Barbara Birungi
Barbara Birungi (yazaalibwa nga musanvu ogwomunaana 1986) mukyala munnabyatekinologiya era nga ye mutandisi wa HiveColab e Kampala, Uganda. Ye mutandisi wa Women in Technology Uganda, ekibiina ekiruubirira okuyamba abakyala n'abawala okufuna obumanyirivu mu tekinologiya. Nga tannatandika Hive, Birungi yali mukozi ku African technology firm Appfrica.
Obuyigirize
kyusaBarbara yatikkirwa diguli esooka e Makerere mu kubalirira bizinensi era n'afuna diguli eyookubiri mu kuteekateeka n'okuddukannya projects. Nga akyali muyizi e Makerere yakola obwannakyewa we balabirira ba mulekwa, okusomesa obukodyo bwa tekinologiya obukulu wamu n'okulungamya bayizi ba sekendule ku by'okukola era nga abamu ku bbo bakugu mu tekinologiya. Ayagala nnyo ebya tekinologiya, obuvumbuzi, abakyala n'abawala mu Uganda era nga asomesezza abawala abato abasukka mu 300.
Ebituukiddwako
kyusaYawangula awaadi ya Anita Borg Change Agent mu 2014 eraga abakyala abakyasinze mu nsi yonna (abatabeera mu US nga bafaayo ku nsi ezikyakulaakulana) abawadde abawala n'abakyala omukisa okwetaba mu tekinologiya. Ayogeredde ku mikolo gy'ensi yonna mingi omuli UNESCO, Ekitongole ky'ensi yonna, Motorola, Pulogulaamu y'okwekulaakulanya ey'ekitongole ky'ensi yonna ne ITU ku mugaso gw'okuggyawo enjawukana mu kikula mu tekinologiya mu Africa okumala ebbanga lya emyaka 5. Nga 26 Ogwokubiri 2013, yali omu ku boogezi abangi abaayitibwa ekitongole kya UNESCO okunnyonnyola engeri tekinologiya gye yali akozesebwamu mu nsi yaabwe okunyweza obumu wakati wa ssaayansi, enkola n'abantu.
Abakyala Mu Tekinologiya
kyusaMu 2015, Abakyala Mu Tekinologiya Uganda yawangula ekirabo ssemalabo eky'okwagazisa pulojekiti, ekiweebwa ebitongole ebisinga okuwagira n'okuwa abakyala obuyinza mu byenfuna.