Babungi Josephine Bebona

Munnayuganda omuzaalisa Omubaka mu Paalamenti owa Diisitulikiti ya Bundibugyo okuva mu 11 OGw'okusatu 2021

 

Bebona Babungi Josephine.

Babungi Josephine Bebona gwebasinga okumannya nga Josephine Babungi Bebona muzaalisa Omunayuganda era Omubaka wa Paalamenti omukyala akiikirira Disitulikiti ye Bundibugyo mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu okuva mu Gwokusatu nga 2021.[1][2] Mu byobufuzi alina akakwate ku kibiina kya Nationale Resisitance Movement (NRM)[3] ng'era abadde mu Paalamenti ya Uganda okuva mu 2016.[4][5]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Babungi Josephine Bebona yazaalibwa nga 6 Ogusooka mu 1973 mu Disitulikiti y'e Bundibugyo, mu Bitundu bya Bugwanjuba bwa Uganda, ebiri kunsalo sala za Democratic Republic of the Congo. Yasomera ku Semuliki High School mu Bundibugyo, ng'eno gyeyamaliriza emisomo gye egya siniya mu 1989. Yafuna satifikeeti y'okubeera omuzaalisa omuwandiisemu 1997 okuva kutendekero lya Kabale School of Nursing and Midwifery. Mu 2004, Babungi Josephine Bebona yafuna satifikeeti y'okwenwadiisa okubeera omuzaalisa okuva kutendekero lya Rubaga School of Nursing and Midwifery.[3]

Obumannyirivu mu kukola emirimu

kyusa

Babungi Josephine Bebona yali muzaalisa omuwandiise okuva mu 1999 okutuuka mu 2003. Yafuuka omusawo mu Gavumenti z'Ebitundu bya Disitulikiti y'e Bundibugyookuva mu 2005 okutuuka mu 2016. Ensangi zino awereza nga Omubaka wa Paalamenti omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Bundibugyo okuva mu 2016 n'okutuuka kati.[3]

Ng'ogyeko emirimu gya Paalamenti, abadde ku bukiiko obw'enjawulo gamba nga: akalwanyisa akawuka kamukenenya, siriimu n'enddwadde endala, n'akakiiko k'eby'obulamu.[3][6]

Ebirala by'ayongeddeko

kyusa

Babungi Josephine Bebona muntu akiririza mu mwenkano nkano wamu n'emirembe mu bitundu gy'abeera wamu n'eggwanga lyonna. Yaayamba ku mutabaganya obutabanguko obwali mu mawanga wakati wa Bakonjo n'aba Bamba mu Disitulikiti ya Bundibugyo.[4] Yeenyigira mu by'okutwaala ebikozesebwa eri amaka agaali agotanyiziddwa amataba mu Bundibugyo, ng'ali wamu n'ekitongole ekidukirira abantu abalina obuzibu munsi yonna, ne Gauvmenti ya Uganda mu 2019[7] ng'era, yasaba ofiisi ya Katikiro wa Uganda okuteeka Disitulikiti ya Bundibugyo muntegeka z'okukyusibwa okuva nti Disitulikiti eno etaataganyizibwa ebigwatebiraze buli mwaka.[8] Yeetaba ne mu kuwakanya eby'okwongeza ebisanja ku myaka pulezidenti w'eggwanga by'alina okufuga, nga wadde nga yasigala tasazeewo mu kaseera okukubaganya ebirowoozo kunsonga eno weyakomekerezebwa mu 2017.[9] Babungi Josephine Bebona yeeyatandikawo pulojekiti y'okukulakulanya emirimu gy'abakyala egy'emikono, egyalina ekigendererwa eky'okuyamba abantu nadala abalina obulemu ku mibiri, nga oluvannyuma kyatongozebwa Omwogezi wa Paalamenti ya Uganda mu 2018.[10]

Y'omu kubabadde ku kakiiko akalwanyisa akawuka kamukenenya n'enddwadde ya siriimu, wamu n'ensonga ezeekuusa nga yasobola okufuna obubonero bwa 67.86.[6] Yeenyigidde mu pulojekiti ez'enjawulo oubadde okugulira abayisi b'ekibiina ekisooka ne P7 emifaliso, okuwa Dr. Bukombi ow'eddwaliro lya Kikyo Health Center n'erya Bundibugyo ekyuma ekijanjaba obulwadde, yagaba embuzi n'ente eri abalimi abamu, yagaba obutene bwa pulasitiika 30 wamu ne 1,000,000 aka ssente za Uganda eri ekibiina kya Mijosa Group.[6]

Laba na bino

kyusa

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/bebona-babungi-josephine-10191/
  2. https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/ea7afc52-f4c9-437a-b88d-acb066f14b5e/
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=348
  4. 4.0 4.1 https://archives.visiongroup.co.ug/vision/NewVisionaApi/v1/uploads/NV010316pg35.pdf
  5. https://www.nrm.ug/party-organs/nrm-parliamentary-caucus
  6. 6.0 6.1 6.2 "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2022-12-07. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-17. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2021-11-25. Retrieved 2022-04-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/where-your-mp-stands-on-age-limit-debate-1718482
  10. https://theinsider.ug/index.php/2018/10/29/bundibugyo-district-on-the-spot-for-marginalizing-pwds/