Baby Gloria (Gloria Mulungi Senyonjo) (yazaalibwa nga 28 mukulukusabitungotungo 2001) muyimbi ow'ennyimba z'eddiini mu Uganda. Yatandika okuyimba nga wa myaka ebiri n'ekitundu. Mu 2010 yawangula Tumaini Musical Award ne Olive Musical Award mu 2011.[1][2]

Baby Gloria

Ebyafaayo n'obuyigirize

kyusa

Yazaalibwa John Senyonjo ne Betty Nakibuka, naye nga muyimbi w'ennyimba ez'eddiini mu Uganda.[1] John Senyonjo y'akwasaganya ensonga Baby Gloria ne Betty Nakibuka.[1] Baby Gloria mwana waakusatu mu maka era yatandika emisomo ku Apollo Kaggwa primary school Mengo era oluvannyuma yeegatta ku Life international school. Asaba okuva mu kkanisa ya Omega healing church e Namasuba, mu disitulikiti y'e Wakiso omusumba Kyazze gy'akulira.[1]

Emirimo

kyusa

Gloria yafulumya oluyimba lwe olwasooka oluyitibwa Mummy mu 2005 era mu mwaka gwe gumu n'afulumya oluyimba olulala oluyitibwa Sisobola kukyawa.[3] Ng'aweza emyaka 14, Gloria yakola ekivvulu kye ekisooka ku Apollo Kaggwa primary school era ng'ayita mu kivvulu kino , yasolooza ssente okuyamba abaana abaali mu bwetaavu mu bifo bye Luzira.[3] Ekivvulu kye ekyaddako yakitegeka mu Uganda National Museum mu 2011.[1][4][5] Ye muyimbi, muzanyi, mukubi w'ebivuga, omuyimbi era omubaka w'ebyamaguzi bya Movit, Lotions, Universities, Sanitary pads.[6][7] Era yali omu ku baabaddewo ku MTN Pulse Awards mu 2020.[1][8]

Discography

kyusa

Ezimu ku nnyimba ze:[9][10]  

Okukolagana

kyusa

Ebimu ku nkolagana ze:[11]

  • DNA feat RUYONGA
  • Save a life feat LEVIXONE

Obulamu bw'omuntu

kyusa

Baby Gloria akulira ekitongole ky'obuyambi ekiyitibwa Gloria Hearts ekiyamba abaana abatalina nkizo era yatandikawo ekitongole ky'ekisa mu 2016.

Laba ne

kyusa

Okulondebwa n'okusiimwa

kyusa
  • Buzz Tenniez Awards, Best Gospel Song, 2019
  • Hipipo MUSIC Awards 2018 (Nominated Twice).[12]
  • Omuyimbi w'enjiri ow'eddiini asinga.[12]
  • Best religious gospel Video (Mbu Ndi Lubuto).[12]
  • London African gospel awards nominations.[13]

Ebyokujulizaamu

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 https://flashugnews.com/baby-gloria-mulungi-senyonjo-biography-songs-mother-agehttps://flashugnews.com/baby-gloria-mulungi-senyonjo-biography-sonhttps://lifestyleug.com/about-baby-gloria-mulungi-senyonjo/gs-mother-https://flashugnehttps://flashugnews.com/baby-gloria-mulungi-senyonjo-biography-songs-mother-age/ws.com/baby-gloria-mulungi-senyonjo-biography-songs-mother-age/age//
  2. https://wangadaanita.wordpress.com/2015/05/14/the-young-inspiring-baby-gloria/
  3. 3.0 3.1 https://lifestyleug.com/about-baby-gloria-mulungi-senyonjo/https://lifestyleug.com/about-baby-gloria-mulungi-senyonjo/
  4. https://lifestyleug.com/about-baby-gloria-mulungi-senyonjo/
  5. https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/entertainment/baby-gloria-launches-new-album-tomorrow-1479288
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2022-05-17. Retrieved 2022-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.sqoop.co.ug/201608/four-one-one/baby-gloria-to-hold-a-concert-in-september.html
  8. https://vinepulse.com/another-chapter-in-baby-glorias-life-graduates-from-high-school/
  9. https://wangadaanita.wordpress.com/2015/05/14/the-young-inspiring-baby-gloria/
  10. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1096304
  11. http://www.howwebiz.ug/BabyGloria/biography
  12. 12.0 12.1 12.2 https://newslexpoint.com/babhttps://newslexpoinhttps://newslexpoint.com/baby-gloria-nominated-twice-hipipo/t.com/baby-gloria-nominated-twice-hipipo/y-glhttps://newshttps://newslexpoint.com/baby-https://newslexpoint.com/baby-gloria-nominated-twice-hipipo/gloria-nominated-twice-hipipo/lexpoint.com/baby-gloria-nominated-twice-hipipo/oria-nominated-twice-hipipo/
  13. https://www.musicinafrica.net/magazine/london-african-gospel-awards-nominations-released

Enkolagana ey'ebweru

kyusa