Barbara Kemigisa
Barbara Kemigisa (yazaalibwa mu 1986) Munnayuganda omulwanirizi w'abalwadde abalina akawuka ka HIV, ayogera ebizaamu amanyi eri abantu, era musiizi w'abifaananyi. Yewaayo okukubirirza n'okuzaamu amaanyi abaana abatu n'abantu ssekinnoomu abalina akawuka akaleeta mukenenya aka HIV oluvanyuma lw'okukabasanyizibwa kweyayitamu mu buto bwe ea nga awangaala n'embeera eno. Kemigisa y'e mutandiisi w'ekitongole kya Pill Power Uganda, ekiwa omwagaanya n'obukuumi eri abaana saako n'abavubuka abali mu mbeera enzibu ng'ayigiriza embeera z'obuwangaliro.[1][2][3][4]
Obuto bwe
kyusaBarbara Kemigisa yafuna okusomozebwa okwenjawulo mu buto bwe. Yakabasanyizibwa Kojjawe ng'ali wakati w'emyaka mukaaga n'ekkuminogumu eky'amuviirako okutaataganyizibwa ng'akula n'okufuna emize emibi. Byonna by'eyayitamu by'amuvirako okukyuka mu bigendererwa bye n'asalawo okuwagira n'okuyamba abalala abayita mu kusomozebwa okwo.[5]
Emirimu gye
kyusaKemigisa amanyikiddwa olw'omulimu n'omwendo gw'eyawaayo okulwanyisa eby'ogerwa ku balwadde b'akawuka akaleeta mukenenya aka HIV. Ensuwa z'ebimuli, ebikibe by'akasassiro, Obutebe n'ebintu ebikozesebwa mu kutimba ku mikolo by'akola okuva mu bikebe ebikalu eby'eddala elikakkanya ku kirwadde kya mukenenya erya antiretroviral (ARV) drugs. Enkola eno eyabako mukukuuma obutonde bw'ensi era akabonero ak'amaanyi mu kunyiikira obujanjabi bw'akawuka akaleeta mukenenya aka HIV.[6] Oluvanyuma lw'okwetaba mu nkiiko tabamiluka mu mawanga g'ebulaaya nga olukiiko lwa International Conference on Recycling and Waste Management mu Singapore 2015, IAS mu Paris ne AIDS 2018 mu Amsterdam; era yaweebwa Awaadi okusobola okusoma essomo lya civic leadership ku Wagner College mu New York City ng'ayita mu kitongole kya Mandela Washington Fellowship pulogulaamu eyali ey'abavubuka eya Young African Leaders program mu 2018.[7]Ebibiina by'abavubuka ebiwerako bijumbidde enkola ye erwanirira okukuuma obutonde bw'ensi ng'ate bw'abamanyisa abantu ku bulwadde bwa mukenenya (HIV/AIDS) mu bantu ba Uganda.[2][7][3]
Olw'okubeera omutandiisi w'ekitongole kino, Kemigisa awa omwagaanya eri abavubuka abalina akawuka ka mukenenya (AIDS) okwekulakulanya.[8][9] Mu mulimu gino mulimu eby'obulimi, ebisiige, okuzanya emizannyo n'ebirala. Pill Power Uganda etuuse ku bavubuka abasoba mu 50,000 era kitendese abaana 400 nga kwotadde n'okubakuutira obutawuliriza by'ogerwa ku bulwadde bwa HIV.[2][8][10] Kemigisha era akola ne Counselor ku Makerere University Business School.
Ebimukwatako eby'omunda
kyusaBarbara Kemigisa maama era nga yakizuula nti ali lubuto mu kaseera w'eyamanyira nti alina akawuka akaleeta mukenenya. Anyikirirdde okumira eddagala lye era kino kiyambyeko okunafuya akawuka kano newankubadde ng'ayita mu kusoomozebwa okw'enjawulo. Mu lwatu eyogera ku mbeeraye era akakasa nti abavubuka bayigira ku ye n'ebyo byeyayitamu n'abo basobole okuddamu amaanyi.
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/kemigisa-is-cashing-in-from-trash-1771914
- ↑ 2.0 2.1 2.2 https://www.womenlifthealth.org/profile/barbara-kemigisa/
- ↑ 3.0 3.1 https://www.nairobisummiticpd.org/speaker/ss16barbara-kemigisa
- ↑ https://genderandaids.unwomen.org/en/stories/2011/02/blogging-positively-young-women-living-with-hiv-speak-out
- ↑ https://www.voanews.com/a/ugandan_women_works_to_end_hiv_stigma/1381919.html
- ↑ https://www.independent.co.ug/health-getting-innovative-arvs/
- ↑ 7.0 7.1 https://deeply.thenewhumanitarian.org/womenandgirls/articles/2017/07/24/hiv-positive-artist-fights-shame-with-art-made-from-empty-drug-bottles
- ↑ 8.0 8.1 https://www.dfa.ie/irish-embassy/uganda/news-and-events/latestnews/powerful-messages-from-young-activists-on-world-aids-day.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-06-07. Retrieved 2024-06-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined