Balaam Barugahara
Balaam Barugahara Ateenyi [1] [2] amanyiddwa ennyo nga Balaam [3] [4] (yazaalibwa 28 Ogwomusaanvu 1979) Munnabyabufuzi mu Uganda, musuubuzi, omuyimbi n'okutumbula emikolo. [5] [6] [7] Ye minisita w’eggwanga ow’ekikula ky’abantu, abakozi, n’enkulaakulana y’embeera z’abantu avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka eyalondebwa Pulezidenti Yoweri Museveni . [8] [9]
Balaam era ye mukkulu wa Balaam group of companies, ekibiina ekya'mattabi mu Uganda ne South Sudan [10] [11] [12] era ssente zivva okusinga mu bitundu by’eby’amasanyu, okuweereza ku mpewo, eby’amayumba, eby’amakolero, wooteeri, n’ebifo ebisanyukirwamu . [13] [14] [15] [16]
Obulamu bw'omubuto n’okusoma
kyusaBalaam Barugahara Ateenyi yazaalibwa Ogwomusanvu 28, 1979 mu maka g’omugenzi Yinginiya David Balaam Byenkya Akiiki ow’e Kijura mu Disitulikiti y’e Masindi ne Gladesi Byenkya Abwooli ow’e Kalisizo mu Buganda ey’omu masekkati . [17] Kitaawe omwami Davidson Balaam Byenkya Akiiki yafa mu 1991 nga akyali muto. [18]
Okusoma
kyusaYasomera mu ssomero lya Namasagali, mu ssomero lya St. John Bosco Senior Secondary School ne Original Progressive Senior Secondary School gyeyasomera mu A'level. [19] Oluvannyuma yeewandiisa ku Makerere University okusoma diguli mu by’obusuubuzi oluvannyuma, n’akola diguli eyookubiri mu by’obusuubuzi ku Cavendish University. [20]
olugendo mu bizinensi
kyusaBalaam ye nnannyini era nnannyini kkampuni ya: Original Best Water company esangibwa mu South Sudan, Radio One mu South Sudan, ekitongole ky’amawulire ekyasooka eky’obwannannyini kye yatandika mu 2009. Era ye mukwanaganya w'emirimu wa Radio4 (Uganda), Radio 7 (Masindi), Radio8 (Masaka) ne Radio8 (Elgon region) era nga ye musaasaanya wa MTN Uganda mu bendobendo lye'Kigezi. [21]
Balaam Mukubi wa by’amayumba n’ettaka ng’alina wooteeri mu Kampala ne South Sudan, omuli ne woteri matiribona(5 star) e Masindi, eyagulibwawo Pulezidenti Yoweri Museveni mu Gwomwenda mu 2022. [22]
Omulimu gw’ebyobufuzi
kyusaYalondebwa Yoweri Museveni nga minisita w’eggwanga ow’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu ng’avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka nga 21 Ogwokussatu 2024.
Obulamu bwe
kyusaAlina baganda be 13 era ye mwana owookutaano. Kitaawe omugenzi yalina abaana 14. Balaam taata wa Benta Karuhanga Abwooli, Biden Kamusiime Amooti, Brennan Kamukama Akiiki ne Bennette Tumusiime Amooti. Yafiirwa mutabani we eyasooka olw’obulwadde bwa kookolo mu 2013. [23]
Engule n'Ebitiibwa
kyusa- Nga 21 Ogwokussatu, 2023, Balaam yaweebwa diguli ey’ekitiibwa mu by’obuntubulamu okuva mu Zoe Life Theological College, USA olw’okukyusa n’okukwata ku bulamu bwa Bannayuganda. [24]
Laba nabino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa
- ↑ https://www.howwe.ug/news/showbiz/35083/balaam-graduates-with-a-doctorate-in-humanities
- ↑ https://www.cavendish.ac.ug/cuu-alumnus-awarded-honorary-doctorate-for-impacting-lives/
- ↑ https://observer.ug/lifestyle/76509-balaam-on-what-it-takes-to-organise-a-show
- ↑ https://www.galaxyfm.co.ug/2019/11/18/helpless-music-promoter-balaam-reveals-why-he-decided-to-invest-over-20-million-us-dollars-in-south-sudan-as-he-closes-in-on-losing-all-his-properties-to-greedy-citizens/
- ↑ https://chimpreports.com/balaam-barugahara-elected-president-of-promoters-federation/
- ↑ https://web.archive.org/web/20231119114008/https://www.kampalasun.co.ug/events-promoter-balaam-gets-phd-in-theology-from-us-college/
- ↑ https://www.pulse.ug/news/balaam-commissions-maiden-mk-movement-chapter-in-london/q040bn4
- ↑ https://www.ntv.co.ug/ug/news/national/events-promoter-balaam-barugahara-appointed-minister-4564880
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_184091
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-29. Retrieved 2024-09-04.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://observer.ug/news/headlines/62673-how-sudanese-generals-grab-ugandan-businesses
- ↑ https://web.archive.org/web/20231119114012/https://www.elixnews.com/2023/04/from-sweet-bananas-vendor-to.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_143329
- ↑ https://nilepost.co.ug/2022/09/18/uganda-would-be-out-of-poverty-if-all-youth-copied-balaam-museveni/
- ↑ https://blizz.co.ug/5596/Businessman-Promoter-Balaam-Barugahara-Reportedly-Opens-Up-New-Radio-Station
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-29. Retrieved 2024-09-04.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20221012001049/https://pearlpost.co.ug/#:~:text=Balaam%20is%20the%20founder%20of,FM%20Radio%20in%20South%20Sudan.
- ↑ https://flashugnews.com/balaam-barugahara-biography-age-wife-tribe/
- ↑ https://hardrockmedia.org/2022/07/10-things-you-need-to-know-about-balaam-barugahara/
- ↑ https://observer.ug/lifestyle/71773-balaam-barugahara-that-striped-t-shirt-simply-dries-faster
- ↑ https://detectiveug.com/hidden-fortune-the-unsung-success-of-balaam-barugahara-emerging-from-the-shadows-into-a-young-billionaire/
- ↑ https://chimpreports.com/museveni-speaks-out-on-muhoozi-birthday-celebrations/
- ↑ https://www.spyuganda.com/heres-what-you-didnt-know-about-the-one-t-shirt-man-balaam-barugahara-ateenyi-behind-his-simplistic-humble-life-style-lies-a-budding-young-business-tycoon/
- ↑ https://www.bukedde.co.ug/articledetails/BUK_131704