Balubaale(the Departed Thinkers/Wisepersons of Buganda)

Plato,Socrates, Aristotle,Galileo ,Copernicus, Isaac Newton, Charles Darwin bonna omuganda aba abayita "ba Lubaale" b'e Bulaaya.Lwaki ?

lubaale

Mu kitabo kye Bassekalowooleza ne Bannakalowooleza ba Buganda abedda ,Muwanga Charles agamba nti "Lubaale" mulamwa gwa Luganda ogutegeeza omwoyo gw'omuntu avudde mu bulamu bw'ensi ng'abadde kagezimunyu, Ssekalowooleza, Nakalowooleza, omuyiiya, oba omufirosoofa mu biseera bye eby'Obulamu.

Balubaale n'olwekyo tebasaana kusamirira wabula tubajjukire okubayigirako ebintu eby'amagezi bye baakolera entabaganya(society) mu biseera byabwe eby'obulamu era tuzimbe amatendekero ag'enjawulo aga sayansi n'obukulembeze nga tugababbulamu buli awali ekiggwa kya buli lubaale .

Ekiggwa kitegeeza ekifo lubaale we yakoleranga emirimu gye egy'amagezi mu biseera bye eby'obulamu.Teririna kuba ssabo.Ku mulembe Omutebi , buli awali ekiggwa tuzimbewo ettendekero erimubbuddwamu mu by'amagezi ag'ekikugu ag'omulembe ogwa sayansi.

Bwe twogera ku Lubaale Muwanga, Kiwanuka, Ndaula,Kintu, Nagaddya, Kibuuka, ddungu,Ggulu, Kayikuuzi, Kawaali, n'abalala tuba tutegeeza abantu abaali bakagezimunyu , Bannakalowooleza ne Bassekalowooleza mu biseera byabwe eby'obulamu.Bano baali bantu nga Bakakensa be tulina kati mu matendekero ne Ssettendekero.

Okikkiriza nti Lubaale kayikuuzi yali muntu eyali anoonyereza ku njazi n'okuyiga ku buzimbe bw'amagombe g'Ensi? Ate Lubaale Ggulu eyali anoonyereza ku bwengula?Bano baali bantu abanoonyereza ku butonde obw'enjawulo.Tubayigireko mu kifo ky'okubasamirira.