Banka by'ebitongole ebiteereka ensimbi zaffe.Wano mu Uganda banka zaatandika dda ku mulembe nga abayindi ba katuuka wano.Abayindi abaatandika enkola ya banka wano mu Uganda baayitibwanga ba Banyani. Abayindi bano baawolanga abantu ensimbi ne bazizza n'amagoba ate era nga n'okuteereka baterekera abantu ensimbi zaabwe. Enkola za banka zizze zikula mu ggwanga lino Uganda anti emabegako abantu baalinanga butabo nga bwe bagenda nabwo mu Banka okutereka n'okuggyayo ensimbi.Wano kati ate banka zaavaawo era kati omuntu teyeetaaga katabo wabula ka kaadi akayitibwa ATM omuntu kaateeka mu kyuuma n'anyiga ennamba ye ey'ekyama eba yamuweebwa nga aggulawo akaawunta mu banka olwo no n'ojjayo oba okuteekayo ensimbi.Banka era ziwoola abantu ensimbi ne ku mulembe guno era ziyaambye nnyo abantu mu nkulaakulana.

Cairo Bank Uganda Logo