 75
- Mbinyumirwa
- Envision
- Craving You Heavy Remix ft. Chike
Engule n'okusiimibwa
kyusa- Yawangula engule y'omuyimbi w'omwaka omukazi eya Janzi awards 2021
- Yawangula engule y'olutambi lw'omwaka olwasinga eya – African Music Janzi awards 2021
- Yawangula engule ya Afro Beat/Pop Artist Janzi awards 2021
- Engule y'omuyimbi w'omwaka eya Buzz Teeniez awards 2021[2]
- Engule y'omuyimbi omukazi asinze mu mwaka eya Buzz Teeniez awards 2021
- Engule y'omuwandiisi w'ennyimba asinze eya Teenz Hottest Songwriter Buzz Teeniez awards 2021
- Engule y'oluyimba olusinze mu mwaka eya Teenz Hottest Song of the year – ‘Slow Dancing’ Buzz Teeniez awards 2021[2]
- Yawangula eya vidiyo esinze eya Teenz Flyest video – ‘Slow Dancing’ Buzz Teeniez awards 2021[2]
- Engule y'omuyimbi omukazi asinze mu mwaka eya Zzina Awards 2021/22
- Yawangula ey'omuwandiisi w'ennyimba asinze mu mwaka eya Best Song Writer of the year Zzina Awards 2021/22[3]
- Yawangula ey'oluyimba olwasinga okukwata ku mitima gy'abantu eya Best Inspirational Song – Majje ft Fik Fameica Zzina Awards 2021/22[3]
Ebirala byakoze ne byatuseeko mu bulamu
kyusaAzawi kati akola nga omutumbuzi w'omwenge gwa Guinness, nga kino akikola n'omuyimbi Omunigeria Fireboy DML. Kino era kyeyolekera mu vidiyo ye ey'oluyimba MAJJE lwe yakola n'omuyimbi Fik Fameica.
Azawi mu 2021 yalabikira ku ntimbe gaggadde okubeera abantu ab'ettuttumu okuli olwa New York ne Los Angelos "Times Square", n'afuuka omukazi munnayuganda eyasooka okulabikirako era Munnayuganda ow'okusatu oluvanyuma lwa Eddy Kenzo ne Bobi Wine.